Abantu abalina obulwadde bwa cholera abawerea ddala 49 beebakyaali mu ddwaliro nga bajjanjabibwa
Kino kikakasiddwa kamisona akola ku byobulamu mu bitundu ebitali bimu Dr Anthony Mbonye
Dr Mbonye agamba nti minisitule y’ebyobulamu efubye okulaba nti obulwadde buno tebwongera kubuna era nga tewanabaawo muntu mulala afa
Bbo abantu 53 nabo basiibuddwa oluvanyuma lw’okukakas anti bawonye
Wabula Dr Mbonye agamba nti…
Pulezidenti Museveni ategeezezza nga bw’ali omwetegefu okusisinkana abakulembeze b’abakozi ku nsonga y’omusaala ogusookerwaako
Bw’abadde ayogerera ku mikolo gy’abakozi mu disitulikiti ye Ntungamo, pulezidenti akkirizza nti kitono ky’amanyi ku nsonga eno era nga yetaaga kwongera kukakasibwa ku nsonga eno.
Wabula pulezidenti alumbye abakozi abagayaavu n’abatali besimbu ng’abalumiriza okukosa ebyenkulakulana
Ono era agambye nti n’ebbula ly’emirimu terisobola kuggwaawo okutuuka nga…
Abazadde bawereddwa amagezi okutwala abaana baabwe bagemebwe ekirwadde kya pneumonia kubanga kati amalwaliro gonna mu kampala kati eddagala erigema obulwadde buno galirina.
Akulira eby’obujanjabi obwabulijjo Doctor Ruth Aceng agamba nti abaana 14 kubuli kikumi wano mu kampala balwala pneumonia buli mwaka.
Wabula agamba nti kino kisobola okuggwawo singa abaana batwalibwa nebagemebwa.
Waliwo omukyala ow’emyaka 23 agumbye ku poliisi ye Kira nga ayagala ayawukane ne bba gwalumiriza okubeera omwenzi.
Rose Nakku nga mutuuze we Kamwokya asazewo okugumba ku poliisi eno okutuusa nga ekitongole kya poliisi ekikola ku nsonga z’amaka kimuwadde ebbaluwa emwawukanya ne bba ono omuvuzi wa bodaboda.
Nakku alumiriza bba Kalema okulemererwa okubawa ebyetagisa mu maka era mweralikirivu…
Nga eggwanga likuza olunaku lw’abakozi ,bbo abavubuka besambye eby’okulukuza nga bagamba ssibamativu n’engeri ebintu gyebitambulamu mu ggwanga.
Bano nga bava mu kibiina kya NRM n;aboludda oluvuganya gavumenti bagamba nti banji tebalina mirimu yadde nga baasoma kale nga tebalaba nsonga lwaki bakuza olunaku lw’abakozi nga bbo ssibakozi.
Bano mukulaga obutali bubativu bwabwe basosse obugaali okuva ku nkulungo ye…
Gavumenti enatera okumaliriza entekateka z’okuzza ku butaka eyali omubaka we Bubulo ey’obugwanjuba Tony Kipoi eyakwatibwa mu ggwanga lya congo avunanibwe mu kooti y’amaggye emisango gy’okulya munsi ye olukwe.
Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu by Capt. Fredrick Kangwamu lutegezezza kooti y’amaggye e Makindye ekubirizibwa Brig. Moses Ddiba Ssentongo nti abanonyereza ku musango guno essawa yonna Kipoi bakumuwayo eri…
Omusomesa mu ggwnga lya China eyetemye okunywegeera embizzi ssinga abayizi bakoma okumansa kasasiro bimukalidde ku matama
Hon Yaoming abayizi bakimukoze bwebekozeemu omulimu nebakoma okumansa kasasiro
Ono nno nga buli kimu kitegeke abadde takyalina kyakukola era bwatyo mu kwegumya n’anywegeera embizzi.
Abantu basatu okuva mu maka gamu babbidde.
Bano babadde basabaalira ku lyaato ku Nyanja Kijanabaloora mu disitulikiti ye Rakai.
Eryaato lino libadde ligenda ku kyaalo Bulyaana
Abagenzi bategerekese nga Lawrence Ssango abadde akuba enkasi, , Florence Nanyanga ne Rachael Nantongo, nga bonna baana ba Frank Mugerwa owe Bulyaana
Akulira disitulikiti ye Rakai ku mwaalo guno, Isaac Sserugo agambye nti…
Omutendesi wa team yegwanga eya Cranes Micho ayise abazanyi 35 abagenda okuyingira enkambi nga 7th omwezi ogujja e’Namboole bwabadde mulukiiko lwabamawulire enkya ya leero e Mengo.
Abamu kubayitidwa kuliko Dennis Onyango,Robert Odongkara,Henry Kalungi,Ochaya Joseph,Tonny Mawejje,Hassan Waswa,Martin Mutumba,Geofrey Masa,Ivan Bukenya,captain Andy Mwesigwa nabalala.
Uganda egenda kusamba ne Madagascar omwezi ogujja mumpaka ezokusunsulamu abanetaba mu kikopo kya Africa ezigenda…
Yadde ng’ebbeeyi y’ebintu ebisinga esse mu mwezi guno, ebbeeyi y’ebintu ebimu yyo ekyalemedde waggulu
Wabaddewo okukka mu miwendo gy’ebintu okuva ku bitundu 7 .1% okudda ku butundu 6.7 ku kikumi
Omukungu mu kitongole ekikola ku miwendo gy’ebintu, Chris Mukiza agamba nti ebimu ku bisse ebbeeyi byebivavaava era nga kino kivudde ku nkuba etonnya