Omukulembeze w’ggwanga Yoweri Kaguta Museveni asubirwa okutongoza ekidyeri ekigenda okutambuza abantu okuva e kasaana okudda e Kamuli mu district ye Kayunga.
.ekidyeri kino ekyamalawo obuwumbi 3 billion kibadde kyafiira ku mwalo gwe Nabuganyi Landing mu gombolola ye Busaana nga era abatuuze babadde bakaaba olw’entambula eyakaluba.
Omubaka wa Ntenjeru North Amos Lugolobi agamba katio abalimi bakuganyulwa nyo mu…
Agatanakakasibwa gooleka nga abantu abasoba mu 5 bwebandiba nga abafiiride mu kabenje , nga akagudewo akawungeezi ka leero okumpi n’omugga kafu.
Bus e kozze akabenje ya company Baby Coach Services number UAP 908V nga eno ebade eva e juba okudda mu Uganda.
Abeerabideko n’agabwe batutegeezeza nti bus eno okukola akabenje ,ebade egezaako okuyisinganya n’ebimotoka ebinene 2 ebibade…
Ssabasajja Kabaka agguddewo emipiira gy'amasaza ga bUganda.
Obukama bwe Tooro bwagala pulezidenti Museveni yeetonde olw’okuvvoola omukama waabwe Oyo Nyimba Kabamba
Ng’abuuzibwa ku by’omukama Oyo Nyimba okwekalakaasa ng’asula enjala,Pulezidenti Museveni yategeeza nga Oyo bw’ali omwana omuto era ng’okusiiba kwakumuyamba okukendeeza ku mubiri gwe oguyimbulukuse
Akulira abavubuka mu Tooro, Richard Birungi agamba nti ebigambo bino byavvodde omukama kubanga kikyaamu okumuyita omulenzi.
Tooro erudde ng’ebanja ebyaayo okuva Buganda…
Abakulembeze b’abalokole bakedde kuddukirira mulanga gwa KCCA okulongoosa ekibuga kampala.
Bano bagogodde emyala, okukungaanya kasasiro saako n’okwera enguudo ezenjawulo okwetolola ekibuga.
Pastor Fred Mugambwa okuva mu kanisa ya carnival temple e Kitintale yoomu ku bakulembedde banne okulongoosa n’ategeza nga bwebabadde batukiriza obukulembeze bwaabwe okufuuka eky’okulabirako eri abalala.
Abakozesa amasimu baddukidde mu kooti enkulu olw’amakampuni agatabaweereza bulungi.
Bakulembeddwaamu Abel Balemesa nga bagamba nti kkampuni z’amasimu ziyitirizza obubbi nga zisala n’ensimbi ku bubaka obutasindikiddwa
Bano bagamba nti mu ngeri yeemu n’amasimu agakutuka gajjibwaako ensimbi ekintu ekikyaamu
Bano bawaabiddeko n’akakiiko akakola ku by’empuliziganya nga kko bakalanga kusirika ng aba kasitoma babbibwa
Bagaala kkooti alagire akakiiko kano kalonde kkampuni ey’etongodde…
Mu ggwanga lya Indonesia okunonyereza kutandise ku mukyala agamba nti yazadde akanya
Ekibinja ky’abakugu kisindikiddwa ku kyaalo awaliwo omukyala ono .
Debi Nabutonis wa Myaka 31 ng’agamba nti bulijjo ali lubuto era akadde mulindwa katuuse kyokka okugenda okulaba nga kanya keekavuddeyo
Omusawo eyazaalisizza omukyala ono Josephine Lydia naye alumiriza nti omukyala ono yazadde kanya
Ekitongole ekikola ku byomusaayi mu ggwanga kisabye abantu beebaguza omusaayi mu malwaliro okuloopa abakikola.
Kiddiridde abantu okwemulugunya nti babaguza omusaayi nga bagenze mu malwaliro.
Akulira etterekero ly’omusaayi ekkulu Jude Sande agamba nti omusaayi guno gwa bwereere kuabnga bano bagufuna ku bwereere
Olunaku lw’enkya mu nsi yonna lwakugaba musaayi era ng’abantu bakubiriziddwa okujjumbira.
Abasomesa basanyukidde ekya gavumenti okubongeza omusaala
Gavumenti olunaku lwajjo yalangiridde obuwumbi 450 okukola ku musaala gw’abasomesa oguludde nga gubanjibwa.
Ssabawandiisi w’abasomesa James Tweheyo agamba nti kati balindiridde kulaba oba kino kyeyoleera ku nsimbi ezinabaweebwa.
Bbo abakyala bbo nno ssibasanyufu n’embalirira eno gyebagamba nti egenda kukosa bbo.
Omu ku balwnairira eddembe ly’abakyala Kawamala Mushambi agamba nti okwongeza omusolo ku mafuta…
Eggye ly’eggwanga lirabudde abayimbi abegumbulidde omuze gw’okwambala ebyambalo bya maggye awatali kufuna lukusa okuva eri ab’obuyinza.
Mu mateeka, abantu baabulijjo tebakirizibwa kwambala byambalo bino nga era akwatibwa singa gumukka mu vvi asibwa emyaka egitasukka 7.
Omwogezi w’amaggye g’eggwanga paddy Ankunda agamba nti abantu baabulijjo basanye okwewalira ddala okwambala ebyambalo byamaggye naddala mu biseera bino nga obuzzi bw’emisango…