Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Abazadde Balabuddwa obutafumbiza Batanetuuka

  Nga Uganda yegasse kunsi yonna okukuza olunaku lw’obulwadde bw’okutonya mu bakyaala, abazadde baweereddwa amagezi okwewala okufumbiza  bawala baabwe nga tebanetuuka. Okusinziira ku kunonyereza kw’ebyobulamu okwakolebwa mu 2011,omuwala omu ku bana  wakati w’emyaka 15 ne 19 wano mu ggwanga aba lubuto n’omwana we asooka nga babiri ku bano balwala ekirwadde kino mu lufuutifuuti ekimanyiddwa nga fisitula.   Omusawo okuva…

Read More

Nabukenya azzeeyo mu palamenti

Munna DP Brenda Nabukenya awangudde akalulu k’omubaka omukyala owe Luweero. Nabukenya awangudde munne bwebabadde basing okubeera ku mbiranye. Nabukenya afunye obululu 38,582 ate Nalwanga n’afuna obululu 22,236. Faridah Namubiru afunye obululu 717 ate Ramula Kadala n’afuna obululu 758. Omuwanguzi alangiriddwa akulira eby’okulonda e Luweero, alex Komuhangi wakati mu namungi w’omuntu ng’ono abaddemu ababaka ba palamenti, abatuunulizi b’eby’okulonda ne bannabyabufuzi…

Read More

Omuzadde ayiiya

  Abakyala bagaala nnyo okulaba abaana baabwe nga bazannya nga kweekwava enjogera egamba nti omwana azannya lyessanyu ly’omuzadde. Wabula yye omukyala ono asusse bw’ayiyiiza amadaala g’ekizimbe kye negafuuka gogolo. Kuno abaana kwebasiiba nga beewuubira era nga tebakyakaaba kuwalampa madaala.  

Read More

Parambot eggaddwa

Ekitongole ekiwooza olwaleero kigadde kkampuni ensogozi y'omwenge eya Parambot Breweries. KKampuni esangibwa Kitetikka ku lwe Gayaza Bano bagamba nti kkampuni eno egibanjibwa emisolo egisoba mu buwumbi 2 era nga baludde nga bababanja naye nga tebekyuusa. Allan Ssempebwa nga ono yakulembeddemu ekikwekweto kino, atubuulide nti bano bamaze ebbanga nga tebeefirayo kyebavude babaggala.

Read More

Nabukenya ne Nalwanga bamaze okulonda- akavuyo katandise

Munna DP Brenda Nabukenya ne munna NRM Rebecca Nalwanga bamaze okulonda.   Bano balondedde mu kifo kimu ekya St Jude era wano beesiseeko mu mikono.Nabukenya wabula agamba nti atidde olw'enkalala ezitategerekeka ate nga yye Nalwanga agamba nti abalonzi abamu obutaba ku nkalala kimweralikirizza.Ab'akakiiko akalondesa ne Poliisi bbo bagamba nti byonna bitambula bulungi   Waabaluseewo akavuyo mu kifo ekimanyiddwa nga…

Read More

E Luweero Kulonda

  Okuddamu okulonda omubaka omukyala mu district ye Luweero kutandise namiuyo mu bitundu ebimu. Kino kiddiridde abamu ku balonzi okusanga nga amanya gaabwe tegali ku nkalala z’abalonzi. Olwokaano mulimu abantu bana okuli munnaDP  Brenda Nabukenya, Munna NRM  Rebecca Nalwanga n’abesimbyewo kulwabwe okuli  Faridah Namubiru ne Ramulah Kadala. Abantu abasoba mu mitwalo 18 bebasubirwa okwetaba mu kulonda okwetaba mu kullonda…

Read More

Emisinde gya Akiibua

Poliisi etegeezeza nga bw'emazze okwetegekera obulungi emisinde egigenda okubaawo ku  lunaku olwa Sunday, nga gino gyeginaweerekera ebikujukko bya poliisi okuwezza emyaka 100. Gino emisinde gigenda kugulwaawo sipiika wa palament y'eggwanga , era nga gitambulidde ku mulamwa ogw'okusonda ensimbi ez’okuymba abaayirwa acid. Ayogerera poliisi mu kampala n’emiriraano Patrick Onyango agambye nti  buli kyetaagisa kiwedde , Naddala eby'okwerinda.

Read More

Omupiira gwa Madagascar- Tikiti zituuka lwa kutaano

Tikiti z'omupiira  gwa Uganda Cranes ne Madagascar ogwokudingana zakutandika okutundibwa kulwokutaano lwa week eno. Tickets zino ziri kumitwalo shs 20,000 ,shs 50,000 wamu ne shs 150,000 ezekikungu. Akulira ebyensimbi mu Fufa Decolas Kiiza akubiriza bana’Uganda okugula tickets zino mubifo byoka Fufa byetaddewo. Uganda egenda kuzanya omupiira ogwokudingana ne Madagascar mumpaka ezokusunsulamu abanetaba muza Africa omwaka ogujja.  

Read More