Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Omuddusi Tayson Gay akomyeewo

Eyaliko nantameggwa w’embiro za mita 100 ne 200 omumerika Tyson Gay wakuddamu okudduka oluvanyuma lw’ensibo eyamussibwaako okuggwaako Gay yawummuzibwa mu myezi gw’okutaano omwaka oguwedde oluvanyuma lw’okukakasa nti enjaga gyeyali anuusa yali emuyambako okufumuuka Gay agamba nti ekibonerezo ekyamuweebwa kimuwadde amaanyi okuddamu okukola ennyo era ng’alinze empaka z’anasooka okwetabamu.

Read More

Minista afudde tannabugumya ntebe

Abadde yakalondebwa ku bw aminista mu ggwanga lya Buyindi afiiridde mu kabenje mu kibuga ekikulu Delhi Gopinath Munde, abadde alondeddwa okufuuka minisita akola ku nkulakulana y’ebyaalo. Okugwa ku kabenje akamusse, minisita abadde agenda ku kisaawe kufuna nyonyi emutwaala mu kyaalo kyaabwe nga wano emmotoka endala gy’evudde n’emukoona Abasawo abasoose okumukolako bategeezezza nga bwebatasobodde kutaasa bulamu bwe kubanga newebamutuusirizza…

Read More

Eddagala eritta obulumi tewali

Ebbula ly’eddagala eritta obulumi eri abantu abalina endwadde ezitawona litandise okweralikiriza abasawo Kigambibwa okuba nti abantu obukadde 18 beebafiira mu bulumi obw’ekitalo buli mwaka olw’okubulawo eddagala erikkakkanya ku bulumi. Mu ggwanga lya Ethiopia wokka, abalwadde ba kokoolo kigambibwa okuba nti batuuka n’okwesuula mu motoka nga bakooye obulumi. Ab’ekibiina ekibubabuda abalina endwadde ezitawona mu nsi yonna ekya The Worldwide…

Read More

Hepatitis B aremedde e Kasese

Obulwadde bw’ekibumba obumanyiddwa nga Hepatitis B, obwakwata abe Kasese temukwatiddwa mu ngeri ematiza Dr. Fredrick Businge agamba nti ab’obuyinza mu district eno tebakoze kimala kuyambako kusomesa bantu ku ngeri y’okwewalamu ekirwadde kino. Ono agamba nti mu kibuga kye Kasese kyokka, abantua baweza ebitundu 64% tebamanyi bikwata ku bulwadde buno nga n’obubonero bwenyini kw’obulabira tebabumanyi Dr. Businge era aagamba…

Read More

Obutimba bw’ensiri tebumala

Ministule ekola ku byobulamu asabidwa okutandika kawefube w’okugaba obutimba mu malwaliro ne mu bisulo by’amasomero kawefube ku musujja gw’ensiri bw’aa wakuvaamu ebibala. Omubaka we Kasese omukyala Winfred Kiiza agamba nti yadde waliwo obutimba obugabwa mu maka, tekimala ssinga abamu balekebwa ebbali. Kiiza awadde eky’okulabirako eky’eddwaliro lya Bwera ly’agamba nti teririna butimba ng’abalwadde basulirawo ekibassa mu…

Read More

Namungi w’omuntu yeeyiye e Namugongo

Olwaleero lunaku lwabajulizi. Wowulirira bino nga Namugongo awuuma olwa namungi w’omuntu eyekulungudde okuva ebule n’ebweya okweyiwa ku biggwa by’abajulizi okujjukira  abajulizi abaafiiririra ediini yaabwe ey’ekikulisitu. Okusaba kutandise ku biggwa byombi nga mu bakatolika, okusaba kukulembeddwaamu akulira essaza ekkulu erya kampala, Dr Cyprian Kizito Lwanga ate mu ba kulistaayo, Ssabasumba Stanley Ntagali y'akulembeddwa. Aba Kotido beebakulembeddemu okusaba kuno ku…

Read More

Eyazaalibwa n’amagulu ataano yeetaga obukadde nkaaga

Abasawo mu ddwaliro ekkulu e Mulago bakyagenda maaso n’okwekebejja omwana eyazalibwa nga alina amagulu ataano. Omu ku basawo omukugu mu kulongoosa Dokita  John Ssekabira agamba tebanazuula kiki ddala ekyaviirako omwana ono okubeera bwati wabula nga akyali mu mbeera nungi. Bbo bazadde b’omwana ono basaba buyambi obw’omwana wabwe ono n’abalala 4 bebaleka mu kyalo. Omwana ono yazalibwa  Awine Margret…

Read More

Setekeera babbi

Mu nsi muno ebyewunyisa tebiggwaawo. Mu ggwanga lya Ethiopia, waliwo omusajja akeera okugenda okulima ng’eno eba avuga akagaali eno ng’embuzi ye eri ku mugongo. Akabuzi kano nako kirabika kamanyiira nga kakanya kwenyeeza ng’eno mukama waako bw’avulumula akagaali ke. Abalabye ku katambi kano buli omu ayogera bibye ng’abamu bagamba nti kabadde kakooye n’akabikka ate abalala bagamba nti yabadde akatwaala…

Read More

tiimu y’okubaka esiimiddwa

Bannamawulire abasaka agemizannyo balonze team ya Uganda eyomuzannyo gwokubaka eya She Pearls kubwomuzanyi womwezi oguwedde olunaku lwa leero. Team eno okuwangula kidiridde okukola obulungi mumpaka zabato ezibadde ziyindira mu gwanga lya Botswana omwezi oguwedde. Team eno yawangula Kenya kubugoba 40-24 mu finals okuwangula ekikopo mumpaka zino. Guno gwemulundi ogusookedde ddala omuzanyo gwokubaka okwetaba mumpaka eziri wansi wemizanyo gya…

Read More

Ebivavava birungi ku baana

\   Abaana abato basobola okwagala okulya ebivavava ssinga bitandika kubaweebwa nga tebannaweza myaka 2 nebasobola okubimanyiira Abaana bangi bagaana okulya ebivavava yadde nga birungi nnyo eri obulamu bwaawe Ebivava nno bino bitangira endwadde nyingi mu baana nebabeera nga balamu bulungi Abazadde bakubirizibwa okuwa abaana baabwe ebivavava okuva ku myezi mukaaga okudda waggulu nga kino kirina okukolebwa wakati w’emirundi 5…

Read More