Abakyala 33 okwetoloola ensi yonna beebafa nga bazaala.
Ab’ekibiina ky’ensi ekikola ku byobulamu bagamba nti yadde wabaddewo okukendeera mu muwendo , tekyeyagaza kubanga 33 bakyala bangi nnyo okufa mu ssaawa emu.
Emiwendo gino egifulumiziddwa ekibiina kino era gireese obujulizi obuggya ku biki ebivaako abakyaala okufiira mu sanya oba nandi ki ekivaako ebaana beebazaala okufa
Ebisinga nno okuvaako abakyala…
Ono omubbi alabika ebintu abadde yakabitandika
Omusajja ono agenze okubba emmotoka wabula otulo netumubbira ku mulimu guno
Nanyini motoka akedde okugenda mu motoka asimbule okukola asanze omusajja ono ali mu kufuluuta
Omusajja ono yetonze n’ategeeza nga bweyatamidde ate nga tasigazza zantambula naye bw’atyo kwekusalawo okubba emotoka eno kyokka nga otulo twamubbye yakatuula bwati
Poliisi ekozesezza omukka ogubalagala mu bawagizi b’ekibiina kya DP ababadde bagoberera omuntu waabwe Brenda Nabukenya ngava okuwandiisibwa.
Nabukenya abadde akulembeddemu abantu be nga bayita mu katale ka mubuulo poliisi ky’egambye nti kimenya mateeka
Akulira ekibiina kya FDC Maj Gen Mugisha Muntu yye agusalidde poliisi ky’alumiriza okukuba ttiyagaasi wekitetaagisa
Wabula omwogezi wa poliisi e luuyi eno,Lameck Kigozi agamba nti…
Abavuga baasi ezigenda e Kenya bassiddwaako amateeka amakakali.
Kiddiridde obulumbaganyi bwakoleddwa ku Kenya mu kibuga ekikulu Nairobi abantu 4 bamale bafe.
Akulira ekibiina kya ba dereeva ba baasi, David Bahati agamba nti balagiddwa okwekebejja enyo emigugu n’abantu benyini okulaba nti tewabaawo buzibu bwonna
Wabula amateeka gano gagenze okujja nga ne kkampuni zino zeekozeemu dda omulimu
Ng’awaamu ne Dembe FM,…
Omusajja atanategerekeka yekasuse okuva ku mwaliriro ogwomukaaga neyekata wansi nafiirawo wali ku ddwaliro ekkulu e Mulago.
Akulira poliisi ye Mulago Hashim Kasinga agamba tekinategerekeka oba ono abadde mulwadde oba mugenyi mu ddwaliro lino.
Akakiiko k’ebyokulonda olunaku olwaleero katandise okunsusula okwennaku ebbiri okwabo abagenda okwesimbawo ku kifo ky’omubaka omukyala ow’e Luwero.
Akulira eby’okulonda mu district eno Alex Komuhangi agamba abantu 8 bebagyayo foomu z’okwesimbawo nga kwekulu neyagobwa mu kifo kino Brenda Nabukenya.
Komuhangi agamba kampeyini zakutandika nga 7 ku lwokusatu ate okulonda kubeerewo nga 22 omwezi guno.
Ekifo kino kyasigala kikalu oluvanyuma…
Oluvanyuma lw’abantu 4 okufiira mu bulumbaganyi bw’obutujju mu ggwanga lya Kenya ku wiikendi, ebitongole by’ebyokwerinda byongeddemu amaanyi mu by’okwerinda.
Ku lwomukaaga bomu ya grenade yategeddwa ku mwalo e Mombasa kumpi ne hotel emu nga 15 bbo babuuse n’ebisago ebyamanyi.
Kati omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga agamba bongedde okulawuna ebitundu ebitali bimu nga abantu basabiddwa okwongera…
Poliisi ekyagenda maaso n’okunonyereza ku bazigu abayingiridde ofiisi z’ekibiina ekirwanirizi ky’eddembe ly’obuntu ekya Human right network Uganda wali e Ntinda nebabbamu byabukadde.
Poliisi ekifo kyonna ekizinzeko nga okunonyereza bwekukyagenda maaso.
Okusinziira ku omu ku bakulira ekibiina kino Patrick Tumwine,ebisinga byabiddwa nga n’omukuumi wa ofiisi talabikako.
Ebyabiddwa kuliko zi kompyuta , kamera z'ekikessi, ebiwandiiko n'ebirala
Omuddusi w’embiro, Tayson Gay awumuziddwa okumala omwaka mulamba nga tadduka oluvanyuma lw’okukakasa nti ono abadde aliko ebiragala by’akozesa
Gay ow’emyaka 31 era akomezaawo n’omudaali gwa siliva gweyawangula emyaka 2 emabega
Emisinde gyonna gy’azze awangula okuva mu mwaka gwa 2012 nagyo gisaziddwaamu kubanga yali ali ku biragala
Uganda olunaku lwaleero yegasse ku nsi yonna okukuza olunaku lwa bannamawulire.
Olunaku luno lwassibwaawo ab’ekibiina ky’amawanga amagatte mu mwaka gwa 1993 okusiima emirimu egikolebwa bannamawulire n’okutumbula eddembe lyaabwe
Bannamawulire olwaleero bakukungaanira ku kibangirizi kya Chogm okuliraana palamenti nga bagenda kukumba okwongera okutuusa edoobozi eri abantu nti eddembe lyaabwe kikulu.
Akulira ekibiina ekirwanirira eddembe lya bannamawulire ekya Human Rights…