Abasajja basatu balekulidde emirimu gyaabwe okutambula ensi yonna nga basomesa abantu ku buwangwa bw’aba Irish omuli n’amazina gaabwe.
Chris, Kevin ne Ian bakutambula mu mawanga 23
Bamaze okuyitako mu mawanga agatali gamu omuli
Buli gyebalaga balangirira era nga basanga abantu babalinze.
Wetwogerera ng’abantu emitwaalo 25 beebabagobera ku mukutu gwa Youtube
Ekitebe ky’eggwanga lya Amerika kuno kyagala poliisi eyanguyirize okunonyereza ku munnamawulire munnafe wano ku Dembe Fm Herbert Zziwa eyakubwa batuuni ku mutwe omusirikale wa poliisi bweyala agasaka mu kulonda omubaka omukyala ow’eLuweero.
Zziwa yawaabwe dda ku poliisi olwokukompolwa nga akola omulimu gwe, nga era okunonyereza kugenda maaso.
Kati omwogezi w’ekitebe kino wano mu ggwanga Daniel Travis agamba…
Omuwendo gw’abakakwatibwa Kkolera mu district ye Nmayingo gulinye okutuuka ku bantu 40.
Bbo 2 bebakafa wabula nga waliwo okutya nti obulwadde buno bwandiyongera okusasanira mu bitundu ebirala.
Omubaka wa pulezidenti mu disitulikiti eno Mpimbaza Hashaka agamba baakutekawo enkambi mu gombolola ye Namutumba okutekamu abalwadde bonna kubatantagira okwegatta mu balamu ekirwadde kino basobole okukirinya ku nfeeta.
Agattako nti ab’ebyolumamu…
Abazannyi ba Uganda cranes bakyagenda mu maaso n’okwetegekera omupiira gwaabwe ne Madagascar.
Olwaleero abazannyi bano beegattiddwaako Yunusu Ssentamu.
Bano kati balindiridde kaputeni waabwe Andy mwesigwa abeegattako ekiro kya leero.
Mu mupiira ogwasooka Madagascar yakuba Uganda goolo 2 ku emu
Omupiira guno gwakubeera Namboole ku lw’omukaaga ku ssaawa kkumi.
Abantu bangi bagaala nnyo amawanga gaabwe naye wali olowoozezza ku bisolo.
Kati mu ggwanga lya Russia, ka kkapa akawulidde ng’oluyimba lw’eggwanga nga lukubwa kayimiridde nekegatta ku bayimba okutuusa oluyimba bweruwedde
Nanyini kkapa eno agambye nti na ye yewunyizza kubanga tebalina TV nga kirabika kabadde kalaba abayimba nga kayisa amaaso mu ddirisa
Omusajja ono agambye nti lweyasooka okulaba ka…
Mu ddwaliro e Mulago waliwo omwana azaaliddwa ng’alina amagulu ataano
Omwana ono amagulu amalala asatu g’alina gamera kuva mu kiwato.
Ono ono era alina embiriizi nnya n'ebitundu by'ekyama bibiri
Omusawo akoze ku mukyala ono Dr Stanley Nahaima agamba nti omwana ono taliiko buzibu bwonna kyokka nga bagenda kumukolako sikaani okulaba oba bamulongoosa
Maama w’omwana ono ategerekese nga Margaret Awine…
Omusajja abadde adedera omukyala kimuweddeko omukyala ono bweyekyaaye n’amweyambulira
Omukyala abadde atambuka agage akizudde nti wabaddewo omusajja amulinnya akagere ate ng’abadde talina bw’amwatuulira
Mu kino asazeewo okuyimirira n’atandika okweyambula engoye z’abaddemu lumu ku lumu n;asigala bukunya
Ababaddewo beebakiguddeko kubanga bafubye kukuba nduulu na kubikka maaso naye ng’omukyala ono tasalako
Omuwendo gw’abantu abasukkiridde obunene gwongedde okulinnya okutuuka ku bantu obuwumbi 2
Omuwendo guno kumpi gwekubisizzaamu ng’abantu abaali abanene mu mwaka gwa 1980 baali obukadde 875
Okunonyereza okukoleddwa era kulaga nti tewabaddewo ggwanga lutuukirizza lutalo ku bunene
Agamu ku mawanga agasingamu abantu abanene kuliko America, China, ne Russia ne Bungereza
Abakugu mu nsonga z’ebyobulamu bagamba nti ensi ekyuuse ng’abantu buli…
Abagoba ba taxi bategeezezza nga bwebatalina buzibu bwonna ku y’okusengula paaka ye Nakawa kasita babawa webadda awatuufu.
KCCA yalangiridde nga bw’egenda okusengula paaka eno eddizibwe e Banda mu kawefube w’okukendeeza omujjuzo.
Akulira ba dereeva Mustapha mayamba agamba nti beebasooka okusaba paaka zino zissibweewo kale nga tebakirinaako buzibu
Amaggye ga Uganda ssigakuva mu ggwanga lya Somalia okutuusa ng’abatujju ba Alshabaab baweddeyo.
Minista akola ku nsonga z’eby’okwerinda , Dr Crispus Kiyonga bino y’abyogedde bw’abadde awayaamu ne bannamawulire
Kiyonga era awakanyizza ebigambibwa nti abatujju babaliisa akakanja ng’agamba nti beebakaabya abatujju bano
Atangazizza nti era mu bulumbaganyi obwakolebwa abatujju bano ku palamenti teri wa maggye ga Uganda yattibwa