Poliisi ekutte abavubuka babiri ababadde beekalakaasiza ku palamenti n’embizzi.
Robert Mayanja ne Norman Tumuhimbise ng’ono muyizi ku ttendekero lya IUIU bakubye poliisi akawunike nebayingira mu luggya lwa palamenti n’embizzi zino nga kw’otadde n’ebiwandiiko ebivumirira enguzi eri mu babaka mu palamenti.
Obubizzi buno babadde babusiize langi eya Kyenvu nga babusibye ebipappula mu bulago ebivumiririra ababaka abalya enguzi.
Abakulu bano…
Kyaddaaki kamala byonna wa Buganda Charles Peter Mayiga avuddemu omwaasi ku byaapa ebyaweebwa Buganda
Kamalabyonna atuukidde ku kuwakanya bigambo bino n’ategeeza nga bwebatannafunako kiwandiiko kyonna okuva eri gavumenti nga kibalagira okuzzaayo ebyapa ebyogerwaako.
Katikkiro agambye nti ebigambo bino tebiriiko mitwe na magulu era nga bigendereddwaamu kujja Buganda ku mulamwa.
Ng’ayogera ku mbalirira y’eggwanga Katikiro agambye nti waddenga abantu…
Mwana muwala Shanita namuyimbwa amanyiddwa nga Bad Black ebibye bifuuse namulanda nga mabeere ga mbwa
Black azzeeyo mu kkooti ejulirwaamu ng’ayagala emuyambe ku mabeere agatandise okuvunda
Black yagenda nebamupika amabeere era ng’aba alina okudda mu ddwaliro negakolebwaako okumala ebbanga
Ng’ayita mu bannamateeka be aba Okello Oryem and company advocates, Black agamba nti ayagala kuddayo alongoosebwe kubanga bw’atakikole ajja…
Abakadde ebitundu bibiri ku kikumi bokka beebafuna akasiimo kaabwe nga bakeetaga.
Bino biri mu alipoota ekoleddwa banka y’ensi yonna ku bakadde n’ebyenfuna byaabwe kko n’obulamu mwebabeera okutwaliza awamu
Ng’ayogerera ku mukolo gw’okutongoza alipoota eno, omukugu mu nsonga z’ebyenfuna, Rachael Sebudde agambye nti Uganda lyerimu ku mawanga agatafa ku bakadde abaweza akakadde kamu mu emitwaalo ana.
Alipoota eno esaba…
Waliwo omusirikale wa KCCA akwatiddwa lubona n’ekyoja mumiro okuva ku batembeeyi
Paul Birungi bamusanze ku miniprice ng’ono yadde abadde alina okukwata abatembeeyi bamusanze batundira mu maaso ge.
Akwanaganya poliisi n’omuntu wa bulijjo Anatoli Muleterwa agamba nti omusajja ono bamusanze n’ebinusu ebiyitirivu mu ngalo era nga bino kigambibwa okuba aziggye ku batembeeyi abongedde okulumiriza abasirikale ba KCCA okubasikamu…
Bannanyini masomero balayidde nga nabo bwebagenda okwongeza ebisale by’essomero ssinga babinikibwa emisolo
Ng’asoma embalirira y’omwaka gw’ebyensimbi ogujja, minister ekola ku by’ensimbi Maria Kiwanuka yalangirira nga bwebaali bataddewo omusolo ku masomero g’obwannanyini n’abo abagaala okugatandika bakusasulanga emisolo.
Wabula ssentebe wa bannanyini masomero g’obwannyini, John Bosco Mujumba agamba nti bakyayogereza gavumenti naye nga ssinga tewabaawo kukkakkanya, tewali kubuusabuusa bakwongeza…
Omubaka omukyala omuggya owe Luweero Brenda Nabukenya alayiziddwa wakati mu mizira okuva eri abavuganya gavumenti.
Nabukenya okutuuka ku kino yawangula munne gwebaali ennyo ku mbiranye, Rebacca Nalwanga n’obululu obuweza ebitundu 61 ku kikumi.
Ayaniriziddwa amyuuka sipiika Jacob Olanya ategeezezza nga Nabukenya bw’akoze ekyafaayo kubanga ye mubaka asoose okulayizibwa omulundi ogw’okubiri mu palamenti yeemu
Poliisi erabudde abantu nti kati abatujju bazze na nkola mpya naddala mu bulumbaganyi bwebakola ku mawanga ga East Africa
Kiddiridde obutujju obulala ku nsalo ya Kenya okuleka abantu abasoba 40 nga bafudde
Ab’obuyinza mu Kenya agamba anti kati abatujju bano bakozesa mmundu nga beefudde ng’abakuuma ddembe olwo nebatta nga bwebagaala
Amyuka omwogezi wa poliisi, Polly Namaye agamba nti…
Abakuumi ba ssabasajja babiri bakyaali mu ddwaliro e Mulago banyiga biwundu oluvanyuma lw’okufuna akabenje e Nama ku luguudo lwe Mityana
Jacob Mutumba ne Lt Paul Makanga balumiziddwa ng’abakuumi abalala bataano abaakoleddwaako nebasiibulwa
Bano akabenje bakafunye bava ku mikolo gy’okutongoza emipiira gy’amasaza ku lunaku lw’omukaaga
Mutumba yamenyese amagulu ate nne Makanga yalumiziddwa ku mutwe
Kamalabyonna wa Buganda yavuddeyo dda n’asaasira…
Okuwulira omusango oguvunaanibwa abantu 13 abagambibwa okutta n’okulya omukyala n’omwana we gugudde butaka
Omusango guno guli mu maaso g’omulamuzi w’eddaala erisooka, Tadeo Muyindi .
Bano bavunaanibwa kulya Peace Kyamukama Arinaitwe n’omwana we ow’emyezi omwenda bwebaali bava okuziika obudde nebubayitako
Omuwaabi wa gavumenti talabiseeko mu kkooti kale ng’omusango gubadde tegusobola kugenda mu maaso
Abavunaanibwa kuliko Asaf Muhimbise, Bosco Sseggiriinya, Alex…