Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Namugongo awuuma- abasuubuzi bakaaba

Bannaddiini ku bigwa by’abajulizo e Namugongo basabye abalamazi bonna okukuuma emirembe nga beewala ebikolwa by’effujjo Atwala ekiggwa ky’abakulisitaayo e Namugongo Rev. Canon Henry Segawa agamba nti abakkiriza bangi beerabira okusaba nebadda mu kugangayira ekintu ekikyaamu Ono agamba nti basuubira abalamazi enkumi ssatu okwetaba mu kusaba kw’enkya Bbyo eby'okwerinda byongedde okukaligibwa ng'abantu bakeberwa emirundi esatu nga tebannatuuka ku kiggwa. Okuddako…

Read More

Bamukwatidde mu bwenzi

Abatuuze ku kyaalo Kazo mu disitulikiti ye Kiruhura balabye katemba atali musasulire omusajja bw’akutte mukyala we lubona nga yegadanga ne mukwano gwe Erias Ninsiima bano okubagwaako asoose kudda waka n’asanga omwana waabwe ow’emyezi omunaana ng’ali ku lubalaza akaaba ng ataliiko afaayo Omusajja ono atandikiddewo omuyiggo gwa mukyala we era mukwano gwe amuyambyeeko nebatandika okufuuza buli webamusuubira Ono kimuweddeko…

Read More

Namukadde yeesuuba

Namukadde w’emyaka 70 gwebawadde ekuuma akeevuuma  asazeeo kutandika kuzannya gogolo. Omukadde ono akuuma kano akakeera bukeezi nga talina njawulo na bavubuka b’olaba ku nguudo ababuukira taxi. Omukadde ono  alabiddwaako mu kibuga nga yesaza ng’owa akagatto akamu era ebifananyi ebikwatiddwa ng’azannya bitunda nga keeki

Read More

Abalina Kkolera beeyongedde

Nga 2 bebakafa, omuwendo gwabantu abakakwatibwa ekirwadde kya Kkolera mu district ye Namayayingo gweyongedde okulinya okutuuka ku bantu 54, yadde nga ministry y’ebyobulamu n’abakulira ebyobulamu ku district bakola ekisoboka okutakiriza embeera. Omubaka wa pulezidenti mu district eno  Mpimbaza Ashaka ategezezza nga kati abamu ku balina kkolera ono bwebeyongeddeyo munda mu ggwanga lya Kenya ekyongera okweralikiriza. Agamba ekisinga…

Read More

Owa poliisi abadde ava e Namugongo attiddwa

Omusirikale wa poliisi y’ebidduka nga abadde akolera ku poliisi y’e Wandegeya akoneddwa mmotoka emutiddewo wali ku luguudo lwa Northern by pass amakya galeero. Akabenje kano kagudde wali e Kiwatule nga ono abadde ava Namugongo gyeyabedde asuze nga akola. Okusinziira ku atwala poliisi y’eWandegeya eyebiduka Justus opusi, omugenzi ategerekese nga  David Rwakikala. Omulambo gw’omugenzi gutwaliddwa mu ddwaliro ekkulu e…

Read More

Amayinja gatutta- abatuuze e Mukono bagenze mu kkooti

Abatuuze okuva mu byalo 3 basazeewo okukuba kampuni yabakyayina eyasa amayinja mu mbuga z’amateeka lwakubamalako mirembe. Bano nga bayita mu kibiina ekirwanirira eddembe ly’obuntu n’enkulakulana ekya center for human and development, abatuuze bemulugunya nti bazze bekubira enduulu olw’okukalubirizibwa kwebayitamu buli kampuni eno bweyasa amayinja nga banji balwadde wabula nga tebayambiddwa. Ebyaalo ebikoseddwa kuliko Bamutakudde, Kiryammuli ne Kaseneene.…

Read More

Taata w’omubaka Ssekikubo afudde

  Wabaluseewo olutalo ku wa ew’okuziika taata w’omubaka Theodore Ssekikubo afudde olunaku lwaleero Sam Mwagalwa afudde enkya ya leero oluvanyuma lw’okukubwa puleesa Okusinziira ku mubaka Theodore Sekikubo , obuziby buvudde ku wa omugenzi gy’alina okuziikibwa ng’abamu bagaala aziikibwe Kangavve SSemuto ate abalala bawakanya eky’okumujja e Lwemiyaga. Abatuuze be Lwemiyaga balumiriza nti muzeeyi Mwagalwa Muntu waabwe gwebaludde nga balaba era…

Read More

Ogwa Uganda Cranes teguliimu bbugumu

Ng’omupiira wakati wa Uganda Cranes ne Madagascar gubula ssaawa ntono, bannayuganda bangi balabise nga tebagwesunze Okwawukanako nga bwekiba bulijjo mu kaseera kano ng’abantu beetala kugula mijoozi na vuvuzela, ku luno tewali bbugumu Abamu ku bantu era betwogeddeko nabo abamu tebamanyi nti waliyo n’omupiira enkya Uganda ezannya Madagascar mmu gw’okuddingana mu z’okusunsulamua beenetaba mu kikopo ky’amawanga ga Africa. Uganda Yakubwa…

Read More

Etteeka ku sigala mulirinde

Gavumenti yeeyamye okuyisa eteeka erikugira abantu naddala abavubuka okufuweeta ttaaba. Kino kibikuddwa minister w’ebyobulamu Dr. Ruhakana Rugunda ku mukolo gwokujukira olunaku lwokulwanyisa okufuweeta ttaaba munsi yonna. Lugunda asabye ebibiina ebirwanyisa okufuweeta ttaaba okukukwanta ensonga z’eteeka lino n’obugumikiriza. Buli nga 31 May, ekitongole  ky’ebyobulamu mu nsi yonna n’ebibiina ebirala bikuza olunaku luno nebyoleka obulabe obuli mu kukozesa taaba. Taaba atta…

Read More

Amateeka amakakali ku bajulizi

Poliisi evuddeyo n’amateeka amakakali ku by’okwerinda ng’ebula mbale olw’abajulizi lutuuke Abatunda ebintu ebitali bimu babaweze okuyingira mu biggwa ate nga ne pikipiki nazo ssizakukkirizibwa kumpi n’ebiggwa Ate bbo abantu ba bulijjo nabo bagaaniddwa okuyingiza eby’okulya mu biggwa . Poliisi era etaddewo  abasirikale abali mu yunifoomu n’abatazirina okulaba ntu tewabaawo bulumbaganyi bwa kika kyonna. Kino kkyo kikoleddwa okwerinda abatujju abasiiba…

Read More