Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Enjatika e Buduuda

Nga enkuba ekyagenda maaso n’okufudemba mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo, abali mu bitundu omubumbulukuka ettaka bali mu bweralikirivu. RDC wa district ye Bududa shiraku James agamba baatandise dda okulaba enjatika mu bitundu bye Busiiyi era n’alabula abatuuze abali mu bifo bino okubyamuka. Agamba bakyalina ekizibu ky’ettaka webagenda okuzza abatuuze abanava awabumbulukuka ettaka nga n’abamu bakyagaanye okwamuka ebitundu bino.

Read More

Abadde atunda embuzi yeefudde

Omuyizi asoma obusawo abadde atunda embuzi ye asazizzaamu kawefube ono. Hanna Kern, ow’emyaka 28, nga muyizi mu university ye Washington ea nga mbeerera yasooka kweyita Elizabeth Raine mu kubuzabuuza kyokka ng’ayatudde amannya ge amatuufu Omuwala ono embuzi ye abadde agitunda emitwalo gya doola 40 kyokka nga yafunyeemu emtwalo 80 kyokka ng’agamba nti yeekubye.

Read More

Aba Paakayaadi balozezza ku mukka ogubalagala

Poliisi ekubye omukka ogubalagala mu basuubuzi ba Paakayaadi ababadde bavudde mu mbeera, olw’enteekateeka z’okubasengula. Abasuubuzi bano babadde bayitiddwa akiikirira pulezidenti mu Kampala Aisha Kabanda, wabula olukiiko lubadde terunatandika abasuubuzi nebava mu mbeera. Wabula oluvanyuma olukungaana luno lugenze mu maaso era nga Kabanda aweze eby'okusengula abasuubuzi bano okutuuka nga babalaze webadda. Kyokka ye Ssentebe w’abasubuuzi, Hamza Kalema agambye nti…

Read More

Bano Tennis bamuzannye bukunya

Mu ggwanga lya Bungereza, mu kibuga ekikulu London wategekeddwaayo empaka za tenis nga zino abazeetabamu baba bukunya. Empaka zino zeetabiddwaako ab’emikwano musanvu nga bonna ba model. Omu ku beetabye mu mpaka zino Stefan Johnson agambye bagezaako kubeera banjawulo n’okwewala okukola buli omu ky’akola Omuzannyo guno nno gwetabiddwaamu n’aawala basatu

Read More

Omukyala ono tasaaga

Abakyala bangi olubuto balutwaala nga bulwadde naye nga mwattu ssi bwekiri Kati yye onbo bano tabamanyi ng’abadde asitula obuzito okutuukira ddala ku ssaawa y’okusindika omwana. Meghan Leatherman, 33 ng’ava ku ssaza kye Arizona tayosangamu kugenda mu giimu nadde nga bangi babadde bamusaasira Omukyaala ono w’azaalidde ng’asitula akazito akaweza 215 era nga kino abadde ekyenyumirizaamu Yazadde bulungi era ne bbebi…

Read More

Abavubuka bagumbye kukitebe kya NRM

Ekibinja ky’abavubuka ba NRM okuva wano mu Buganda balumbye ekitebe ky’ekibiina kino wali e Kyadondo nga baagala okwogera n’omubaka w’abavubuka mu massekati g’eggwanga Patrick Nakabale. Bano bemulugunyizza nga Nakabaale ono bweyabasubiz okubasisisnkana bateese engeri gyebagenda okuganyulwa mu nteekateka ya NAADS wabula nga kati n’okutuusa kati tebamukubangako kyamulubaale. Twogeddeko n'abamu kubavubuka bano abalayidde obutava kukitebe kino okutuusa nga…

Read More

Abatakisi bakaaba

Wabaddewo akavuvungano nga poliisi etwalaganya abagoba ba taxi ababadde bakyesisigalizza okukolera wali ku siteegi y’e Nsambya kumpi n’ebitaala. Aba KCCA abakwasisa amateeka nga bayambibwako poliisi basobodde okusinza aba taxi bano amaanyi nebabalagira okwamuka ekifo kino boolekera paaka ya USAFI. Taxi ezikoseddwa kwekuli ezikwata olw’eMunyonyo, Ggaba, Bbunga ,Kansanga n’endala Adumira poliisi ya CPS James Namuwoza  yakulembeddemu ekikwekweto kino era…

Read More

President Museveni Emyaka Gikyali -NRM

  Bannakibiina kya NRM batabukidde ab’oludda oluvuganya gavumenti abemulugunya ku myaka gy’omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni nga tusemberera okulonda kwa 2016. Wiiki ewedde waliwo ekibinja ky’aboludda oluvuganya gavumenti nga bakulembeddwamu omubaka w’e Lwemiyaga  Theodore Ssekikubo abemulugunya  nga omukulembeze w’eggwanga  bwajja okuba nga asussa mu myaka 75 mu kulonda kwa 2016 ejikirizibwa omuntu okwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga. Wabula ye omwogezi…

Read More

Abakulira Ekidiinidiini Bakwatiddwa

  Abakulembeze b’ekiidiinidiini 10 ababadde bawabya abantu baleme kwewandiisa kufuna ndaga Muntu bakwatiddwa mu bizinga by’ebuvuma . Ekibinja kino ekikozesa enamba 666 kibadde kisimbye amakanda ku mwalo gwe Mwiriri nga era bawakanya enteekateeka za gavumenti ezisinga. Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya  Savanah Lameck Kigozi ategezezza nti abalala bemuludde nebadduka naye nga bakukwatibwa nabo bavunanibwe nebanaabwe.

Read More

E kasese Berwanako oluvanyuma Lw’amataba

    Okugogola emigga ebiri egyabimbye amazzi negatta abantu abantu 3 mu district ye Kasese kutandise. Abakola ku bibamba mu district eno bewoze  ekimotoka ki bunduzza okuva mu kampuni enkozi ya seminti eya Hima kyebakozesa okugogola emigga gino okwongera okugigayiza. Omugga gwa Nyamugasani ne Nyamwamba gyabooze amazzi neganjala mu ddwaliro ly’ekilembe ekyaliviriddeko okugalwa nga era abalwadde abasinga badusiddwayo okusinga…

Read More