Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Omuwendo Gw’ababundabunda Gulinye

Ekitongole ky’ekibiina ky’amawanga amagatte ekikola ku banoonyi b’obubudamu kyenyamidde olw’omuwendo gwababundabunda okuva munda mu ggwanga lya South Sudan okweyongera. Amyuka omukiise w’ekitongole kino wano mu ggwanga Esther Kiragu ategezezza nti yadde nga emirembe gyigenda gyidda mu ggwanga eryo, abantu banji baabulidde eggwanga lino okwesogga Uganda nga buli lunaku abasoba mu 150 besogga eggwanga. Bino bijidde mu kiseera…

Read More

Hiderman Yetonze Olw’ekyambalo ky’ekanisa

  Omuyimbi  Hillary Kiyaga abasinga gwebamanyi nga  Dr Hilderman okulabula kw’ekanisa akututte nga ekintu ekikulu neyetonda ku ganduula yaba Bishop gyeyayambala nga atongoza olutambi lwe gyebuvuddeko nga ekanisa yakilaba nga eky’okugivvola. Hilderman yetonze nategeeza nga bwataalina kigendererwa kyonna kyakuvvola Kanisa, era nasubiza obutaddamu kwenanika  byambalo by’abalabirizi b’ekanisa ya Uganda.  

Read More

Ono ekitone akirina mu mbwa

Abantu abalina ebitone tebaggwa mu nsi eno Mu ggwanga lya Bungereza, omusajja eyasalwa ku mulimu n’asalawo okuyiga obukodyo bw’okugunjula embwa ebintu bitandise okumufunira Alfonso asobola okukkakkanya buli kika kya mbwa omu n’endalu. Abamutuukirira nga bagaala agunjule embwa zaabwe ebeyongeredde ddala era nga bangi bamwongera namu ku nsimbi Bwowulira kino webuuza nti akikola atya. Omusajja ono agamba nti tebyaali byangu kyokka…

Read More

Teri Kuyisa mbalirira ya KCCA- Abavuganya

Ababaka ba palamenti okuva ku ludda oluvuganya gavumenti balayidde okwekiika mu kuyisa embalirira ya KCCA Bino bizze nga KCCA egenda mu maaso n’okukubaganya ebirowoozo ku mbalirira ey’omwaka 2014/15 Ababaka okubadde minisita wa kampala mu gavumenti erinze obuyinza Angelina Osege ne munne akola ku gavumenti ez’ebitundu Betty Nambooze bategeeza ng’ensonga z akampala bwezirimu ebibuuzo bingi ebirina okusooka okukolebwaako. Ababaka…

Read More

Abaana bangi basobezebwaako

Okusobya ku baana kyekika ky’okutyoboola eddembe ly’abakazi okwekuusa ku kikula kyaabwe okwakasinga okulabikako Bino biri mu alipoota ekoleddwa ekibiina kya bakyala ekya ACFODE ng’eraga nti emisango egisoba mu kikumi gyegyawaabwa. Kuno kuddibwaako okukaka abakyala omukwano n’okutyoboola mu ngeri enafuya omukyala Amasekkati ga Uganda geegasingamu ebikolwa bino ne kuddako obuvanjuba , obugwanjuba b’obukiikakkono nebugoberera Ebikungaanyiziddwa bisinzidde ku bizze bifulumira mawulire…

Read More

Lunaku sikoseelo-obujjanjabi bubulamu

Abantu abaweza ebitundu 20 ku kikumi mu Uganda bali mu bulabe bw’okuzaala abaana abalina obulwadde bwa sikoseelo. Kino kyeralikiriza era nga kiraga nti waliwo obweetavu bw’amalwaliro g’obulwadde buno mu ggwanga Ng’ayogerera ku mikolo egy’okukuza olunaku luno mu nsi yonna wali ku hotel Africana, amyuka omukulembeze w’eggwanga Edward Kiwanuka Ssekandi agambye nti obulwadde buno ssinga bukolebwaako nga bukyaali…

Read More

Ensimbi mu byobulamu tezimala

Ab’ebibiina by’obwa nakyeewa abali mu byobulamu basabye palamenti ereme kuyisa mbaliira ya byabulamu ssinga tessa ssira ku kutaasa abakyala abali embuto n’abaana baabwe. Bannakyeewa bano bagamba nti yadde ebyafulumye mu mbalirira biraga nti ebyobulamu byayongeddwaamu ssente, tekimala Akulira ekibiina ekirwanyisa mukenenya ekya White ribbon Alliance Betty Biteyi agamba nti n’emisolo ku bintu ebikozesebwa mu byobulamu gujjibweewo kubanga…

Read More

Abafumbo beebasinga obwenzi- Alipoota

Disitulikiti ye Wakiso y’esinga omuwendo gw’abakyala abali embuto nga balina akawuka mukenenya. Abakyala 207 mu ssaabiiti emu bokka beebagenze okunywa eddagala nga balina akawuka. Wakiso eddibwaako kampala  ng’eno abakyala b’embuto 74 beebakebeddwa nga balina akawuka Awo Mubende y’eddako n’abakyala 42 n’endala musanvu nezigoberegana. Muno mulimu Gulu, Kyenjojo, Luweero, Hoima Mbarara ne Mityana. Bino byonna biri mu kunonyereza okukoleddwa akakiiko akalwanyisa…

Read More

Amaggye gavumiridde okutulugunya owe Lira

Amaggye ga UPDF geganye ebigambibwa it abajaasi baago beetabye mu kutulugunya omuntu wa bulijjo mu disitulikiti ye Lira . Kigambibwa nti waliwo omusajja atanategerekeka agambibwa okubeera omubbi eyakubiddwa abatuuze n’oluvanyuma nassibibwa ku kiroole ky’amaggye ekyabadde kiddabirizibwa. Omwogezi w’amaggye g’eggwanga Paddy Ankunda agamba abatuuze beyambisizza bubi kiroole ky’amaggye naye nga tewali mujaasi yenna yeetabye mu kutulugunya kuno. Agamba bakukwatagana…

Read More