Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

15 bayooleddwa mu kikwekweto kya KCCA

Abantu 15 beebayooleddwa mu kikwekweto ekikoleddwa KCCA ku bagula ku batembeeyi Mu bano kwekuli n’abatembeeyi benyini Ekikwekweto kino kibadde ku luguudo lwa Luwum mu kibuga era ng’emirimu gisanyaladde nga bino bigenda mu maaso. Omwogezi wa KCCA peter Kawuju agamba nti abantu bano beebasibye abasuubuzi ku makubo nga kati beebakyukidde era ekikwekweto kyakugenda mu maaso.

Read More

Tetunnakaanya kusimbawo muntu omu-FDC

Ebibiina okuva ku ludda oluvuganya gvaumenti basambazze ebigambibwa nti balikoe ndagaano gyebatuuseeko okusimbawo omuntu omu ku kulonda kwa 2016. Akulira ekibiina kya FDC Maj Gen Mugisha Muntu agamba nti mu kadde kano befunyiridde kusooka kutereeza mbeera ya kulonda etaliimu kyekubiira Wabula Muntu agamba nti tekitegeeza nti tebasobola kusimbawo Muntu omu kyokka nga ssikyebaliko kati. Bbo ab’oludda oluvuganya gavumenti…

Read More

Kipsiro yandisubwa egya Common wealth

Kafulu mu kutolontoka emisinde, Kipsiro asemberedde okusubwa okwetaba mu mpaka za commonwealth games. Kipisiro ono kitegerekese nga teyagenda kukyuusa bimukwatako mu ggwanga lya Scotland. Ssabbiiti ssatu emabega, Kipsiro yajjibwa ku lukalala lw’ekibiina ekitwala abaddusi olw’abantu 18 abagenda okwetaba mu mpaka zino omwezi ogujja kyokka ng’olukalala luno lwagobwa era bwebatyo nebamuzzaako. Yadde kino bwekiri ono ayolese obutetaba mu mpaka…

Read More

Akaboozi akatundira buli wamu

Waliwo omukyala akwatiddwa okuva mu ssaza lye Hampshire ng’akaboozi akatembeyeza mu tterekero ly’ebitabo Ono abadde akaboozi abadde akagaba mu bukodyo ng’atambuza obupappula obubuuza ba kasitoma oba bandyagadde ku byamaguzi Wabula akappapula akatambuziddwa okutuuka ku mukyala keekabizadde ng’ono ayise poliisi mbagirawo Ekyewunyisa nti omukyala ono n’aba poliisi abamukutte abegayiridde bamute n’abasuubuzi okubawa ku by’ettunzi kyokka ng’asanze batawena era wetwogerera…

Read More

Schumacher azze atereera

Munnabyamizannyo Michael Schumacher kyaddaaki asiibuddwa era nga takyali mu mbeera mbi Omusajja ono ow'emyaka 45 akyusiddwa kati n’addizibwa mu ddwaliro eddala mu ggwanga lya Switzerland gy’agenda okujjanjabibwa Schumacher ono abadde ku byuuma nga byebimuyamba okussa okuva nga 29 omwezi gwa December omwaka oguwedde Kino yakituukako oluvanyuma lw’okuseereera ng’ali ku muzira kweyali azannyira omuzannyo gwe ogw’olulango n’akubawo omutwe

Read More

Omukyala akwatiddwa n’enjaga

Poliisi e Kabalagala ekutte omukyala nzaalwa ye Nigeria ng’atunda enjaga Zubedda Ugoma yajjiddwa mu kitundu kye Kataba ekimu ku bikola enzigotta ze Kabalagala Enjaga eno ebadde mu capiso nga buli omu ya mitwalo etaano Omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano Patrick Onyango agamba nti bagenda kwongera okwetegereza enjaga eno okulaba oba ekolebwa wano oba yagiggye bweru wa ggwanga Omukyala…

Read More

Omumuli guli Gulu

Ng’omumuli gwa poliisi ow’emyaka ekikumi kukyagenda mu maaso n’okutambuzibwa okwetoloola eggwanga, poliisi eno egamba nti etegese emikolo emitontono eginafundikirwa n’ebikujjuko gaggadde nga 3 omwezi gw’ekkumi Omumuli guno gwatandika okutambula omwezi oguwedde nga wetwogerera guli Gulu. Omwogezi wa poliisi Fred Enanga agamba nti bakutegeka ssabiiti y’emirembe, ey’okulwanyisa obutujju,n’ ey’eddembe ly’abaana nga zonna zakukyuusa linnya lya poliisi.

Read More

Minisita Kuteesa akomyeewo nga muzira

Minista akola ku nsonga z’ebweru w’eggwanga Sam Kuteesa akomyeewo ku butaka ng’ayaniriziddwa ng’omuzira Kuteesa gyebuvuddeko yalondebwa okukulembera olukiiko lw’ekibiina ky’amawanga amagatte era nga kino wakukikola okumala omwaka mulamba Ng’ayogerako eri bannamawulire, Kuteesa agambye nti mwetegefu okukolagana na buli omu mu kibiina ky’amawanga amagatte okutumbula eddoboozi ly’omuddugavu Kuteesa agambye nti essira wakulissa ku nsonga z’abakyala n’ez’embeera y’obudde ekyuukakyuuka .  

Read More

Amannyo g’abaana gafa bali mu lubuto

Obadde okimanyi nti amannyo g’omwana okufa oba okuba amalamu kiviira ddala ng’oli lubuto Kino kiva ku nsonga nti abaana batandika okumera amannyo nga bakyaali mu lubuto. Abakugu mu ndwadde z’amannyo okuva mu ddwaliro ekkulu e Mulago bagamba nti omukyala ng’ali lubuto, yandifubye nnyo okulaba nti erya ebintu ebitakosa mannyo g’abaana Dr Annet Kuteesa okuva ku ddwaliroluno agamba nti…

Read More

Abatooro babayodde- Ttiyagaasi alamudde

E Fortpaortal abantu 4 bebakwatiddwa wakati mu kukuba omukka ogubalagala nga poliisi erwanagana n’abavubuka okuva mu bukama bwe Tooro ababadde bekalakaasa. Bano bawakanya ekya pulezidenti Museveni okuyita omukama waabwe omwana omuto. Gyebuvuddeko omukama w’e Tooro yasalawo okusiiba wakati mu kubanja ebintu by’obukama okukomezebwawo okuva eri gavumenti eyawakati. Wowulirira bino nga kat embeera ezze munteeko oluvanyuma lwa poliisi okukwasaganya…

Read More