Sipiika wa palamenti Rebecca Kadaga atadde akaka ku byobufuzi mu palamenti
Bw’abadde ayogerera mu Lukiiko lw’abababaka ba palamenti okuva mu mawanga agali mu lubu olumu ne Bungereza, Kadaga agambye nti ababaka basanze obuzibu bwamaanyi okukola emirimu gyaabwe kubanga bakubwa ku nsolobotto
Kadaga agamba nti kino kirese ababaka abamu nga basirifu ku nsonga eziruma abantu mu kifo ky’okwogera…
Ekibiina kya NRM kisabiddwa okukkiriza nti kyawangulwa mu kulonda okwabadde e Luweero
Kiddiridde pulezidenti Museveni okulumiriza abavuganya okubba akalulu akaleka nga munna Dp Brenda Nabukenya ne Mubaka
Wabula ab’omukago gw’ebibiina ebirwanirira ennongesereza mu mateeka g’eby’okulonda bagamba nti NRM erina okussa ekitiibwa mu byasalibwaawo abantu
Akulira omukago guno Livingstone Ssewanyana agamba nti n’abavuganya bafune eky’okuyiga mu kulonda
Abantu 2 bafiiridde mu kabenje k’emmotoka akagudde ku kyalo Nongo ku luguudo oluva e Kyotera-Kalisiizo.
Abagenzi bategerekese nga Paul Walusimbi okuva mu district ye Rakai ne Julius Akwatampola ow’emasaka.
Abeerabiddeko n’agaabwe bagamba nti abagenzi babadde batambulira ku pikipiki ekimotoka kilukulurana nekibasaabala.
Bagamba nti bano babadde bayise mmotoka ya Premio eno gyebagwiridde ku ki tuleera ekibattiddewo.
Ayogerera poliisi mu kitundu…
Ekibinja ky’abalamazi 50 okuva mu ggwanga lya South Sudan batuuse ku kiggwa ky’abajulizi e Namugongo nga betegekera okukuza olunaku lw’abajulizi wiiki ejja.
Akulira ekiggwa kino father Joseph Mukasa Muwonge yayanirizza abalamazi bano nga banaabwe nabo bali mu kubo.
Father Muwonge agamba bano bagasse ku banaabwe okuva e Rwanda, Tanzania ne Kenya abetegekera nga 3 June okukuza olunaku…
Obunkenke bweyongedde mu Disitulikiti ye Luweero oluvanyuma lw’abawagizi b’omubaka omukyala eyakalondebwa Brenda Nabukenya okukwatibwa.
Ababiri abakwatiddwa kuliko Richard Katabira ne Julius Mayega abaakwatiddwa ku bigambibwa nti baawuttula abaali bakuuma obululu bw’owa NRM Rebecca Nalwanga eyali yesimbye ku Nabukenya.
Omwogezi wa poliisi9 mu bitundu bino Lameck Kigozi akakasizza okukwatibwa kw’ababiri bano wabula ye omubaka Brenda Nabukenya nategeeza nga…
Omubaka wa Rubaga ey’obukiika ddyo Moses Kasibante asambira mabega nga janzi oluvanyuma lwa kkooti okumwejereza emisango gyonna egibadde gimuvunanibwa.
Kasibante abadde avunanibwa emisango okuli okukuba olukungaana olumenya amateeka, okukuma omuliro mu bantu saako n’okwonona emmotoka ya poliisi.
Oludda oluwaabi lubadde lulumiriza nti ono emisango yajizza mu 2011 wali e Nakulabye bweyali agezaako okuwakanya okulayira kwa singh Katongole…
KKanisa ya Uganda olwaleero ejje akawuuwo ku mulimu gw’okuzimba ekifo omugenda okuterekebwa ebyafaayo ku bajulizi.
Ssabasumba wa kkanisa ya Uganda Stanley Ntagali agamba nti abajulizi kyafaayo kya maanyi ekikungaanya ebantu okuva e bule ne bweeya kale nga buli ekibakwatako kikulu
Omusumba Ntagali era agamba nti ekifo kino kyakufuuka kya bulambuzi ekiyinza n’okuvaamu ensimbi eri ekkanisa
Ekifo kino kyakuzimbibwa…
Omulambo gw’omukyala eyafudde ng’aweza emyaka 80 ab’enganda ze basazeewo kumutuuza mu katebe k’abadde asinga okwagala.
Omulambo gw’omukyala ono gwambazidddwa olugoye lw’embaga omugenzi gweyayambala ku mbaga ye eyokubiri.
Gwambaziddwa n’enkofiira olwo negwetoloozebwa ebimuli omugenz by’abadde asinga okwagaala
Muwala w’omukyala ono agambye nti takubangako kafananyi nga nyina afudde nga y’ensonga lwaki asazeewo kwambaaza nnyina engoye z’abadde asinga okwagala.
Omuzanyi Moses Oloya okuva e Vietnam, atuuse munkambi ya Cranes emisana ga leero nga team ye gwanga yetegekera omupiira ogw’okudingana ne Madagascar ku lwomukaaga lwa week eno e Namboole.
Akulira ebyamawulire munkambi ya Cranes Katende Malibu ategezezza nti abazanyi bali mumbeera nungi era balindiridde captain wa team eno yekka ,kubazanyi abetaagisa munkambi.
Andy Mwesigwa asuubirwa okutuuka wano…
Mu ggwanga lya Misiri abakulembeze batubidde n’okulonda kwebategeka ng’abantu bagaanye okukujjumbira
Okulonda kuno kwabadde kwa nnaku bbiri kyokka nga kwayongezeddwaayo okutuuka ku lw’okusatu naye ng’era teri bajjumbidde
Gavumenti y’amaggye efuga eggwanga lino olunaku lwajjo era yalulangiridde ng’olw’okuwummula okusikiriza abantu okulonda kyokka nga bino byonna tebiyambye.
Abantu obutajjumbira kulonda kireeseewo akabuuza ku buganzi bw’obukulembeze bw’amaggye mu ggwanga lino n’agakulira…