Kkooti eriko bakazi baggya babiri beevunaanye lwa kulwanira musajja
Abakazi bano okuli Justine Nantume ne Florence Jaruwa basimbidwa mu maaso g’omulamuzi w’edaala erisooka ku kkooti ya city hall Erias Kakooza.
Emisango gino tebagyegaanye
Bano kkooti ebasingisizza emisango era buli omu n’emulagira okukola bulungi bwansi okumala essaawa makumi abiri era nga bakolera wamu
Buli lunaku balina okukolako essaawa emu.
Ng’ebula ssaawa ntono abe Luweero balonde omubaka omukyala omuggya, abatunuulizi b’eby’okulonda basabiddwa obutasukka webalina kukoma
Ebibiina bingi bitaddewo abatunuulizi b’eby’okulonda nga n’abamu baavudde wano kampala
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bye Luweero, Lameck Kigozi agamba nti tebagenda kugaana Muntu yenna kulondoola kulonda kati anagoberera amateeka
Kigozi agambye nti basobodde era okukoma ku babadde bawenja akalulu ku ssaawa esembayo…
Mu ggwanga lya Russia,Omukyala abadde awuga, essanyu limuweddeko emmotoka bw’ematuse waggulu n’egwa mu kidiba ekizungu mw’abadde.
Ekidiba kye kiri mabega w’ekizimbe gaggadde nga kino emanju wasimba emmotoka.
Abadde avuga emmotoka eno emulemye okusiba okukkakkana ng’eyiseewo okutuuka mu puulu.
Omukyala ono azirikiddewo kyokka ng’abadde agivuga y’adduse okuva mu motoka n’ataasa omukyala ono abadde abide
Omusajja ono agamba nti yadde emotoka…
Mu ggwanga lya Italy, omulamuzi abadde awulira omusango aguyimirizza bw’alengedde abagalana babiri nga bali mu kigwo gwa mukwano okuliraana kkooti gy’abadde akubiriza.
Omulamuzi ono Anna Ivaldi asabye munnamateeka w’oludda oluwaabi abadde ayogera okusooka okuyimiriza kubanga abadde awulira amaloboozi agatategereka.
Omulamuzi ono atambuzizza amaaso era agasudde ku bagalana mu kasonda nga zazze dda okunywa.
Abagalana bano bagambye nti babadde…
Kakati bbyo ebyewunyisa tebiggwa mu nsi.
Mu ggwanga lya America, mu kibuga Los Angeles ,waliwo abalongo abagabana buli kimu.
Bano bagabana bingi omuli omukutu gwa facebook, essimu, engoye na buli kimu
Ekisinga okwewunyisa nti n’omusajja balina omu ate nga tebamulwanira
Obulumbaganyi obulala obukoleddwa mu ggwanga lya Nigeria bulese abantu 17 nga bafudde
Kino kibaddde ku kyaalo Alargano mu bukiikakkono bwa Nigeria nga kino kiri kumpi n'ekyo ekyawambibwaako abawala abasoba mu 200.
Obulumbaganyi buno buzze ng'obulumbaganyi obulala mu kibuga Jos bwakatta abantu 118.
Mu bulumbaganyi buno aba Bokoharam banyaguludde n'ebintu bya bantu ku kyaalo Alargano.
Abantu ababeera mu bitundu…
Abantu babiri bafiiridde mu kabenje akagudde e Mbiriizi ku luguudo oluva e Masaka okudda e Mbarara.
Ekimotoka ekisomba amata No. UAU 474B kiyingiridde motoka ntono kika kya Mark 2 No.UAN 161N
Omogezi wa poliisi mu bitundu bino Noah Sserunjogi agambye nti mu bafudde mwemubadde omusuubuzi w’erinnya Kizito Byakatonda.
Omulala abadde muvuzi wa bodaboda e Lwengo Richard Ssebadduka.
SSerunjogi akabenje…
Kooti ye Makindye olunaku olwaleero etandise okuwulira okujulira kwa Adam Sulaiman Kalungi nga ono ye yali muganzi w’omugenzi Cerina Nebanda eyali omubaka w’eButalejja.
Kalungi awakanya ensala y’omulamuzi Esther Nambayo eyamusiba emyaka 4.
Munnamateeka wa Kalungi Evan Ocheng agamba omulamuzi yemalira ku bujulizi bw’oludda oluwaabi obwabwe nabusuula muguluka.
Kalungi yasingisibwa omusango gwokutta omuntu mu butanwa era nasibwa emyaka 4.
Omusango…
Kooti mu ggwanga lya Misiri esindise eyali omukulembeze w’eggwanga lino Hosni Mubaraka mu kkomera yebakeyo emyaka 3.
Kiddiridde ono okusingisibwa emisango gy’okubulankanya ensimbi y’omuwi w’omusolo.
Bbo batabani be ababiri okuli , Alaa ne Gamal, bbo basibiddwa emyaka 4.
Oludda oluwaabi lugamba bano bemolera obukadde bwa doola obusoba mu 17 nga bagamba baagala kulongoosa mbiri z’obukulembeze bw’eggwanga.
Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga olunaku olwalero wakubitekamu engatto ayolekere ekibuga Dubai mu United Arab Emirates okukunganya ettafaali eryokukulakulanya Obuganda.
Omwogezi wa Buganda Denis Walusimbi agambye nti Katikiro wakumala enaku 3 e Dubai era ngawakusisinkana Abaganda abasoba mu 7000.
Walusimbi agambye nti Katikiro era alina entekateka ezokugenda mu bibuga ebirala omuli London, New York nebirala.