Olwaleero Uganda yeegasse ku ku nsi yonna okukuza olunaku lw’obuyonjo olwabawala abali mu nsonga.
Olunaku luno lugendereddwamu kugonjoola bizibu abakyaala n’abawala byebayitamu nga bali mu nnaku zaabwe.
Mu mwaka gwa 2012, ekibiina okuva mu ggwanga lya Budaaki ekya Netherlands Development Organisation kyakola okunonyereza nekizuula nti abawala bangi bayita mu mbeera mbi nga bali mu mbeera zaabwe ez’ekikyaala.
Omuwi…
Munnamawulire waffe eyakubwa ng’akola amawulire ge Luweero mu butongole agguddewo omusawo ku poliisi ye Luweero n’oluvanyuma akube poliisi mu mbuga z’amateeka
Zziwa yakubwa batuuni ku mutwe yadde nga yafuba okulajaana nti yali munnamawulire
E Luweero awerekeddwaak ab’ekibiina ekirwanirira eddembe lya bannamawulire aba Human Rights Network for Journalists.
Eky’enkola ya NAADS obutavaamu bibala bigisuubirwaamu kissiddwa ku by’obufuzi ebigibaddemu
Olunaku lwajjo pulezidenti museveni yalagidde nti enteekateeka eno esazibweemu kubanga teyambye bantu kwejja mu bwavu.
Omubaka wa municipaali ye Rukungiri Roland Mugume agamba nti enteekateeka eno tebadde mbi wabula ng’ejuddemu eby’obufuzi kale nga teyinza kuyamba bantu.
Mugume era agamba nti gavumenti essira yandibadde erissa ku kutuukirira balimu bonna…
Mu kawefube ow’okwanguyiza abantu omulimu gw’okwewandiisa okufuna endagamuntu, gavumenti yakutandika okuwandiika abantu ekiro.
Bino byogedde minista ekola ku nsonga z’omunda mu ggwanga Gen Aronda Nyakairima bw’abadde aggulawo omusomo gw’ennaku 2 eri abamu ku bakola omulimu gw’okufuna endagamuntu.
Nyakairima alaze bwenyamivu nti bukyanga kuwandiisa kutandika mu mwezi ogw’okusatu, abantu akakadde kano mu emitwaalo 80 beebokka abakewandiisa ku bukadde…
Kkooti y’amaggye ekendeezezza ekibonerezo eri omujaasi eyakuba amasasi mu bantu e Luzira n’attamu basatu.
Herbert Rwakihembo yali yasalirwa emyaka 30 kyokka nga bamusaliddeko wakati nga kati wakusibwa emyaka 15.
Abatuula ku kkooti eno nga bakulirwa Brig Ddiba Ssentongo bagamba nti emyaka 30 egyaweebwa Rwakihembo gyaali mingi nnyo okuva lwekiri nti gwegwaali omulundi gwe ogusoose okuzza omusango gwa…
Wano mu industrial area Poliisi ekubye amasasi mu bbanga okugumbulula abagoba ba bodaboda, nga bano babadde beesomye okugajambula omuvuzi w’ekimotoka kya bulekedawuni atomedde banaabwe 2 n’abatta
Ekimotoka kino number UVV 599 kiyingiridde bodaboda ezibadde zitambula agaazo,ekiggye abagoba ba bodaboda abalala mu mbeera nebaagala okukuba abadde akivuga .
Akabenje kano kagudde wano ku 8th street kinya nampindi n’amaka…
Ng'ebikumi n’ebikumi byabakulisitu bakyesomba okugenda e Namugongo okulamaga olwabajulizi abatiibwa, bbo abakulira ekijukizo kya St Balikuddembe baakujukira nga bwejiweze emyaka 50 bukyanga bajulizi bano balangirirwa mu lubu lw’abatukirivu.
Mu kino bategese ekitambiro ky’emisa ey’okukulemberwamu omuyambi wa ssabalabirizi mu bulabirizi bw’e KampalaBishop Cristopher Kakooza .
Omu ku batwala ekijukizo kino Emmanuel Byansi agamba baakujikira okwewayo kwabajulizi bano n’okujukira…
Pulezidenti museveni kyaddaaki avuddemu omwaasi ku byavudde e Luweero.
Pulezidenti agamba nti obubbi bw’obululu bususse mu nkambi ya DP
Ono agamba nti DP yatandika okubba akalulu mu mwaka gwa 1961 era nga ne Luweero yakoze ekintu kyekimu
Asonze ne ku Bushenyi, Entebbe ne Kasese gy’agamba nti abavuganya nayo babbirayo akalulu
Pulezidenti Museveni agamba nti okusinziira ku bujulizi bw’afunye, bwiino…
Mu nsi eno waliwo abantu nga bbo bazibu okutegeera
Omusajja enzaalwa ye Norway yesazeeko ekkudde erimu n’alifumba n’alirya .
Omusajja ono agambye nti enyama ye obuwoomi bwaayo bubadde nga bwa ndiga
Alexander ow’emyaka , 25, ekkudde lye eliriiridde ku lumonde n’olugiraasi lwa wayini.
Omusajja ono bino byonna azitegeezezza abantu ababadde bakungaanidde ku mukolo gw’okusiima abalina kitone ky’okukuba ebifananyi.
Uganda esigadde mu mizannyo ebiri gyokka omuli ogw’okubaka n’emisinde mu mpaka zabato eziyindira mu gwanga lya Botswana.
Kiddiridde okuwanduka mu mizanyo emirala omuli Badminton n’okuwuga ng’obuzibu buvudde ku kutwaala bazannyi batawera
Bo ababasi bawangudde Namibia ku bugoba 51-25 enkya ya leero.
Bo ab’emisinde bakudduka olunaku lwenkya
Empaka zikomekerezebwa ku lw’omukaaga lwa ssabbiiti eno.