Poliisi ekubye omukka ogubalagala mu basuubuzi bomu Katale ke Wandegeya oluvanyuma lw’okuva mu mbeera nebafubutula abakalumbeze abalondeddwa KCCA okukulembera akatale kano ababadde balindiridde okulayizibwa.
Abali ku kakiiko kano babadde bakulayizibwa akulira ekibuga Jenniffer Musisi wabula abasuubuzi nebava mu mbeera nga baagala kwerondera kakiiko kaabwe.
Kino kiwalirizza poliisi okuva e Wandegeya okwebulungulala akatale konna okwewala effujjo lyonna okuva…
Oluvanyuma lw’enkuba okuddamu okufudemba mu district ye Buduuda ekyaviriddeko ettaka okubumbulukuka mu gombolol ye Bushika, abakulira district eno bawandikidde ofiisi ya ssabaminister ebayambe.
Omuntu omu ategerekese nga Denis Kisolo yeyakafa sso nga amaka agasoba mu 300 gaakoseddwa.
Omubaka wa pulezidenti mu disitulikiti eno James Shiraku agamba okubumbulukuka kw’ettaka kwavudde ku kuwaguza kw’omugga Kipingi ku ntandikwa ya wiiki…
Omusajja enzaalwa ye Romania abadde afa okusala amasavu akyejjusa oluvanyuma lw’okusala nga kati ate alinga mukadde.
Olubadde olubuto olunene kati chapatti .
Obunene omusajja ono bw’abaddeko nga tasobola kusiba kaguwa ka ngatto kyokka kati olususu oluyiika lw’asigazza terumukkiriza era ku busiba
Omusajja ono atandise okwejjusa ekyamusazizza amasavu
Abantu bwebabeera mu katyabaga baliko ennamba z’essimu zebakuba okufunaobuyambi.
Kati yye ono omukyala mu kibuga West Midlands ayise poliisi liitiliiti okumuyambako oluvanyuma lw’okuseerebwa Icecream.
Omukyala ono ategeezezza nti omusajja wa icrecream abadde yajjuzza kasoggo ke ate ng’atutte ssente ze.
Pulezidenti Museveni azzeemu okukkatiriza nga bwewaliwo obwetaavu bw’okukola ebyamaguzi ebisobola okuvuganya ku katale k’ensi yonna.
Ng’ayogerako eri eggwanga ku mukolo ogukyagenda , pulezidentia gambye nti Uganda tannafuna bulungi mu bintu by’ekola naddala ebiva mu nnimiro ng’emwanyi kubanga tebituukagana na mutindo.
Pulezidenti agamba nti abalowooza ku nkulakulana nga kino tekinnabaawo babyerabire.
Pulezidenti era ategeezezza nti Uganda eri mu nteseganya…
Muyizi tasubwa wa Manchester united Wayne Rooney nti ajja kusanyuka okukiikirira tiimu ye mu mpaka z’ekikopo ky’ensi yonna mu Brazil.
Rooney ow’emyaka 28 agamba nti yye webanamussa wejja okuzannyira ekikulu nti ali ku tiimu
Ono Yakateebwa goolo ana mu mipiira gy’ebweru ate nga mu mpaka za World cup zeyetabyeemu, tateebangako yadde ogumu
Ab’akabinja ka Bokoharama bazzeemu nate okukola obulumbaganyi ku bakilisitu mu kibuga Maiduguri okukkakkana ng’abantu 45 battiddwa
Bakawonawo bategeezezza omukutu gwa BBC nti beefudde ababuulizi b’enjri olwo nebakuba amasasi mu bantu
Ekibuga kino kibadde kirudde okulumbibwa bukyanga nga kiseera kya katyabaga kuirangirirwa omwaka gumu emabega
Abalwanyi bano babadde beesibiridde kutta bantu mu byaalo .
Ab’ettendekero lye Kyambogo bagenda kusazaamu diguli zonna ezafunibwa mu bubbi.
Kino kizze nga kaliisoliiso yakategeeza ng’abamu ku bayizi beebekobaana n’abakozi mu tendekero lino okujingirira ebiwandiiko
Amyuka akulira ettendekro lino Prof. Eli Katunguka agamba nti bakyanonyereza ku diguli za murundi ataana
Ettaka lizzeemu buto okubumbulukuka e Buduuda era nga waliwo okutya nti basatu balusuddemu akaba.
Minisita omubeezi akola ku bigwabitalaze Musa Ecweru agamba nti bamaze okusindika abantu baabwe nga bali wamu n’aba Redcross okuddukirira okualba bameka ddala abakoseddwa
Ettaka lyakoma okubumbulukuka e Buduuda mu mwaka 2010 era abasoba mu 300 beebaafa.
Bannaddiini ku biggwa by’abajulizi e Namugongo beesambye abantu abakyakonkomalidde ku biggwa
Bwanamukulu w’ekigo kye Namugongo Father Emanuel Kimbowa agamba nti abantu bano abasinga baba bali ku byaabwe.
Ono agamba nti abasinga ssi kituufu nti tebaba na ntambula wabula baba bagaala kunyagirako bantu nga beefula abalamazi.
Abantu abasoba mu 100 beebakwatibwa poliisi e Namugongo
Aduumira poliisi mu kampla n’emiriraano Andrew…