Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Okubala abantu- wasigaddeyo ennaku 100

  Ekitongole ekikola ku miwendo gy’ebintu kitandise okubala ennaku ezisigaddeyo okubala abantu mu ggwanga lyonna kutandike Olwaleero ekitongole kino kitongozezza ennaku 100 okutuuka ku mulimu guno. Mu nnaku zino, bagenda kwongera okubangula abantu ku nteekateeka eno abantu okugitegeera obulungi. Akulira ekiwayi ekikola ku mulimu guno Francis Mashete agamba nti betegese bulungi era nga buli kimu kiri mulaala. Okuwandiisa abantu kwakutandika…

Read More

Musseewo amateeka ku mmere

Amaloboozi agasaba nti wabeewo amateeka ku mmere abantu jebalya gatandise okuwulirwa Ab’ekibiina ekirwanyisa omugejjo mu nsi yonna bagamba nti emmere emu yabulabe eri obulamu bw’abantu obutawukanako na bintu birala nga sigala Bano bagaala wabeewo okukoma ku kkampuni ezikola emmere egezza abantu ng’emmere eno ewandikiibwaako ebigambo ebinene nti egezza nga bwekikolebwa ku sigala Ab’ekibiina kino ekya The Food and…

Read More

Abasajja abekebeza beeyongedde

Ng’okukwekwenya abasajja okwekebeza kugenda mu maaso, okunonyereza kulaga nti abasajja abeekebeza ennaku zino beeyongedde Akola ku kuziyiza ekirwadde kino mu kakiiko akalwanyisa mukenenya Betty Nabukeera agamba nti basaawo enkambi z’abasajja ez’enjawulo era ng’abasajja bangi bajjumbidde ddala ba dereeva ba biloole Nabukeera akitadde ku kusomesa abantu okuliwo nga kati abantu bakimanyi nti kirungi okwekebeza Mu kaseera kano abasajja abaweza…

Read More

Katikkiro alabudde ababba ettaka lya Buganda

  Katikiro wa Buganda Owek.Charles Peter Mayiga alabudde abantu abeesomye okugula ettaka oly'ebifo by’obuwangwa bya Buganda. Ono awadde ekyokulabirako eky’ettaka ly’eNaggalabi eriguliddwa abantu abenjawulo nga kw'otadde n’ery'amasiro ge  wamala. Katikkiro agamba nti ekikwasa ennaku kwekuba nti abantu abefuula nti balina omutima gwa Buganda ogutafa beebetabye mu kitunda ttaka lino. Bino Katikkiro abyogeredde mu lukiiko lwa Buganda nga akuba toochi…

Read More

Eby’okwerinda bikaligiddwa e Luweero

Poliisi yenyonyoddeko ku basirikale abanji beeyiye mu disitulikiti ye Luweero abaayo nga betegekera okuddamu okulonda omubaka waabwe omukyala ku lunaku olwokuna. Omwogezi wa poliisi mu bitundu bino  Lameck Kigozi agamba kino kigendereddwamu kutebenkeza bya kwerinda mu biseera by’okulonda n’oluvanyuma . Abantu 4 bebesimbyewo ku kifo ky’omubaka omukyala mu district eno okuli Munna NRM  Rebecca Nalwanga ne munna…

Read More

Olukungaana lw’abawagizi ba Mbabazi luyimiriziddwa

Poliisi erinye eggere mu lukungaana lw’abavubuka ba NRM e Kayunga. Olukungaana luno lubadde lwakukubirizibwa mukyala wa ssabaminister w’eggwanga  Jackeline Mbabazi. Akulira abavubuka bano, Swaibu Aliga agamba nti poliisi bagiteegeeza bukyaali era nga babadde tebasuubira kutataaanyizibwa. Olukungaana luno welujidde nga wakyaliwo okusika omugwa wakati w’ebiwayi bw'abavubuka mu kibiina kya NRM naga abamu bawagira president Museveni yesimbewo yekka mu kamyufu…

Read More

2016:Kadaga ali mu mwanjo

Abakyala mu bibiina by’obanakyewa basembye okunonyereza okwafulumidde mu lupapula lwa Daily Monitor okwalaga nga sipiika wa palamenti  Rebecca Kadaga ne muk’omukulembeze w’ggwanga Janet Museveni  bwebali ku mwanjo mu kuddira mu bigere bya Presidenti Museveni. Okunonyereza kuno kwakolebwa olupaopula lwa Daily Monitor n’omukago ogugatta ebibiina by’obwanakyewa nga era kwakulemberwamu ab’ekibiina ekikola okunonyereza munsi yonna aba Research World…

Read More

Omusawo Lydia Namubiru gumusse mu vvi

  Omusawo agambibwa okukuba omwana empiso gyeyali yekozesezzaako gumusse mu vvi Rose  Namubiru omwana eyali omukozi Victoria Medical center yakozesa empiso ku mwana wa myaka 2. Omulamuzi Olive Kazarwe agambye nti Namubiru musawo amaze emyaka 30 ng'awereza nga yandibadde akimanyi nti kikyaamu okukozesa empiso emu ku bantu babiri Kazarwe agamba nti Namubiru yali amanyi bw'ayimiridde mu bya Muenenya nga…

Read More

Teri kwongezaayo kuwandiisa bantu- Minista

Gavumenti ezzeemu okukikkatiriza nga bw'etagenda kwongezayo kwewandisa kwa bannayuganda okufuna endaga Muntu. Gavumenti  yatandika okuwandiisa abantu, kyokka ng'enteekateeka eno ezze efuna ebizibu eby'enjawulo naddala ebyuuma okwononeka wamu n'abawandiisa okwekalakasa obutasasulwa. Minisita akola ku nsonga ez’omunda mu ggwanga , Gen. Aronda Nyakayirima agambye nti tewali nteekateeka zonna, okwongezaayo okwewandiisa,wadde nga waliwo ebizibu ebisangiddwa. Abantu abasoba mu bukadde 18 abali…

Read More

Bulange Plaza kati eyitibwa Masengere

Kamalabyonna wa Buganda owek Charles Peter Mayiga azzeemu okukikkatiriza nga bw’atajja kukolagana Muntu yenna atali mutangaavu mu by’akola. Katikkiro okwogera bino abadde atikkula aba Multiplxe ettofaali lya bukadde 10 n’abantu abalala abaleese ettofaali. Kamalabyonna agambye nti ekisinze okutta Buganda ne Uganda okutwaliza awamu beebakulembeze abatali beerufu naye nga kino kyakukyuuka ku mulembe guno. Owek Mayiga agambye nti wakugenda…

Read More