Poliisi wano mu Kampala ekyatubidde ne zi bodaboda eziwera nga bananyini zo bakwatibwa batisse omuntu asukka mw’omu.
Omwaka guno poliisi yateekawo amateeka g’okukwata boda ezitikka omuntu asukka mw’omu era nga ebikwekweto birese pikipiki nyingi ziyooleddwa.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Patrick Onyango agamba kati zino bakuzitundibwa ku nyondo keebanafuna ekiragiro kya kkooti.
Agamba bananyini pikipiki zino baasussa…
Omuntu okumala ebbanga ng’ayota omusana kisobola omufuuka omuze ate nga kyabulabe.
Omusana ono gukaza olususu ekiyinza okuvaamu endwadde endala omuli n’okukaza omubiri.
Okunonyereza kuno kukoleddwa ku mmese nga kati ekirindiriddwa kugezesebwa ku bantu.
Wabula ate bannasayansi abalala bagamba nti okugamba nti okwoota omusana guyinza okufuuka omuze kuba kwongera ssupu mu bintu.
Kyokka ate era waliwo buljjo abagamba nti ssinga…
Abakulu b’essomero lya Nakyesa Bright Future Primary School mu disitulikiti ye Kayunga bekubidde enduulu ku ssomero eryaggalwa lwabutaba na kabuyonjo.
Akulira essomero lino, Anthony Gabunga agamba kati abayizi abasoba mu 700 bakoseddwa nga tebasoma lwabutaba na kabuyonjo.
Bano kabuyonjo gyebalina yagwamu nga abayizi kati ensiko yebadde ekola nga kabuyonjo
Poliisi yakuno eyongedde amaanyi mu kuyigga abagambibwa okubeera abatujju 9 abagala okulumba eggwanga.
Poliisi yakuno kati ekolagana n’ezamawanga agaliranyewo okugwa mu buufu b’wabakambwe bano nga era kuliko lbrahim ahmed, Mohamad nur Aden, Abdirazack Hirsi Yusuf n’abalala bataano.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga agamba basindisse dda ebifananyi by’abantu bano eri ekitongole kya Poliisi ekirwanyisa obutujju, ekitongole…
KKampuni ya Air Uganda ayimiriziddwa okusaabaza abantu ku nyonyi zaayo.
Kiddiridde kkampuni eno okujjibwaako ebiwandiiko ebibadde bigikkiriza okukola omulimu muno.
Omwogezi w’ekitongole ekikola ku ntambula y’enyonyi ekya Civil Aviation Authority, Ignie Igundura akakasizza amawulire gano n’ategeeza nga bwebakyekebejja enyonyi za kkampuni eno okulaba oba zituukagana n’omutindo.
Kino kigenda kukosa abatambula naddala mu mawanga agaliranye Uganda nga kati bakuyita…
Gavumenti egamba nti tejja kumpondoka nti ewagira bisiyaga yadde enatiisibwatiisibwa.
Kino kiddiridde gavumenti ya America okulangirira natti ku Uganda ng’abo bonna abalwanyisa abasiyazi ssibakukkirizibwa mu ggwanga lino era nga n’ensimbi zenyini America z’essa mu byobulamu, ebyamaggye ne poliisi ezisazeeko.
Omubaka akiikirira abantu be Ndorwa mu bugwanjuba David Bahati agamba nti ekikoleddwa America kikuba ecukwe kyokka nga tekyewunyisa
Bahati…
Abavubuka ababiri abakwatibwa nga beekalakasa n’embizzi ku palamenti bagguddwaako emisango n’oluvanyuma nebasindikibwa e Luzira
Norman Tumuhimbise ne Robert Mayanja balabiseeko mu maaso g’omulamuzi w’eddaala erisooka Erias Kakooza nebasomerwa emisango esatu
Kuno kwekubadde egw’okusalimbira mu kifo gyebatalina kubeera n’okuyingirira emirimu gya palamenti
Kigambibwa okuba nti bano ng’ennaku z’omwezi 17 omwezi guno nga bali ku palamenti beekalaasa mu ngeri eyasamaliriza…
Omwana eyazaalwa n’amagulu ataano asiibuddwa okuva mu ddwaliro e Mulago.
Abakugu mu ddwaliro e Mulago bamwekebezza era bakadde be nebabawa omwezi gumu okukima ebinaava mu kukebera
Bazadde b’omwana ono okuli Boniface Okongo ne Margaret Awino bagamba nti omwana ono ali mu mbeera nnungi nga kati balinda nsimbi za kulongoosa mwana ono.
Omwana ono bamuzaala ku kyaalo Nabijingomu gombolola…
Gavumenti ya Kenya esabye abantu baayo okwewala okulabirira emipiira mu bibanda badde ewaka
Okusaba kuno kukoleddwa nga Kenya yakalumbibwa abantu 60 nebalusuula akaba
Obulumbaganyi bwebumu bwakolebwa ku baali balaba omupiira mu kibuga Mpeketoni.
Minisita akola ku nsonga z’omunda mu ggwanga agambye nti yadde eby’okwerinda babinywezezza okwetoola eggwanga, okwewala akatyabaga tekiba kibi.
Abasajja abanguyiriza okukwata ku bakyala abaweereza mu nyonyi beesibe bbiri
Mu ggwanga lya China, abawala bano bonna batendekeddwa okukuba kungufu
Yadde nga obukodyo buno bwakukozesebwa mu kaseera ssinga abatujju baba balumbye, abawala bano bawereddwa olukusa obukodyo bwebumu ku basajja abatamiira nebabakwatirira n’abo ab’amaddu