Katikkiro wa Buganda owek Charles Peter Mayiga avudde omwaasi ku balumba Buganda ku nsonga y’ettofaali
Kiddiridde abantu okutandika okubisoma nga Buganda bw’eyitirizza okusaba ensimbi z’otafaali.
Katikkiro agamba nti ebigambo bino kawefube yenna ow’enkulakulana abaamu aboogezi wabula nga kino tekigenda kumujja ku mulamwa.
Bino Kamala byonna abyogeredde ku mukolo gw’okutongoza enkolagana wakati wa Buganda ne kkampuni ya Airtel nga…
Ebadde ntiisa ku kyaalo Buyoga e Kisaaka mu disitulikiti ye Lwengo,omuwala ow’emyaka 13 bw’akubiddwa amasanyalaze negamutta
Zaituni Nassimba nga muyizi mu kibiina ky’omukaaga alinnye ku waya y’amasanyalaze bw’abadde akwata enseneene
Maama w’omwana ono agambye nti omwana ono abebbyeeko n’agenda okukwata ensenene ku kyaalo Kankamba gy’afiiridde
Akulira ekyaalo kino Kato Kidde akungubagidde omwana ono kyokka n’akuutira abazadde bulijjo okumanya…
Abasajja ababiri enzaalwa ze Pakistan abagambibwa okusiyaga omuwala ow’emyaka 23 kyaddaaki bayimbuddwa
Buli omu asasudde obukadde 5 ezibuliwo nebalagirwa n’okuwaayo paasipoota zaabwe eri kkooti.
Ababeeyimiridde babadde bannayuganda bana nga bonna balagiddwa okusasula obulwadde 30 ezitali za buliwo n’okuwaayo paasipoota zaabwe
Balabiseeko mu maaso g’omulamuzi Lilian Buchana abayimbudde .
Ahamad Shahbaz ne Muhammad Wagas bavunaanibwa kusiyaga muwala gwebaali babeera naye.
Balagiddwa…
Ababaka abagobwa mu kibiina kya NRM bagamba nti kibakubye wala okuwulira nti eyali omulamuzi George Kanyeihama abakubye mu mbuga z’amateeka.
Prof Kanyeihamba yasazeewo okuwaaba ababaka bano ng’ayagala bamusasule obukadde 300 lwakuwoza misango gyaabwe
Ababaka aboogerwaako kuliko Theodore Sekikuubo, Mohammed Nsereko, Wilfred Niwagaba ne Barnabas Tinkasimire .
Omubaka Theodre Ssekikubo agamba nti kituufu balagira Kanyeihamba okubakiikirira mu kusooka era…
Okulya ebijjulo bibiri olunaku kiyamba okukendeeza ku bulwadde bwa sukaali
Abanonyereza okuzuula bino bekenyezza abantu 27 beebatadde ku bijjulo bibiri olunaku n’abalala abalidde ebijjulo bisatu naye nga bitonotono.
Kyazuuliddwa nti abantu abalya ebijjulo bibiri bakozze ne sukaali mu mibiri gyaabwe n’akendeera okusinga ku banaabwe abalidde ebijjulo ebisatu oba ababadde balyankuza
Abakugu bamaliriza nga bagamba nti kyandibadde kirungi abantu…
Yadde nga Uganda yayisa etteeka eriwera ebisiyaga,gavumenti ya Amerika yakusigala nga ekyateeka ensimbi mu pulojekiti ezirwanyisa ekirwadde kya Siriimu mu ggwanga.
Omu ku bakungu okuva ku kitebe kya Amerika wano mu ggwanga Daniel Travis wabula agamba nti etteeka lino lirina okusomozebwa kwamanyi eri enzirukanya y’emirimu mu by’obulamu.
Agamba nti obukadde bwa doola 323 bwakusigala nga buwerezebwa kawefubwe…
Abanonyereza ku ku kirwadde kya siriimu bategezezza nga bwebasenvudde mu kuzuula eddagala erinawonya mukenenya ono.
Okusinziira ku akulira amattendekero aganonyereza ku siriimu ono mu ggwanga ekya National Institutes of Health, Uganda, Steven Reynolds, waliwo eddagala erikyagezesebwa mu ggwanga lya Thailand eriyitibwa RV 144 nga likolera ddala ebitundu kati 41% eri abo abalikozesa.
Bannasayansi bazze bagezaako okuzula eddagala…
Ab’obyinza ku bizinga bye Kalangala bemulugunya ku kidyeri kyaabwe ekyatwalibwa okukanikibwa e Mwanza mu Tanzania wabula nga n’okutuusa kati tekinadda.
Omubaka wa Bujumba Fred Badda agamba ebyobusuubuzi mu kitundu kino bikalubye kyokka nga tebamanyi ddi kidyeri kino lwekinakomezebwawo.
Ono asabye ministry ekola ku by’entambula okwanguwa okubakomezaawo ekidyeri kyabwwe kubanga abatuuze babonabona.
Wabula ye minister omubeezi akola ku by’entambula …
Abakubi b’engumi abawerera ddala 26 beebesozze enkambi okutendeka nga betegekera ogw’omukwaano ne Kenya nga 31 omwezi guno
Enzanya zakubeera Lugogo
Omwogezi w’ekibiina ky’omuzannyo gw’ebikonde, Fred Kavuma agamba nti bategese empaka zino nga beetegekera empka za common wealth games mu mwezi gw’omusanvu
Abasuubuzi mu Park yard balina endowooza za njawulo ku ky’okuweebwa omwaliro ku kizimbe ekiggya ekizimbiddwa okumpi n’akatale kaabwe
Kiddiridde abaddukanya ekisaawe kye Nakivubo okutegeeza ng’abasuubuzi bano bwebabawaddeko omwaliro okukola egyaabwe
Abasuubuzi abamu yadde bagamba nti kirungi nate ekigendererwa tekitegerekeka