Loodimeeya w'ekibuga Erias Lukwago ayagala palamenti eyimirize okuyisa embalirira ya KCCA kubanga emenya mateeka.
Ng'ayogerako eri bannamawulire mu maka ge e Wakaliga, Lukwago agambye nti amakubo aglina okuyitibwamu okutuuka ku mbalirira eno tegagoberereddwa.
Lukwago agamba nti n'ensimbi zenyini ezissiddwa mu bitongole ebitali bimu mpitirivu nga zireetawo akabuuza
Asonze ku buwumbi 36 ezigenda okussibwa mu katale ka USAFi ng'agamba…
Ababaka mu lukiiko olukulu olw'eggwanga okuva mu Buganda bagaala endagaano ezaakolebwa wakati wa Buganda ne gavumenti zanjibwe.
Kiddiridde gavumenti eyawakati okwefuula n'etanula okusaba Buganda ebimu ku byapa ebyagiweebwa.
Ssabawolereza wa gavumenti yeeyategeezezza nga bwebawandiikidde Buganda nga bagisaba ebyapa okuli ettaka ly'abakooki n'abaluuli okubizza kubanga banyini nyo babyagaala
Akulira akabondo k'ababaka okuva mu Buganda Godfrey Kiwanfa agamba nti okusinziira ku…
Ababaka abatuula ku kakiiko akakola ku by'enjigiriza beekandazze nebafuluma olukiiko olubadde lutegekeddwa okukubaganya ebirowoozo ku nsonga eziruma abaana
Kiddiridde minisita akola ku byenjigiriza ebisookerwaako Kamanda Bataringaya okugaana okuwuliriza okusaba kwaabwe nti asigalewo awulire okuva mu bekikwatako bonna kiki ekivuddeko obuzibu
Ng'amaze okuggulawo olukiiko olubadde ku Hotel Africana, minista agambye nti abadde tasobola kusigala kubanga abadde alina olukiiko…
Abasajja bangi obalaba nga bassa essimu mu mpale zaabwe.
Kino kiyinza oyinza okukiraba ng’eky’olusaago, naye abasawo bagamba nti amasimu gano galina engeri gyeganafunayaamu abasajja
Abakoze okunonyereza kuno okukyagenda mu maaso mu mu ggwanga lya America kulaze nti enkaso z’abasajja zikendera zikendeera buli lweberiraanya amasimu era nga kino ssinga omuntu akikola ennyo, kiyinza okuvaako abasajja obutazaala.
Abanonyereza okuva mu…
Okulya enyaanya ng’eriko oluliba lwaayo nga mbisi kiyamba okukuuma omutima nga mulamu bulungi
Abazudde bino bannasayansi okuva mu Bungereza.
Okunonyereza okuzudde bino kukoleddwa ku bantu 72 abaawuddwaamu emirundi ebiri, abamu nebaweebwa enyaanya ate abalala nebaweebwa eddagala.
Kyeraze bulungi nti ababadde balya enyaanya emitima gyaabwe gyabadde miramu bulungi yadde nga tebagasseeko ddagala.
Kati abakugu bano bagenda kwongera okwekebejja ekiri mu…
Abali mu lutalo lw’okulwanyisa obulwadde bwa mukenenya benyamidde olw’omuwendo gw’abantu abafuna obulwadde bwa mukenenya mu ggwanga
Ng’ayogerako eri bannamawulire mu kibuga, omukulu okuva mu kibiina kya Pharmaceutical Society of Uganda, Brian Bagyenda agambye nti obulwadde bwa mukenenya bungi nnyo mu bavubuka ate nga bangi tebamanyi na ngeri ya kubulwanyisaamu.
Bagyenda agamba nti yadde gavumenti efubye okusomesa abantu…
Katikkiro wa Buganda owekitiibwa Charles Peter Mayiga akuutidde bannamawulire naddala okuva mu monitor publications okukola nga tebaliimu kyekuubiira n’okukulembeza amazima mu buli kimu.
Bw’abadde atikkula abakozi ba Monitor omuli n’aba Dembe FM ettofaali, katikkiro agambye nti abantu bangi balina essuubi mu mikutu gya monitor kale nga okubalyaamu olukwe kiba kikyaamu.
Mayiga agambye nti okwetongola kw’amawulire kikulu era…
Abalunzi be Njuki basabye parliament eyise eteeka Erirungamya omulimu gwaabwe .
Abantu abasoba mu kakadde kamu beebalunda enjuki kyokka nga bano tebalina tteeka libalambika.
Akulira ekitongole kya National Apiculture Development Organisation Dickson Biryomumaisho agambye nti bagaala etteeka lino liwalirize gavumenti okuteeka ensimbi mu kulunda enjuki.
Ono era agamba nti okulunda enjuki kulimu ebintu bingi era nga kusobola okuyamba…
Kkooti y’amaggye etuula e Makindye aliko omusajja gw’esindise mu kkomero yebakeyo emyaka 30 lwakutta mulambuzi ku lusozi lwa Elgon.
Fred Kipsang y’asibiddwa emyaka 30 ate nga banne abalala basatu okuli Chepkrui Kamada , Chebles Patrick ne Moses Chemtai bbo basibiddwa emyaka 10 lwakukolagana n’omutemu omutta munnansi wa Belguim Van De Venster ng’ono bamukuba masasi
Omuwaabi wa kkooti…
Abavuganya gavumenti bawakanyizza ne ssekuwakanya eky’amaggye okwezza enteekateeka ya NAADs
Pulezidenti bw’abadde ku mikolo gy’abazira agambye nti amaggye nga gakulirwa gen salim saleh geegagenda okwezza omulimu gw’okulondoola enteekateeka ya NAAds kubanga abakulu abaliwo bazze mu kulya.
Wabula mu lukungaana olw’awamu, abavuganya n’ab’ebibiina by’obwa nakyeewa bategeezezza nti ekikulu kuzimba bitongole ebiyitamu ensimbi zino sso ssi kuzza bintu wansi…