Embalirira y’eggwanga mulindwa olwaleero esomeddwa ng’eri b’erese nga basanyufu ate abalala nga bakaaba
Mu basanyufu mwemuli abakozi ba gavumenti aboongezeddwa emisaala
Wabula embalirira eno ezze n’emisolo emipya kko n’okuzuukusa emikadde egyajjibwaawo.
Mu gizuukuse mwemuli egijjibwa ku kompyuta, ku nsigo n'emijimusa, ba nnayini bawooteri nabagasulamu ne ku balunzi
Ebintu nga Mobile Money, Sukaali, amafuta g'emmotoka, okukubisa empappula, okutereka n'okujjayo ensimbi…
Kkooti ey’okuntikko mu bulaaya etandise okutunuulira eky’okufuula obugejjo endwadde era nga kitwalibwa ng’omuntu alina obulemu ku mubiri gwe.
Eggwanga lya Denmark lyelyawaddewo okusaba nga lyagaala esalawo ku muvubuka agamba nti yagobwa ku mulimu olw’okubeera omunene ennyo.
Omusajja ayogerwaako alina kilo 160 era ng’agamba nti yagejja olw’obutafuga mumwa gwe kyokka nga tefunangako buzibu ku mulimu gwe
Ebinasalibwaawo kkooti eno…
Omusawo omukugu mu by’okuzalisa Dr. Tamale Ssali alya butaala.
Omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Olive Kazarwe amwejerezza emisango gy’okulagajalira omulwadde naafa bwategezezza nga obujulizi obwaletebwa bwebubadde tebumatiza.
Kazarwe ategezezza nga Doctor Ssali bwatali mukugu mu ndwadde z’ebizimba mu bakayala naye nga omulimu gwe okwolondoola buli kimu ekyali kikolebwa ku mukyala eyafa yakikola nga bwekyali kyetagisa.
Omulamuzi era…
Ababaka ba palamenti abakikirira abavubuka baagala banyonyolwe embaliira y’ensimbi ez’omwaka gw’ebyensimbi 2013/2014 kiki kyezakola mu kukulakulanya abavubuka.
Kino kigyidde mu kiseera nga embalairira y’omaka 2013/2014 ebulako saaawa mbale okusomwa .
Omubaka w’abavubuka okuva mu bugwanjuba bw’eggwanga , Gerald Karuhanga agamba ensimbi ezaali ez’okukulakulanya abavubuka tebaikubangako kimunye.
Agamba ebiseera by’emabega ensimbi nyingi zizze zibulankanyizibwa nga abantu…
Nga world cup etandika olunaku olwaleero poliisi erabudde abntu bonna okwewala okutambula mu matumbi budde.
Olwenkyukakyuka mu biseera, empiiira gyonna okuva e Brazil gyakulagibwanga mu matumbi budde.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga agamba abantu basaanye okwegendereza enyo ebyokwerinda byaabwe wakiri batambulire mu bibinja nga yo poliisi yakuyiwa basajja baayo mu buli kasonda k’eggwanga okwewala abatuuze…
Poliisi yokumazzi kyaddaaki esazizaamu kawefube w’okugezaako okunyulula emirambo gy’abantu 34 ababbira mu Nyanja Nalubaale ku sande ewedde.
Kigambibwa nti abantu abasoba mu 34 babulidde mu Nyanja eno oluvanyuma lw’eryato mwebabadde batambulira okubbira wakati w’ebizinga bye Kiziru ne Bulago.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’amiriraano Patrick Onyango agamba nti emirambo 6 gyebibadde gyakanyululwa n’abantu 28 nebanunulwa mu wiiki…
Kyaddaaki minisita w’ensonga z’ebweru w’eggwanga Sam Kuteesa akakasiddwa ku bwa pulezidenti w’olukiiko lw’ekibiina ky’amawanga amagatte.
Kuteesa yalondeddwa mu kibuga Newyork mu kiro ekiyise amawanga 193 nga wakubeera mu kifo kino omwaka mulamba.
Yadde nga abamu ku ba seneta b’eggwanga lya Amerika baabadde bamusimbidde ekkuuli olw’etteeka ly’ebisiyaga eryayisibwa mu ggwanga, abalala tebakirabyemu nsa kulemesa Kuteesa kwetwalira gufo guno.
Amangu…
Kkooti ejulirwamu egobye okusaba kwa naggaga Kato Kajubi abadde yemulugunya ku kibonerezo ky’okusibwa amayisa oluvanyuma lwokusingisibwa omusango gw’okusaddaaka omwana ow’emyaka 12 Joseph Kasirye.
Kkooti enkulu e Masaka yasingisa Kajubi omusango guno nakaligibwa obulamu bwe bwonna mu kkomera , Kajubi kyaatamatira era najulira.
Abalamuzi ba kkooti ejulirwamu bategezezza nga omulamuzi wa kkooti ye Masaka Michael Chibita omusango bweyagusala…
Omusajja asanze mukyala we mu bwenzi asazeewo kutunda kiteteeyi kya mbaga yaabwe azzeewo zeyamala ku mbaga.
Omusajja ono agambye nti ekiteteeyi kino agambye nti kirabika kyekyajja n’emize gy’obwenzi era ng’akitaddeko ebigambo ebigamba nti “ atayagala kubeera mwesigwa ng’okyanyumirwa obwenzi ekiteteeyi kikiino
Poliisi mu Kampala efulumizza amateeka agalina okugobererwa abalabi b’omupiira mu biseera by’ekikopo ky’omupiira ekyensi yonna ekya world cup.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategezezza nga abadumizi ba poliisi ku buli Division bwebalagiddwa okulambula ebifo byonna ebigenda okulaga emipiira gyino saako n’okwekenenya ababikoleramu bonna.
Agamba nti okulambula ebifo bifo tekugenda kukoma ku mipiira gyigulawo, wabula mu…