Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Kkapa esaze weight

Mu ggwanga lya Russia kkapa ebadade ayitiridde obuzito kyaddaaki asaze ku masavu oluvanyuma lw’okufuna akagaali k’ebadde esotta bulilunaku Abantu bangi beebabuuza engeri kkapa eno gy’ebadde esambamu akagaali naye kino ebadde ekikola eri ne mu makama waayo Oluvanyuma lw’ebbanga lya myaka mukaaga, kkapa eno epimiddwa ng’esaza kiro bbiri.

Read More

Bakusisinkana spiika ku mukenenya

Akakiiko akakola ku kulwanyisa obulwadde bwa Mukenenya kakusisinkanamu sipiika wa palamenti ku tteeka eryakayisibwa ku mukenenya. Akulira akakiiko kano Prof Vinand Natulya agamba nti etteeka lino teryetaagisa kubanga lyakukonya olutalo ku mukenenya. Natulya agamba nti bagenda kukolagana n’ebibiina by’obwa nekyeewa ebirala okwongera okuwayaamu ne sipiika kko ne pulezidenti Museveni ku butassa mukono ku tteeka lino. Yye akulira ekibiina…

Read More

Bano tebalwaala musujja

Mu ggwanga lya Tanzania, abaana abatalwala musujja gwa nsiri bafuuse ekyerolerwa Bannasayansi bbo batandise okubanonyerezaako okuzuula eddagala eriyinza okugema omusjja gw’ensiri Abanonyereza bano bazudde nti abaana bano balina abasirikale abalwanyisa omusujja gwonna oguyinza okubakwata. Kati babakubye empiso okubajjamu abasirikale bano bebakubye mu mmese zebakozesa okunonyereza ku ddagala eliziyiza siriimu.

Read More

Okulya ekiro bulwadde

Abantu bangi tebasobola kwebaka nga tebalidde era nga beekyuusiza mu buliri okutuuka lwebafuna kyebalya. Abamu bakiyita kya lusaago naye nga buno bulwadde bwenyini. Abasawo bagamba nti kino kiva ku Muntu obutaba na butoffaali obuyamba okutebenkeza omubiri nga teguliimu mmere. Okunonyereza okukakasizza bino kukoleddwa ku mmese. Obutoffaali buno abantu abatabulina era balya nnyo ekibaviirako okugejja ekiyitiridde

Read More

Abadde yeeyita Paasita akwatiddwa

Poliisi ye Wandegeya ekutte omusajja abadde yeeyita paasita n'afera ssente okuva mu bagabi b’obuyambi n’okusobya ku bawala.. Cyrus Muwaire nga mutuuze we  Kyebando Nsooba abadde asiibya abaana bajja ku nguudo enjalah era nga babadde tebasoma nga bw'abadde agamba abamu ku bazadde b'abaana bano. Mu kiseera weyakwatiddwa, Muwaire abadde yakasobya ku muwala ow’emyaka 12 gw'abadde alabirira nga era…

Read More

Poliisi yakukwata abagaba enguzi

Nga poliisi yakuno ekuza emyaka 100 nga eweereza eggwanga,Ssabawolereza w’eggwanga  General Kale Kayihura aweze nga bwebagudde olutalo ku bantu ba bulijjo abawa basajja be enguzi. Kayihura agamba obuli bw'enguzi bwebuba bwakulwanyisibwa, abantu baabulijjo abagaba ekyoja mumiro eri abasirikale ba poliisi balina okukwatibwa kubanga ogwo musango. Ono era asabye ababaka ba palamenti okukola enongosereza mu ssemateeka erinya lya…

Read More

Enkayaana za Taxi zizzeemu

Enkaayana za sitegi mu paaka enkadde zisitudde buto.  Kino kiddiridde aba KCCA okwongera okusengula siteezi endala okuva mu paaka enkadde okudda mu mpya. Kati bbo abagoba ba taxi ku siteegi ye Bwaise Nabweru baweze nti kikafuuwe okwamuka paaka enkadde era baasazewo kukuuma siteegi yaabwe kiro kilamba. Ssentebe w’abagoba ba Taxi ne ba kondakita  Mustafa Mayambala alumiriza akakiiko akatekebwawo…

Read More

Emotoka z’abalwadde tewali

Obuzibu bw’emmotoka ezitambuza abalwadde e Pallisa butandise okweralikiriza abakulembeze mu kitundu kino. Abalwadde bangi naddala abakyala b’embuto batindigga engendo okutuuka mu malwaliro nga n’oluusi bafuna ebizibu. Omubaka akiikirira abantu be Pallisa, Jacob opolot agamba nti abantu bangi y’ensonga lwaki beepena amalwaliro nebadukira mu basawo b’ekinnansi. Omubaka ono wetwogerera ng’awaddeyo emmotoka okuyambako mu kutambuza abalwadde kyokka ng’agamba nti wakyaliwo…

Read More

Omulambo mu nju

Poliisi e Mbuya eriko omulambo gw’omusajja gw’esanze nga guggaliddwa mu nyumba Omugenzi abadde mukuumu ng’ategerekese nga Moses Oguchi Omulambo gw’omusajja ono wabula tegusangiddwaako bitundu bya kyama era nga gugalamidde mu kitaba ky’omusaayi. Allan Kagenyi nga ofiisa ku poliisi e Mbuya agamba nti omugenzi wabula n’obutakkaanya n’omusajja omulala gw’alumiriza okumwagaalira omukyala era ng’abadde n’ensonga zino yaziwaaba ku poliisi. Omulambo gutwaliddwa…

Read More

Babbye Ebirabo Mu Kanisa

Poliisi e Masaka eri ku muyiggo gw’ababbi abamenye e kanisa ya  St. John’s Church nebabba ebintu ebibalirwamu obukadde obusukka mu15.  Okusinziira ku akulira e Kanisa eno   Rev. Canon Gaster Nsereko, ababbi bamenye  ofiisi ye ne babba kompyuta, emizindaalo gyebakozesa ku mikolo saako n’ebirabo ebiwebwayo  abasabira mu kanisa eno. Adumira poliisi mu bitundu bino  Noah Sserunjoji agamba omukuumi…

Read More