Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Nigeria ettaddewo ekirabo eri abamanyi abawala gyebali

Poliisi mu ggwanga lya Nigeria etaddewo emitwaalo gya doola emitwaalo 30 eri omuntu anabatuusa awali abawala b’essomero abawambibwa. Abawala bano abasoba mu 200 bawambibwa ssabiiti ssatu emabega okuva ku ssomero ly’ekisulo erisangibwa mu kibuga Borno. Abawala abalala 11 bawambiddwa okuva ku byaalo 2 ebyalumbiddwa abagambibwa okuba ab’akabinja ka Bokoharam Abakwata mmundu era baalumbye ekibuga ekiri ku nsala wa…

Read More

Asinga obuwanvu agenda mu bufumbo

Omuwala asinga obuwanvu mu ggwanga lya Brazil abugaanye essanyu muganzi we bw’amusabye amufumbirwe Omuwala ono ayagala okubeera model nga Elisany da Cruz Silva – ng’alina fuuti mukaaga ne inch munaana abadde ali n’omusajja ono owa fuuti ettaano Katie myaka esatu Ekyewunyisizza nti omusajja ono yadde muganzi we amusing obuwanvu afukamidde ku maviivi ge n’amusaba amufumbirwe

Read More

Obuwumbi 10 okusattulula obujagalalo mu myezi 3

Ababaka mu Lukiiko olukulu olw’eggwanga bakunyizza senkaggale wa Poliisi Gen Kale Kaihura olw’ensimbi ezissibwa mu kukkakkanya abeekalakaasa Kiddiridde ababaka okutegeezebwa nga poliisi bweyakozesa obuwumbi 10 mu kusattulula abeekalakaasi okuva mu mwezi gw’omusanvu okutuuka mu gw’omwenda omwaka oguwedde. beebuzizza ku buwumbi 10 poliisi z’egamba nti yakozesa mu myezi esatu gyokka okukakkanya obujagalalo mu ggwanga Ababaka okubadde Muwanga Kivumbi beewunyizza…

Read More

Omukyala abadde aweese agudde

  Omukyala abadde aweese omwana ku mugongo aseredde okuva ku Kasozi waggulu n’agwa wansi omwana n’afiirawo. Ono akasozi k’abaddeko kali kumpi n’enyanja Albert Omukyala ono ategerekese nga Daphine Twinamasiko abadde yettisse emmere ku muwe kyokka nga bw’aweese n’omwana ow’omwana ow’omwaka ogumu Omwana ono kigambibwa okuba nti agudde ku jjinja erimusse Twinamatsiko ono ali ku kitanda ajjanjabwa naye ng’embeera ye ssi…

Read More

Kaihura awaabiddwa lwa butambi

Senkaggale wa poliisi Gen Kale Kaihura akubiddwa mu mbuga z’amateeka ku bigambibwa nti yeeyingiza mu nsonga za Kibiina kya NRM. Munnakibiina kya NRM Rodgers Besigye,ayagala ebikolwa bya Gen Kaihura binonyerezebwaako era abonerezebwe. Besigye agamba nti mu mwezi gw’okuna, Kaihura aliko omuvubuka wa NRM Alex Kasirivu gweyakunya lwakuwagira ssabaminista Amama Mbabazi ate nga mukozi wa gavumenti atalina kwenyigira…

Read More

St Mary’s Kitende ewanduddwa

Mu mpaka z'amasomero aga secondary schools ezigenda mumaaso e’Gulu,team ya St Mary’s Kitende ewanduse mumpaka zino oluvanyuma lwokukubwa Cityzen High okuva Isingiro. Team zombi  ziremaganye nga teri ateebye munne muddakiika ekyenda wabula Cityzen High newangula mukakodyo ka penalties goals 4-2. Mumpaka zezimu,essomero lya St Juliana nalyo liwanduse mumpaka zino bweliwutudwa team ya Metha okuva e’Buikwe goal 1-0. Kati Metha…

Read More

Kirumira akyanonyerezebwaako

Eyali akulira poliisi ye Nansana Mohammed Kirumira ssi wakudda ku mulimu okutuusa ng’amaze okunonyerezebwaako. Aduumira poliisi Gen Kale Kaihura agamba nti Kirumira akyanonyerezebwaako era nga tekiba kituufu kumuleka ate ng’akola emirimu. Ebigambo bya Kaihura biddiridde okwemulugunya okuva eri omubaka Joseph SSewungu ku kya Kirumira obutava mu mawulire ate nga yawummuzibwa. Kaihura agamba nti Kirumira yasalawo entalo ze kuzitwaala…

Read More

Omupoliisi agambibwa okusomola ebyaama ezzeeyo e Luzira

Omusirikale wa poliisi agambibwa okusomola ebyama ku teepu ebya ssabapoliisi w’eggwanga asindikiddwa ajira abeera ku alimanda e luzira.  Kino kiddiridde oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu  Lino Anguzo okusabayo akadde akalala okwekenenya okwewozaako okwawebwayo bannamateeka w’omusirikale abakulembeddwamu  Vincent Mugisha Ronald Poteri’s awakanya enyingo ey’okuna mu teeka erikwata ku byaama mwavunanibwa. Bannamateeka bano era bagamba edembe ly’omuntu waabwe lyatyobolwa bweyamala essaawa…

Read More

Obuwumbi 12 poliisi zeyeetaaga okulwanyisa obutujju

Poliisi yeetaga obuwumbi 12 okulwanyisa obutujju mu ggwanga n’emisango gy’ebusukka nsalo. Bwabdde ayanjula embalirira ya poliisi ey’omwaka gw’ebyensimbi  2014/15 eri akakiiko ka palamenti ak’ebyokwerinda, Rogers Muhirwa nga ye muwandiisi wa ministry w’ensonga zomunda mu ggwanga agamba ssente zino zakuyamba mu kuketta obulumbaganyi bwonna nga tebunabaawo. Kino kijidde mu kaseera nga eggwanga lya Kenya ne Amerika kyegajje galabule…

Read More