Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

E Makerere bekalakaasa lwa mmere

Abayizi ku ttendekero ekkulu e Makerere  bazzeemu okwekalakaasa lwa mmere. Bano nga bavudde mu kisulo kya Nsibirwa balumbye ewatuula abakulira ettendekero lino babanyonyole lwaki oluusi basula enjala nga ate basasula ssente nyingi. Bakoze effujjo bwebayiye ebijanjalo n'akawunga mu ofiisi y'akola ku mbeera z'abayizi bano nga bamulanga butafaayo. Akulira abayizi ku ttendekero lino Ivan Bwowe agamba abakulira abayizi n’abasomesa…

Read More

Amataba Gasse 2 e Kasese

  Abantu 2 bebakafiira mu mataba agagoyezza District ye Kasese nga n’abasinga baabulidde amaka gaabwe. Omwogezi wa ministry y'ebyobulamu  Rukia Nakamatte agamba abalwadde 195 bagyiddwa  mu ddwaliro ly’ekilembe oluvanyuma lw’amazzi okwanjala mu ddwaliro lyonna. Kino kiddiridde emigga okuli Nyamwamba ne Nyamugasani okubooga nga era n’ebyentambula bigotanye olw'entindo okugwamu.  

Read More

Mujib Alekulidde

  Abadde akulira ebyekyekugu mu FufaMujib Kasule alekulidde.  Mujib okulekulira kizze oluvanyuma lwa tiimu ye eya Proline okusalwako okuva mu league ya babinywera wiiki  ewedde.  Omwogezi wa Fufa Hussein Ahmed ategezezza nga bwebafunye ebbaluwa ya Mujib ey’okulekulira wabula nga bagenda kutunulira ensonga eno nga akakiiko oluvanyuma bavaaye nekyenkomeredde.   Hussien ategezezza nga mukiseera kino Fufa teyagala kutataganya nkambi ya Cranes…

Read More

obukadde 450 bwakusasanyizibwa mu kulonda kwe Luwero

  Akakiiko k’ebyokulonda kataddewo obukadde 450 okutambuza  okulonda kw'okujuza ekifo ky'omubaka  ow’e Luwero. Bwabadde ayogerako nebannamawulire, akola nga ssentebe w’akakiiko kano  Tom Buruku ategezezza nga ssente zino bwezigenda okukozesebwa okugula ebigenda okukozesebwa mu kulonda. Mungeri yeemu omwogezi wa poliisi mu ggwanga  Fred Enanga agamba ebyokwerinda binywezeddwa nga kampeyini zakutojera okutuusa nga 2o May era n’alabula abesimbyewo okwewala okwogera…

Read More

Eddwaliro Ly’e Kilembe Ligaddwa lwa Mataba

    Eddwaliro ly’ekilembe mu district ye Kasese ligaddwa oluvanyuma lw’omugga Nyamwamba okuddamu okubooga amazzi neganjala  mu busenge bw’abalwadde. Abalwadde abasinga bekakabye nebava mu ddwaliro lino okuwona okutwalibwa amazzi gano nga ababadde  obubi bayambiddwako abakulira district okubatwala ku lukalu. Abasinze okukosebwa be banakawere n'abakyala abembuto Agavayo era gooleka nga omuntu omu bwatwaliddwa amataba bweyabadde ali mu nimiro ye nga alima. Byo ebyentambula…

Read More

Kibuli ayiseewo

Essomero lya Kibuli ss lyegasse ku Mvara,Cityzen High wamu ne Mehta elya Buikwe kuluzannya lwa Semi finals mumpaka za Copa Coca cola e’Gulu. Go amassomero agabadde gasuubirwa okukola obulungi okuli st Juliana elya Gayaaza wamu nabawangula ekikopo kino omwaka oguwedde aba st Mary’s Kitende bawanduse mumpaka zino olunaku lwa’leero. Empaka zino ezomulundi ogwa makumi abiri mubiri(22nd Edition) zikomekerezebwa…

Read More

Cranes etandise okutendeka

Team y'eggwanga eya Cranes etandise okutendeka  akawungeezi ka leero mukisaawe e’ Namboole nga yetegekera empaka ezokusunsulamu abanetaba mukikopo kya Africa omwaka ogujja. Mujib Kasule akulira ebyekikugu mu Fufa ategezezza nga team bwesuubirwa okusitula nga 16th week ejja okugenda e Madagascar gyegenda okusamba omupiira ne team yegwanga lino nga 18th Omwezi guno. Ekikopo kya Africa kyakubeera Morocco omwaka ogujja okutandika…

Read More

Akabenje e Masaka- omu afudde

Omuntu omu y’afiiriddewo mu kabenje akabadde e Nyendo Masaka. Omugenz ategerekeseeko lya Richard ng’abadde asala kkubo ku ssundiro lya TOTAL ku luguudo oludda e Mbarara. Emmotoka ekoonye omusajja ono kika kya Premio naye nga tetegerekese namba. Aduumira poliisi ekola ku ntambula y’ebidduka e Masaka, James Tebaijuka agamba nti akabenje kano kavudde ku kuvuga ndiima kyokka nga batandise omuyiggo…

Read More

Teri kusengula ba paakayaadi

Omubaka wa pulezidenti mu kampala, Aisha Kabanda ayimirizza eby’okugoba abasuubuzi abakolera okumpi n’ekisaawe kye Nakivubo. Abasuubuzi bano babadde balwanagana n’abaddukanya ekisaawe era nga n’abamu baamaze okusengulwa Kabanda agamba nti kino kirina okukoma okutuusa ng’enjuuyi zonna zikkanyizza. Bbo abasuubuzi abasoba mu 100 e Seeta Mukono batiisizzatiisizza nga bwebagenda okwekalakaasa nga bavunaanibwa abakulembeze baabwe okwegatta n’abagga okubasengula.

Read More

Abakyala abafa- buli omu ayambeko

Minisitule y’ebyobulamu egamba nti okukendeeza omuwendo gw’abakyala abafiira mu ssanya kisoboka ssinga buli omu akwatiza waali. Omwogezi wa minisitule Rukia Nakamatte agamba nti nebwebanassa eddagala mu ddwaliro naye ng’abakyala bangi tebagenda mu malwaliro kuba kumala biseera. Nakamatte agamba nti abakyala abasinga okufa nga bazaala baba bajjamu mbuto n’abatayagala kukozesa nkola za kizaala ggumba. Ono agamba nti waliwo obwetaavu…

Read More