Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Ababala abantu bakulya nga bavubi

Buli agenda okuwebwa omulimu gw’okubala abantu mu ggwanga wakufuna  emitwalo 20 buli lunaku. Omukwanaganya w’enteekateeka eno mu ggwanga  Francis Mashate agamba abantu  8000 bebasubirwa  okuweebwa emirimu. Mashate agamba buli omu era wakuwebwa ssente z’entambula, ekyemisana nga era okulabirira bano kwakumalawo obuwumbi 16. Akulira ekitongole ekivunanyizibwa ku bunji bw’ebintu mu ggwanga ….agamba emitwalo gyino 20 si musaaala wabula zakuyamba…

Read More

Luweero- Ebikozesebwa bituuse

Akakiiko k’ebyokulonda kamalirizza okusindika ebinakozesebwa mu kuddamu okulonda omubaka omukyala owa district ye Luweero. Ssentebe w’akakiiko kano Badru Kigundu agamba nti bino byonna byakukuumibwa poliisi nga tebinawerezebwa mu magombolola ewagenda okulonderwa. Kigundu ategezezza nga bwebalongosezza enkalala zonna nga kati basubira abalonzi abasoba mu 180,000 mu kulonda okw’okuberawo olunaku olwokuna. Mungeri yeemu bbo ab’oludda oluvuganya gavumenti bagumbye e Luweero…

Read More

Tetujja kuva South Sudan- Katumba Wamala

Ssabaduumizi w’amaggye g’eggwanga Gen Katumba Wamala asambazze abyafulumidde mu alipoota y’ekibiina ky’amawanga amagatte yonna nti amaggye ga UPDF gaakozesa Bomu zisabyalo mu ggwanga lya South Sudan. Gen Wamala agamba alipoota eno ekontana n’eya 2013 eyalaga nga bomu zino bwezaali edda munda mu ggwanga lya South Sudan. Bwatuuse ku kya ssabayekera Riek Machar’s okulagira amaggye ga UPDF okwamuka…

Read More

Katikkiro afulumizza embalirira ku ttofaali

Katikiro wa Buganda Charles peter Mayiga afulumizze enyingiza kko n’enfulumya y’ensimbi z’azze akungaanya mu kawefube wokuzzaawo amasiro gonna kko nekizimbe ekigya ekya Masengere. Bw’abadde ayogerako eri olukiiko olutudde leero, Katikiro agambye nti obuwumbi busatu mu obukadde 127 bwebwakagenda mu nsawo ya Buganda okuva mu makubo ag’enjawulo okuli n’etofaali ly’azze akungaanya,songa obuwumbi 3 abantu babweteema nga balindiridde…

Read More

Akawoowo kakaano

Waliwo akawoowo akakoleddwa ng’omuntu akeefuuyiira aba awunya ng’abasajja abalwaanyi namige abakulukuse enviiri. Akawoowo kano akamanyiddwa nga Norse Power katongozeddwa mu kibuga Newyork Akawoowo kano akawunyako kamuwa ekifananyi ky’abasajja bedda abalwanyisanga amafumu ng’enviiri zibakulukuta nga bonna basakaatidde amalevu.

Read More

Mulonde NRM- Museveni

Pulezidenti Museveni Yoweri olwaleero asiibye Luweero ng’ayiggira munna NRM Rebecca Nalwanga akalulu Olukungaana lw’ayogereddeko lubadde wobulenzi ng’eno gy’asabidde abatuuze obutesembereza bakulembeze babalimba banywereere ku NRM Agambye nti basaanye okulonda abakulembeze abanawagira enteekateeka za gavumenti okwewala okuva ku lusaniya Pulezidenti agenda kubeera Bombo olunaku lw'enkya ate yye munna DP Brenda Nabukenya wakubeera wobulenzi Olunaku lw'enkya kampeyini lwezifundikirwa ate ku Lw'okuna…

Read More

Micho akyaali mugumu

  Omutendesi wa tiimu y’eggwanga Micho agamba nti essuubi terinnagwaawo eri Uganda mu mpaka z’okusunsulamu abaneetaba mu mpaka z’ekikopo kya Africa. Kiddiridde Cranes okukubwa goolo 2 ku 1 mu mupiira ogwazanyiddwa olunaku lwajjo. Micho agamba nti Uganda tennafiirwa mikisa gyonna kubanga yasobodde okujjayo ggoolo emu nga ssinga ekuba Madagascar wano , tewajja kuba buzibu Uganda yakuddamu okuzannya Madagascar ng’ennaku…

Read More

Okulwana e South Sudan- abasuubuzi balabuddwa

Abasuubuzi abaddukanyiza egyaabwe mu ggwanga lya South sudan balabuddwa obutasukka kibuga Juba Kiddiridde gavumenti y’eggwanga lino n’abayekeera okuvvoola endagaano y’okussa wansi emmundu nebaddamu buto okulwana. Akulira omukago gwa bannayuganda abakolera mu ggwanga lya South Sudan, Rashid Manafwa ategeezezza nti embeera ekyaali nzibu mu bibuga bingi era nga bannayuganda basaanye okwewala okukolera mu bibuga ebitali bimu. Manafwa agamba nti…

Read More

Eyafumita abantu ebiso asibiddwa emyaka 8

Omuvubuka eyafumita abakyala basatu ebiso mu bitundu bye Katanga asibiddwa emyaka munaana. Sadati Kiggundu yalumba Jacqueline Mbabazi, Aisha Nabukenya ne Evelyn Mirembe mu kiyungu gyebaali n’abafumita ebiso olwo n’ateekako kakokola tondeka nyuma.  Ng’awa ensala ye , omulamuzi Lilian Buchana agambye nti omuvubuka ono bamuwadde emyaka gino asobole okugololwa ettumba afuuke omuntu mulamu.

Read More

Okuwandiika abantu- Tusasulako omu

Okuwandiisa abantu abagala okufuna endagamuntu kugenda mu maaso, gavumenti egamba nti yakusasula omuntu omu kw’abo abawandiisa. Kino kigyidde mu kaseera ng’abawandiisa abantu ku byaalo ebitali bimu beemulugunya ku butasasulwa nga bangi tebafunanga ku musaala. Amyuka omwogezi w’akakiiko akalondesa, Benjamin Katana,agamba nti ku buli kyaalo basasula omuntu omu ng’ono afuna emitwalo 30 Katana agamba nti buli omu akimanyi era…

Read More