Poliisi eri ku muyiggo gw’abatamanya ngamba abalumbye poliisi ye Mubende nga baagala okubba emmundu.
Ba nkuyege tetya ssabo bano baasose kulumba maka g’adumira poliisi n’akulira eby’okunonyereza.
Adumira poliisi ye Mubende Enock Abaine agamba bawanyisiganyizza amasasi era mu kavuvungano kano tewali musirikale wa poliisi yalumiziddwa sso nga omu ku babbi bano baamusuzizza engoye .
Kati ebyokwerinda binywezeddwa ku kitebe…
Ababaka okuva ku ludda oluvuganya gavumenti basimbudde nakakongo nga bagaala abavubuka abakwatiddwa ku palamenti olunaku lwajjo bayimbulwe
Robert Mayanja ne Norman Tumuhimbise bakwatiddwa bwebabadde beekalakaasiza ku palamenti n’obubizzi obwa kyenvu ku palamenti.
Ababaka okubadde Bernard Atiku,Joseph Ssewungu ne Mohammed Kivumbi bagamba nti abantu bano ddoboozi ly’abalala abatasobola kwogera ate ng’abandi bekyaawa.
Ekikolwa ky’abasajja bano nno okukuba poliisi akawunika…
Mu kibuga Vienna, omukyala eyeebakirizza ku ddirisa okwoota omusana ng’ali bukunya aleese omugotteko gw’ebidduka.
Omukyala ono amagulu ge gasigadde galebeera nga n’akabina konna kali bweeru
Omukyala ono yazimba ku kkubo era ng’obwedda abagoba b’emmotoka abayitawo basiba nebeelorera era gyebigweeredde ng’emmotoka zikutte.
Ezimu ku mmotoka zikonaganye era waliwo awuliddwa ng’awogganira waggulu nti ogenze okunkoona nga tondaba
Abantu musanvu abakwatiddwa nga bagula ku batembeyi kkooti ebalagidde bakole bulungi bwa nsi.
Ku bano kuliko omuyizi Salim Musoke eyasangiddwa ng’agula sitokisi.
Omulamuzi w’eddaala erisooka ku City Hall Erias Kakooza bano abalagidde okukola essaawa emu n’ekitundu eya bulungi bwa nsi nga basindikiddwa KCCA gy’ewa kasasiro mu kiteezi
Balabuddwa obutaddamu kuzza musango guno kubanga ekibonerezo kyakusingawo ssinga bageza nebaddamu
KCCA…
Nga bannanyini masomero bakyakaaba musolo ogwababinikiddwa mu mbalirira ey’omwaka ogujja, yye minister abatwala ow’ebyenjigiriza Jessica Alupo abawadde amagezi basasula emisolo gino
Mu mbalirira y’omwaka ogujja, emisolo gyassidwaawo ku masomero g’obwannanyini ekintu ekivumiriddwa ennyo bannanyini masomero abasaba nti ebintu bikyusibweemu ng’embalirira tennaba kuyita
Wabula yye Alupo agamba nti emisolo gino gyakuyamba okugaziya ensawo y’eggwanga era ng’ensimbi zino ziba…
Abasabaaze abakozesa paaka ya Kafumbe Mukasa bakonkomadde oluvanyuma lwa paaka eno okuggalwa
Paaka eno yaggaddwa olunaku lwajjo aba KCCA ne poliisi lwakubeera mu kifo ekikyaamu.
Taxi zonna ezibadde mu paaka eno kati zasindikiddwa mu paaka ya USAFI
Abasinze okukosebwa beebasuubuzi abalina emigugu
Ssentebe w'ekibiina ekigatta ba dereeva ne ba kondakita ba Taxi Mustafa Mayambala agamba nti badereeva bakyasobeddwa nga…
Obulwadde bwa Ebola butuuse mu kibuga kya Liberia ekikulu Monrovia nga bwakattayo abantu musanvu
Abantu bano beebakasooka okufa mu kibuga bukyanga bulwadde buno bubakulawo mu mawanga ga Africa ng’awasinga bubadde mu byaalo.
Ku bafudde kuliko omusawo n’abantu bana okuva mu nju eno nga kuliko ne ki bebi.
Guinea lye ggwanga lya Africa eryakasinga okukosebwa ekirwadde kya Ebola nmg’abantu…
Abasawo bawereddwa amagezi okukozesa eddagala eppya ku bantu b’emitima mu kifo ky’okugaba Aspirin.
Bino biri mu mateeka amappya agafulumiziddwa ettendekero ly’ebyobulamu mu ggwanga lya Bungereza.
Bano bagamba Aspirin ono avaako abantu okusanyalala eky’obulabe eri obulamu.
Ababadde bakozesa Aspirin bawereddwa amagezi okukozesa eddwagala eddala nga Warfarin kubanga teririna bulabe
Ebivudde mu bakugu bano bisuubirwa okukosa abalwadde bangi ab’omutima ababadde bakozesa…
Tekyali kweralikirira kirwadde kya kkolera mu disitulikiti ye Namayingo.
Ennaku 2 eziyise, teri Muntu yazzemu kukwatibwa kirwadde kino.
Akulira eby’obulamu bwabantu babulijjo mu ddwaliro ekkulu e Jinja Dr. Attai Emorot agamba nti enkambi zebatekawo okukumiramu abalwadde b’ekirwadde kino kiyambye nyo okutangira ekirwadde kino okusasanira mu bitundu ebirala.
Agamba minisitule y’ebyobulamu yasindise dda abantu baayo era singa wabawo omutawaana…
Ebintu bye kizungu oyinza okulowooza nti bitawaanya ffe wano naye nedda.
Waliwo otuseeko ku madaala agatambula nga tomanyi ngeri gy’ogabuukira gakutambuze.
Kati yye ono omukyala omukadde alabye ntabisobola, amadaala gano ate kweyekutte.
Omukyala ono abadde atambula akutaamiriza yegolodde amadaala gano bwegamuvuze nga bw’awogganira waggulu ng’asaba obuyambi.
Akatambi ke kassiddwa dda ku mikutu ya yintaneeti gyenjawulo naye nga teri ayogera…