Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Cindy alemereddwa okukkaanya ne bba ku mwana

Omuyimbi Cinderella Sanyu amanyikiddwa ennyo nga Cindy alemereddwa okutegeragana ne bba kw’ani aba abeera n’omwana waabwe Kkooti y’amaka e Nakawa yali yabalagira okusooka bateese ne bba Mario Brunet kyokka nga Cindy ategeezezza bannamawulire nti eby’emirembe bigaanye. Cindy agamba nti kimwewunyisa okulaba ng’eyali bba agamba nti y’alina okusigaza muwala waabwe kubanga amusing ssente ng’amukyaalirako ku wiikendi kwokka Mario yatwala…

Read More

Abasuubuzi mu Owino beecwacwanye

Okuwulira omusango gw’abasuubuzi ba Katale ka ST Balikuddembe kuzzeemu akakyankalano oluvanyuma lw’abasuubuzi okuva mu mbeera oluvanyuma lw’okikitegerako nti omu ku bakwasisa empisa aba KCCA alina emmundu. Bano bavudde mu mbeera nebalumba omusajja ono eyebulankanyizza n’abulawo olwo poliisi nebiyingiramu mangu okutakiriza embeera. Yye omuwandiisi wa kkooti enkulu Michael Otto kati alagidde nti okukyuusa ekyapa ky'akatale ka Balikuddembe okudda…

Read More

Abasoba mu 60 batubiridde e Namugongo

Nga wakayita olunaku lumu lwokka nga ebijaguzo by’abajulizi byakaggwa wali ku kiggwa ky’abajulizi e Namugongo, abantu abasoba mu 60 bakyakonkomalidde ku kiggwa. Abamu ezibazza ewaabwe tebaziraba nga ate abalala  ab’enganda zaabwe baababuzeeko. Omu ku bano abuuliddwako omwana gw'agamba nti ye Joan nga waliwo n’omukadde aatalabikako. Ate ku kiggwa ky’abajulizi ekyabakulisitaayo, abantu abamu balabiddwako nga balinda baasi okubazza ewaka. Ku…

Read More

She pearls ekomawo leero

Tiimu ya Uganda eyabato abali wansi wemyaka 18 eya She Pearls,ekomawo leero ku ssaawa taano ezekiro okuva mugwanga lya Botswana oluvanyuma lwokuwangula ekikopo mumpaka za Africa youth championships week ewedde. Team eno wamu nemizannyo emirala egyakikirira Uganda okuli,okuwuga,emisinde,Badminton.Table tennis bonna bakujjira ku nnyonyi ekiro era nga minister wemizanyo Charles Bakabulindi yasuubirwa okubaniriza kukisaawe e’Ntebbe. Kati Uganda yakwetaba…

Read More

Ebola etabuse- Abazungu badduse

Mu ggwanga lya Sierra Leone obulwadde bwa Ebola bwongedde okubasenkenya nga bbo abangereza balabye tebaabisobole nebajjayo abantu baabwe Abakozi abalala abakyaliyo balagiddwa obutamala gatayaaya era nga bakugiddwa. Bbo ab’ekibiina kyensi yonna ekikola ku byobulamu bagamba nti bakola kyonna ekisoboka okutangira ekirwadde kino okubuna Obulwadde buno obutaliiko ddagala bwesibye nnyi mu mawanga ga Africa agali mu bugwanjuba Mu Sierra Leone…

Read More

Namugongo;Ssabasajja kabaka ku nguzi, Museveni ku bumu

Ssabasajja Kabaka wa Buganda abakkiriza abawadde amagezi okwewala ebikolwa eby’efujjo kko n’okulya enguzi mu kaseera kano nga tusemberera okulonda kwa 2016. Amagezi gano gabadde mu bubaka bw’omutanda eri abakkiriza abakungaanidde ku biggwa by’abajulizi e Namugongo Obubaka buno bwetikkiddwa Kaggo Tofiri Kivumbi Malokweza. Ssabasajja agambye nti ebizibu byonna ebikosa omuntu wa bulijjo bisobola okumalibwaawo ssinga enguzi eggwaawo kyokka nga…

Read More

30 bakwatiddwa e Namugongo

Poliisi ekutte abantu abasoba mu 30 e Namugongo. Mu bano mubaddemu abasazi b’ensawo n’abatamiivu n'abambadde mu ngeri esasamaza. Amyuka omwogezi wa poliisi, Polly Namaye agamba nti bano bagenda kuvunanibwa emisango egitali lumu bwebanatwalibwa mu kkooti olunaku lw'enkya Namaye agamba nti wabula yadde guno bweguli, okutwaliza awamu Namugongo atambudde bulungi nga tebafunyeemu misango gya maanyi Wabula ate waliwo omwana abuze…

Read More

Abawera balumiziddwa mu bubenje

Abalamazi ababadde bava e Luweero abanyiga ebiwundu oluvanyuma lw’okufuna akabenje Bano abasoba mu 40 babadde batambulira ku ki loole ekyefudde. Kiroole kino olw'endiima kiremeredde omugoba waakyo era okukkakkana nga kyevulungudde emirundi egiwera Ate ebyo nga biri awo, bbo abalala basatu balumiziddwa mu kabenje akagudde e Seeta Bano bategerekese nga Ashiraf Bajja,Sarah Nabweteme n’omugoba wa bodaboda atategerekese mannya. Bajja agamba nti…

Read More

Ono bamuferedde ku facebook

Abawala bangi basanga abasajja ku mutimbagano nebabangaza era nga bw’owulira nga baboogerako olowooza babamanya dda. Ono nno bakimumazeeko kubanga omusajja gweyasanze ku mukutu gwa Facebook ate yeeyamunyugunyizza Omusajja ono yakozesezza akaseera kebaabadde balina okusisinkana okukuba omuwala ono ekiti ku mutwe n’amubba buli kamu Omuwala ono kyeyalabye ku muwala ono yabadde tattoo eyabadde ku bulago bw’omusajja . Wabula poliisi ya…

Read More