Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Emirambo emirala 2 ginyuluddwa

Poliisi y’okumazzi eriko emirambo ebiri gyenyuludde okuva mu Nyanja Nalubaale. Bano beebamu kw’abo abidde bwebabadde ku lyaato nga bava ku bizinga bye Kiziru okudda e Bulago. Abantu 32 kigambibwa okuba nti beebabadde ku lyaato kyokka nga basobodde okunyululayo emirambo 28 olunaku lwajjo. Aduumira poliisi y’oku mazzi James Pola atugambye nti emirambo gyebanyuludde emirala guliko ogw’omukulu n’omwana omuto nga…

Read More

Mukuume ttaka ly’amasomero- Mamerito

Abakulembeze mu disitulikiti  ye Wakiso basabiddwa okwongera okutumbula ebyenjigiriza wamu n’obujanjabi mu district okusinga okwenyigira mu kutunda ettaka. Okusaba kuno kukoleddwa Meeya  we Kiira Mamerito Mugwerwa bw'abadde ayisa embalirira ya tawuni kanso ey'obuwumbi 4. Mamerito agambye nti abakulembeze balina okukuuma ebyapa by’ettaka lya  malwaliro, amasomero, wamu n’ebiasawe okusinga okwenyigira mu kulitunda.

Read More

Poliisi etabukidde ba dereeva abatali bannayuganda

Poliisi etandise okulwanyisa abagwira, abavugira kuno emotoka nga tebalina bisanyiz. Ekigendererwa mu kino kukendeeza bubenje. Yakusookera ku pamiti zaabwe okulaba oba zituukiridde era buli anayita mu kasengejja ng'aweebwa akabonero akalaga nti mutuufu ku bwereere.   Kasiima alabudde abantu bano  obutetantala  kuvuga emotoka nga tebalina bisanyizo kubanga gwegunakka mu vvi wakusibwa emyezi 6  

Read More

Abasomesa bepena ebibiina

Obutasasula abasomesa mubudde kyakwongera okukosa omutindo gw’ebyenjigiriza mu ggwanga. Olulabula kuno kukoleddwa ng’abasomesa okuva mu district ye Jinja bakekalakasa olw’obutasasulwa okumala omwezi esatu. Ssentebe w’ekibiina ekigatta abasomesa ekya Uganda National Teachers Union Margret Rwabushaija agambye nti abasomesa abamu batandise okuduka mu masomeso, oluvanyuma lwobutasasulwa misaala okumala emwezi 4. Rwabusahija agambye nti abasomesa balemeddwa okufuna okunyonyolwa okumatiza okuva eri…

Read More

Yiino eccupa ekunyweesa amazzi

Mu ggwanga lya Bufaransa, abaayo bongedde okuyiiya engeri gyebayinza okuyambamu abantu okunywa amazzi. Bano bakozeeyo eccupa z’amazzi ezitegeeza omuntu nti ssaawa ya kunywa mazzi. Eccupa zino ziriko bendera emyuufu ng’eno yewuuba buli ssaawa z’okunywa amazzi zituuse Eccupa eno kino ekikola emirundi munaana olunaku. Kati gwe atalina ccupa eno, wakanywa amazzi emirundi emeka

Read More

Aba KCCA besunze URA

Omutendesi wa tiimu ya KCCA George Best Nsimbe agamba nti yetegese ekimala mu mpaka z’akamalirizo mu kikopo kya Uganda Cup. Nsimbe agamba nti mukakafu nti ekikopo kino agenda kukyezza mu mpaka ezigenda okubeera e Mbale . KCCA egenda kwambalagana ne Uganda Revenue authority . Tiimu eno wabula egenda mu mpaka zino nga terina makugu baayo okuli Tonny odur…

Read More

Kyambogo batikkidde

Abamu ku bayizi ababadde abalina okutikirwa olunaku olwalero okuva kuntendekero lya Kyambogo University bazize emikolo. Abayizi ababadde abalina okutikirwa babadde abasoba mu 800 kyoka abalinga nga 100 boka bebalabiseko. Abayizi bano bebamu kyobo abalina okutikirwa mu mwezi gw’okubiri omwaka guno, kyoka nebaganibwa oluvanyuma lwokulemererwa okutukiriza ebisanyizo bya university.

Read More

Abakyala bawagidde Museveni

Abakyala mu kibiina kya NRM bagasse kubannakibiina abalala okuwagira ekiteeso ky’omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni obutavuganyizibwa mu kamyufu ka NRM mu mwaka gwa 2016. Ngabogera eri banamawulire ku parliament abakyala bano abakulembeddwa Phoebe Otaala, akulira abakyala ba NRM okuva mu buvanjuba bw’eggwanga, bagambye nti, okuleka omukyala wa ssabaminister Jackline Mbabazi abalala bona bakiriza okuwagira Museveni. Otaala,ne banne…

Read More

Kkampuni ezitwala abantu ebweru nzibi

KKampuni ezitwala abantu ebweru ezisinga tezirina lukusa ku kikola era nga ziriwo mu bumenyi bw’amateeka Okulabula kuvudde eri akulira poliisi erwanyisa okukusa abantu, Moses Binoga . Kiddiridde minisitule ekola ku nsonga z’omunda mu ggwanga ng’eri wamu n’ab’obuyinza mu Dubai okukwata abantu musangu okuva mu kkampuni ya Ham Property ng’eno ebadde ekukusa abantu Binoga agamba nti kkampuni zino kyezifa…

Read More

Agambibwa okusaddaaka omwana Akwatiddwa

Poliisi mu district ye Buikwe ekutte omusajja ateberezebwa okusaddaka omwana. Omulambo gw’omwana ono ow’emyaka 8 gwasangibwa mu kibira ngagusaliddwako emikono n’amagulu Oluvanyuma lw’amwana ono okubula Jajja we Nakitende Jeniifer yagezeeza polisi, eyatandika okunonyereza. Owmogezi wa polisi mu bitundu bya Savana Lameck Kigozi agambye nti ekwatiidwa ye  salim walyawula.

Read More