Alipoota efulumiziddwa ekibiina ky’amawanga amagatte ekikola ku by’enjigiriza by’abaana ekya UNICEF, eraga nti abaana abasoba mu mitwaalo ataano beebatasoma bulungi nga bwebalina kukola.
Alipoota eno kino ekitadde mbeera abaana mwebali omuli endya embi, ebyobulamu, amazzi, ebyenjigiriza, n’engeri yenyini gyebakuzibwaamu.
Omubaka w’ekibiina kino mu Uganda, Aida Grima aamba nti ekitundu ky’obukiikakkono kyekisinze okukosebwa ng’abaana abaweza ebitundu 62 ku…
Poliisi ya kuno etegese okuvaayo n’amateeka amakakali aganaagobererwa mu kulaga emipiira gy’ekikopo ky’ensi yonna egigenda okutandika mu ssabiiti eno, okusobola okutangira emiranga egyaliwo mu 2010
Kinajjukirwa nti mu mwaka gwa 2010, abawagizi b’omupiira abasoba mu 70 bafiira mu bulumbaganyi bwa bbomu obwali e Kyaddondo Rugby grounds ne Ethiopian village e Kabalagala bwebaali balaba empaka z’ekikopo ezakamalirizo.
Omwogezi…
Abasawo balabuddwa ku kumala gawa abalwadde empeke za Aspirin.
Ekiwandiiko okuva mu ssomero ly’abakugu ku byobulamu erya National Institute of Health and Care Excellence kitegeezezza nga Aspirin bw’alimu ebirungo ebireeta entunnunsi era nga bwegutuuka ku Muntu alina obulwadde bw’omutima asobola okufa ekikutuko
Bagamba nti omuntu okuweebwa Aspirin alina okusooka okwekebejjebwa okukakasa nti omutima gwe teguliiko buzibu bwonna.
Aspirin…
Ababadde bakwataganya emirimu wansi w’enkola ya NAADS bonna bakugobwa
Kino kyogeddwa pulezidenti Museveni bw’abadde ayogerera ku mikolo gy’olunaku lw’abazira e Mityana
Pulezidenti agambye nti ensimbi ezirina okuzimba abalimi bano zibadde zigweera mu kusasula abakwanaganya bano kko n’enkungaana ezitaggwa
Kino kizze nga pulezidenti yoomu ono yakalangirira ng’enkola ya NAADs bw’egenda okugyibwaawo kubanga teyambye kujja bantu mu bwavu.
Museveni agambye nti…
Enkumi n’enkumi z’abavuzi b’obugaali beebetabye mu mpaka z’obukunya okutumbula okuvuga eggali
Abantu bano bonna obugaali babutuddeko nga tebambadde yadde akagoye nga mu bitono oyinza okugamba nti babadde buswa.
Empaka zino zibadde mu kubuga Manchester ne mu Brigthin n’ebibuga ebitali bimu okwetoolola amawanga agatali gamu.
Mu kibuga Manchester, abavuzi b’obugaali bano basimbudde mu kibangirizi ky’abatuukirivy era ng’eno abantu bakutte…
Omusajja amaze omwaka mulamba ng’atambulira mu kagaali ayiyiizza akagaali abalema kebasobola okukozesa okuwalamba ensozi
Calvin Williams kino yakiyiyiizza mu budde bw’amala mu kagaali era ng’akagaali ke kawagiddwa abantu okwetoloola ensi yonna
Williams teyazaalibwa nga mulema wabula yava waggulu n’agwa era okuva olwo ali mu kagaali.
Tiimu ya AC Milan egobye abadde omutendesi wa tiimu eno Clarence Seedorf nga tannaweza na myezi etaano mu kifo kino.
Filippo Inzaghi kati y’azze mu bigere bye.
Seedorf bukyanga atendeka tiimu ya Ac Milan abadde alemereddwa okuzza tiimu engulu nga mu mpaka ezakaggwa yafuna obubonero 45 egyagireka emabega wa Juventus.
Abasumba bana mu ggwanga lya Eriterea baliko omukuku gw’ebbaluwa gwebakuutidde omukulembeze w’eggwanga nga bavumirira embeera eri mu ggwanga
Bano yadde ebigambo tebabirambise mu ngeri ya namwatulira, abagasaka okuva erudda eyo bagamba nti bano kyebakoze kyandibazaalira akalimu obuwuka
Gavumenti mu ggwanga lya Eritera abaayo ebafugira ku maanyi kyokka nga teri anyega olw’ebiyinza okuva mu kwogera
Okukola dduyiro kiyamba abakyala beebajjanjaba kokoolo w’amabeere okuwona amangu
Abanonyereza abazudde bino ba mu America kyokk anga bagamba nti ekyenyamiza nti abakyala bangi tebakola dduyiro
Abanonyereza bano basabye abajjanjaba abalina kokoolo okubawa amagezi okukola ennyo dduyiro kubanga kibayambako
Okunonyereza kuno kukoleddwa ku bakyala abawerera ddala 1,735 abali wakati w’emyaka 20 ne 74 abalina kokoolo w’amabeere.
Okunonyereza kuno kwatandika okuva…
Abaddukanya ebyantambula mu paaka ye Nakawa ssibasanyufu n’okuddabiriza oluguudo lwe Nakawa okugenda mu maaso.
Bano bagamba nti okuyingira paaka n’okufuluma kufuuse okuzibu ddala olw’okukola oluguudo
Omu ku bakulu mu paaka eno Umar Kyewalabye agamba nt ate tebafunye kutegeezebwa kwonna ekireese ekikosezza entambula.