Enkayana mu kibiina kya NRM Zikutte wansi ne wagulu nga kati waliwo ekibinja ky’abavubuka okuva mu zi yunivasite ezenjawulo abasazewo okulumba ekitebe ky’ekibiina wali e Kyaddondo nga bawakanya endoolito ezigenda maaso mu kibiina kyaabwe.
Bano era baagala akulira abavubuka ba NRM bonna mu ggwanga Dennis Namara alekulire kubanga alamereddwa okutabaganya ebiwayi by’abavubuka ebisika omugwa.
Twogeddeko n’akulembeddemu abavubuka…
Akakiiko akakwasisa empisa ak’ekibiina kya NRM tekannasalawo kyakukolera eyali omumyuka w’omukulembeze w’eggwanga prof, Gilbert Bukenya olw'okuwagira ow’oludda oluvuganya gavumenti Brenda Nabukenya mu kulonda kwe Luweero okwakaggwa.
Wiiki ewedde Bukenya yakubira Nabukenya kampeyini ekimenya ssemateeka wa NRM.
Kati akola nga ssabawandiisi w’ekibiina kya NRM Richard Twodong agamba akakiiko kakyetegereza nsonga eno n’oluvanyuma kasalewo ekyokukolera Bukenya.
Mungeri yeemu.
Endoolito mu kibiina…
Entiisa ebutikidde abatuuze mu district ye Sembabule oluvanyuma lwokugwa ku mirambo ebiri mu bitundu bibiri ebyenjawulo.
Abagenzi bategerekese nga Moses Muhwezi omutueze we Kabale mu gombolola ye Lwebitakuli nga ssentebe w’ekyalo kino Godfrey Tumwekwase ategezezza nga omulambo gwono bwegusangiddwa nga gugangalamye kumpi n’edduuka ly’omutuuze ategerekese nga Julius Kabigo.
Agamba omulambo guno tegusangiddwako kiwundu kyonna yadde ekinubule nga…
Abalamazi abasoba mu 100 beebamaze okutuuka e Namugongo ng’ebula ennaku ntono olunaku lwa bajulizi lutuuke
Akola ku nsonga z’abajulizi ku kiggwa e Namugongo, Father Joseph Muwonge agamba nti mu bazze mwemubadde n’abatambuzza ebigere okuva e Rwanda
Abalala bavudde Bushenyi, Masaka, ne Nebbi.
Father Muwonge agamba nti bakolagana ne poliisi okulaba nti abalamazi babeera mu mbeera entebenkevu okutuukira ddala…
Poliisi esuubizza okukozesa emyaka gino ekikumi gyekuza okuweyubula n’okukyuusa ekifanaanyi kyaayo
Olwaleero omumuli gwa poliisi ogugenda okutambuzibwa okuyita mu disitukiti zonna eza Uganda gusimbudde okuva ku poliisi ya jinja Road nga gusookedde mu buvanjuba bw’eggwanga
Aduumira poliisi mu kampala n’emiriraano Andrew Felix Kaweesi y’akoze omukolo gw’okusimbula omumuli guno
Agukwasizza aduumira poliisi mu kitundu ky’obuvanjuba Siraje bakaleke.
Anyonyodde nti mu…
Ekibiina kya NRM kisabiddwa okusooka okukola ku bizibu ebiruma bannakibiina nga tebannapapiriza kubonereza abo abawagira abalala.
Kiddiridde eyali amyuka omukulembeze w’eggwanga Gilbert Bukenya okugenda e Luweero n’ayiggira munna DP akalulu era ng’ekibiina kyatiisizza dda nga bw’agenda okubonereza.
Omubaka we Makindye mu buvanjuba John Siimbwa agamba nti ebizibu ebiri mu NRM bingi nnyo nga byebisaanye okusooka okukolebwaako.
Omusajja eyakatankidde eccupa ya bond 7 avudde ku kizimbe kya Qualicel bus terminal nebamutwaala mu ddwaliro ng’ataawa.
Abeerabiddeko n’agaabwe bagamba nti omusajja ono aludde ng’alina ebirowoozo nga asiiba anywa
Ate abalala bagamba nti abadde n’ebizibu ne mukyala we era nga kyekibadde kimubuzizzaako emirembe.
Kabangali ya poliisi y’emututte mu ddwaliro e Mulago.
Omusirikale agambibwa okusomola ebyaama ebyaali ku butambi obwakwatibwa nga bulimu gen Kale Kaihura ayimbuddwa
Ronald Poteri ayimbuddwa oluvanyuma lw’okusasula obukadde 2 ea buliwo ng’ate bboa bamweyimiridde 3 balagiddwa okusasula obukadde 10 ezitali za buliwo
Omulamuzi agubadde mu mitambo Lillian Buchana era amulagidde okuwaayo paasipoota ye.
Kati omulamuzi ataddewo olunaku lwa nga 13 omwezi ogujja okutandika okuwulira emisnago gye.
Poteri…
Abakyala basatu abeekubisizza bifananyi nga tebambadde bulawuzi bafuuse ekyelolerwa
Abawala bano okuli ow’emyaka 20,21 ne 20 basazeewo okugenda okwesanyusaamu nga tebambadde bulawuzi.
Obwedda buli gyebayita ng’abantu bakyuuka era ng’ababakubye ebifananyi nebabissa ku mutimbagano, bagamba nti bitunda nga keeki eyokya
Abantu bana okuli n’omusawo kikakasiddwa nti balina obulwadde bwa Ebola mu ggwanga lya Sierraleone
Obulwadde buno kigambibwa okuba nti bwavudde ku nsalo ye Guinea ng’eno abantu 145 beebakalusuulamu akaba.
Tewanabbaawo ddagala lya Ebola era ng’abakugu balwana kulaba nti tebwongera kusasaana