Emirimu gisanyaladde ku ttendekero ekkulu e Makerere nga poliisi egugumbulula abayizi ababadde boogerako eri bannamawulire
Abayizi bano babadde batongoza obukulembeze obw'ekisikirize nga bagamba nti obukulembeze obuliko obwa Ivan Bwowe tebulina kyebubayambye
Abayizi bano bagamba nti ensonga nyingi ezibaluma okuli n'eby'okwengeza fiizi ebya jjo juuzi naye ng'abakulembeze baabwe basirise
Mu kavuvungano akabaddewo munnamwulire wa CBS akwatiddwa.
Kampala capital city authority ewangudde empaka z’ekikopo kya FUFA super league
Kiddiridde tiimu eno okukuba Villa goolo 3 ku emu
Goolo za KCCA zitebeddwa Steven Bengo, Ronnie Kisekka ne William Wadri.
Ate yyo Villa goolo yaayo emu etebeddwa Ivan Kiwewa.
Mu mirala egizanyiddwa Victoria University ekubye Bright Stars 1-0 mu mupira gw’omukwano oguzanyiddwa mu kisaawe e Lugogo.
Kkampuni ya UMEME evuddeyo n’ewakanya ebigambibwa nti etundibwa
Omu ku batwaala kkampuni eno Sam Zimbe agamba nti omu ku balina emigabo mu kkampuni eno y’atunda sso ssi kkampuni yonna
Ono agamba nti bali mu nteekateeka ez’ongera okusiga obukadde bwa doola 400 mu kulongoosa empeereza era nga tebafunanga kirowoozo kitunda
Bino bijjidde mu kaseera ng’ababaka mu palamenti bongedde akazito…
Poliisi ewummuzza abakulu ba poliisi e Luweero lwa mivuyo egyabaddeyo olunaku lwajjo.
Mu bawummuziddwa kuliko aduumira poliisi mu kitundu kya Savanna Richard Mivule n’aduumira poliisi ye Luweero Godfrey Ninsiima.
Aduumira poliisi Gen Kale Kaihura agamba nti kino kikoleddwa ng’okunonyereza ku bakulu bano bwekugenda mu maaso mu byavuddeko emivuyo.
Mu palamenti, Eyali amyuka omukulembeze w’eggwanga Prof Gilbert Bukenya atabukidde…
Ebintu ebibalirirwaamu obukadde n’obukadde bisanyeewo mu muliro ogukutte amaduuka mu kisenyi.
Omuliro ogukutte akawungeezi kano gubadde mu zooni emanyiddwa nga Kasooto
Ayogerera poliisi mu bitundu bya kampala n’emiriraano Patrick Onyango agamba nti abaziinya mooto basobodde okutangira omuliro guno obutakwaata bizimbe birala
Okunonyereza ku kivuddeko omuliro guno kutandise
Oluvanyuma lwaemyaka emyaka ebiri nga waliwo okugugulana mu league yegwanga,yyo League ya Fufa Super League egenda kugalwawo mubutongole olunaku lwa’leero mubisaawe ebyenjawulo 5.
Mu league eno,Kcc fc elwanira kikopo kino nga bano bagenda kukyaaza Sports Club Villa e’Lugogo ate gwebavuganya naye aba Victoria University basambe Bright Stars.
Oluvanyuma lwemipiira gya leero,League zombi okuli eya Fufa Super League…
Agava e Luweero leero abeesimbyewo 2 bamaze okusunsulwamu ku kifo ky'omubaka anakiikiriria Luweero mu palamenti.
Kuno kuliko munna NRM Rebecca Nalwanga n'eyesimbyewo ku bwanamunigina Farida Namubiru kko ne Brenda Nabukenya eyasunsuddwa gyo
Jotham Taremwa ayogererea akakiiko ke by’okulonda atubuulide enteekateeka zonna zigenda mu maaso , era nga abalala na buli kati abeesimbyewo bakyagenda mu maaso okukima foomu
Mungeri…
Katikiro wa Buganda Charles peter Mayiga akunze obuganda okwongera okunyweera, okusobola okutwala eggwnaga mu maaso.
Bw’abadde ayogerera ku gombolola ye Bulera gy’asokedde ku lugendo lwe mu ssaza lye Ssingo, Mayiga agambye nti okuzza Buganda ku ntikko mulimu munene , kale nga abaganda balina okwekwanya, okulaba nga Buganda etinta
Ensimbi ezisoba mu bukadde 13 zezakasondebwa mulugendo luno lwakyatambuza
Ekibiina ky’ensi yonna ekikola ku byobulambu kirangiridde nti obulwadde bwa poliyo obutabuse ennaku zino bugenda kussa ebyobulamu ku katyabaga era ng’ekya mangu kirina okukolebwa
Kiddiridde obulwadde buno okubalukawo mu mawanga agatali gamu ku ssemazinga wa Asia, Africa ne mu kyondo ky’amawanga ga buwarabu.
Ekibiina kino kiragidde nti abantu okuva mu mawanga gonna agakoseddwa babeera nga…
Abaana abasoba mu mutwaalo gumu mu kakaaga beebazaalibwa n’obulwadde bw’omutima buli mwaka
Amyuka akulira eddwaliro lino Dr Peter Lwabi agamba nti ku baana bano ebitundu 60 ku kikumi beebalongoosebwa buli mwaka abalala nebasigala olw’ebbula ly’ensimbi.
Dr lwabi agamba nti abaana abali mu 8000 beebalina okulongoosebwa nate nga tekisoboka kubanga tebalina ssente
Ono agamba nti obukadde 466 obubaweebwa okuddukanya…