Sipiika wa palamenti Omukyala Rebecca Kadaga alagidde minisitule ekola ku nsonga z’omunda mu gggwanga okunyonyola mu mivuyo egyetobese mu kuwandiisa abantu okufuna endaga muntu
Kiddiridde omu ku bababaka Martin Drito kutegeeza ng’abantu be okuva e Madi bwebakyusiddwa nebayitibwa abalugwaala ate ng’aba madi balambikibwa bulungi mu ssemateeka
Minisita w’ensonga z’omunda mu ggwanga Gen Aronda Nyakairima alagiddwa okukola ekiwandiiko…
Akulira poliisi ye Kyengera n’anonyereza ku buzzi bw’emisango bakwatiddwa nebaggalirwa
Bano ekibakwasizza musibe eyafiiridde mu kaduukulu ka poliisi gyebatwaala
Abakwatiddwa ye Jackson Mawumbe ne Edison Karuhanga
Omwogezi wa poliisi Fred Enanga agamba nti bano babaggalidde ng’okunonyereza bwekugenda mu maaso.
Enanga agamba nti bagaala kukakasa oba omusibe yafudde gage oba yatulugunyiziddwa
Ebizimbe bitaano biggaddwa lwa bujama.
Abakoseddwa kuliko aba Kyadondo rugby grounds, Lugogo cricket oval, Nateete shopping Centre n’ebirala.
Ayogerera ekitongole kya kampala capital city authority,Peter Kawujju atubuulidde nti baludde nga balabula bannanyini bizimbe bino nga mpaawo yenyeenya era nabo bwebatyo kwekubiggala.
Ebizimbe ebigaddwa tebibadde na kabuyonjo ng’amateeka ga KCCA bwegalagira
Okuddamu okulonda omukyala we Luweero kweyongeddemu ebbugumu
Eyali amyuka omukulembeze w’eggwanga Prf Gilbert Bukenya olwaleero naye alangiridde nga bw’agenda okuyiggira owa DP Brenda Nabukenya akalulu.
Bukenya agambye nti egend akwolekera Luweero awagire aba DP yadde nga wa NRM
Bbo abavuganyamu Lukiiko olukulu olw’eggwanga ensonga ze Luweero bazitutte mu palamenti
Ssabawandiisi wa DP Matia Nsubuga agamba nti bategeezeddwa nti abagenda…
Kooti etaddewo nga May 25th okusalawo oba okusoma embalirira y’eggwanga eya 2015/2016 kugende maaso oba nedda.
Kino kiddiridde omubaka wa Kalungu Joseph sewungu okuddukira mu kooti eno nawawabira ssabawolereza w’eggwanga nga ayagala okusomebwa kw’embalirira eno kuyimirizibwe oluvanyuma lwa gavumenti okukendeeza ku nsimbi zeteeka munkola yabonna basome owa primary.
Omusango guno guli maaso w’amyuka omuwandiisi wa kooti enkulu …
Bannabibiina ebirwanirira eddembe ly’abantu abawangaala ne siriimu balina essuubi nti omukulembeze w’eggwanga yandyekuba mu kifuba natateeka Mukono ku teeka lya siriimu nga terinakolebwamu nongosereza ezeetagisa.
Omukwanaganya w’ekibiina ekigatta abasajja abawangaala ne siriimu Richard Sserukuuma agamba nti enyingo 41 mu teeka lino yebabobya emitwe nga evunaana abasiiga banaabwe siriimu mu bugenderevu.
Agamba nti akawayiro kano singa tekakyusibwamu omuwendo…
Abagaalana bano abasangibwa mu Spain, omukwano gubatisse era tebalinze ekigwo bakikwatidde mu kizimbe kya Banka.
Ababiri bano babadde mu kasenge k'obuuma obuwandula ensimbi (ATM) era tebalinze kufuluma nezidda okunywa.
Bano balengeddwa abantu ababadde ebweru nga balaba tebavaayo.
Poliisi eyitiddwa n'ebatwala alwakufuuna byeneena ate nga yyo banka ebalagidde okujjayo ensimbi zaabwe zonna lwakuvvoola kitiibwa kyaayo.
Omujjuzo mu ddwaliro kya KCCA e kisugu kuzadde ebbula ly’eddagala mu ddwaliro lino.
Omusawo mu ddwaliro lino, Molly Businge agamba nti buli lunaku bafuna abalwadde abasoba mu 250 ate ng’eddagala balifuna buli luvanyuma lwa myezi 2.
Businge agamba nti gavumenti era yandibawadde ku byuuma ebikola okulongoosa okutonotono okwewala okusindika abalwadde e Mulago kubanga nayo abaliyo bangi
KKampuni ezagaala okugula emigabo mu UMEME zeeyongedde okutuuka ku 30.
Ssabiiti ewedde, kkampuni 20 zeezawaayo okusaba okugula emigabo
Ekiwandiiko ekivudde mu ttundiro ly’emigabo nga kiriko omukono gwa Patrick Mweheirwe kitegeezezza nti wabula balonzeemu kkampuni 20 zebawadde emigabo.
Ono wabula tazatuudde mannya
Abasuubuzi wansi w’ekibiina kya KACIITA bagaala nnongosereza mu bbago ly’etteeka erinakoma ku banywa sigala
Abasuubuzi bano nga bakulembeddwaamu abakulira Everest Kayondo balabiseeko mu palamenti nebawa ebirowoozo ku bbago lino
Kayondo agamba nti mu buwaayiro bwebawakanya mwemuli eky’obutalanga sigala kubanga kijja kukosa abasuubuzi
Wabula Kayondo awagira eky’ebiwandiiko ebirabula abantu ku kunywa sigala.