Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Ebya Lukwago bijulidde

Kkooti etaddewo olunaku lwa bbalaza ssabiiti ejja okusalawo oba eyimiriza okuwulira omusango gwa loodimeeya Erias Lukwago mw’ayita okutaasa entebe ye Ssabawolereza wa gavumenti yaddukira mu kkooti ejulirwaamu ng’asaba kiragiro ekiyimiriza okuwulira emisango gya Lukwago okutuusa ng’okwemulugunya kwe kukoleddwaako Mu kwemulugunya kuno, Peter Nyombi nga ye ssabawolereza ayagala omulamuz akola ku musango gwa Lukwago Yasin Nyanzi agujjemu enta…

Read More

Omwana akedde obukaba

Buli muzadde alina engeri gy’abubiramu omwana we ate nga bwegutuuka ku basajja n’abaana baabwe abawala gujabagira Basing kweralikirira basajja abayinza okubakwata mu maaso. Kati ono omuzadde yatuuzizza muwala we ow’emyaka 3 okumukakasa nti abasajja babi Yamusabye addemu by’ayogera ng’amugamba nti bw’anaakula tajjakufuna musajja. Omwana ono yazzeemu butlungi kyokka weyatuuse ku ky’okufuna omusajja n’akayaanya taata we ng’agamba nti nedda takikkiriza Abalabye…

Read More

Mu America 14 babikiddwa ettaka

Ab’obuyinza mu kibuga Washington ekya America bazudde emirambo emirala mukaasa egy’abantu abafudde ettaka bweryabumbulukuse mu nkuba eyamaanyi Kati abakafa bali 14 Abantu abali mu 176 bbo tebamanyiddwaako mayitire nga babikiddwa ekisenge ekiwanvu Baddukirize bakola misana na kiro nga bakozesa n’enyonyi okunoonya abamaye naye ng’essuubi ly’okufuna baalamu ttono ddala

Read More

NRM eremeddwa ez’obupangisa

Ab’ekibiina kya NRM bakyalemereddwa okusasula ez’obupangisa Bano nanyini kizimbe okuli ofiisi zaabwe abakubye mu mbuga z’amateeka ng’abanja obukadde 360 Aba kkampuni ya Nile Travel agencies beebavunanyizibwa ku kizimbe kino nga bagamba nti NRM emaze emyezi 30 nga tesasula Ekizimbe kino bakisasulira doola enkumi nnya buli mwezi kyokka nga zino zizze zeetuuma nga tebenyeenya Bano bagaala kiragiro kya kooti ekikaka…

Read More

Gavumenti enanonyereza ku bbula lya Oxygen

Gavumenti esabye palamenti okugiwa obudde okunonyereza ku bigambibwa nti waliwo abantu abafudde mu ddwaliro e Mulago olw’ebbula lya Oxygen Ng’ali mu palamenti akawungeezi ka leero, minisita w’ebyobulamu Dr Ruhakana Rugunda agambye nti yawuliddeko ku mawulire gano kyokka nga tannagakakasa n’asaba okutuuka olunaku lw’enkya Omubaka Moses Kasibante y’aleese ensonga eno ng’agamba nti waliwo abalwadde mukaaga abafudde e Mulago…

Read More

Bodaboda muziveeko- babaka

Ababaka mu Lukiiko olukulu olw’eggwanga bambalidde ekitongole kya KCCA olw’ekirowoozo ky’okujja bodaboda mu kibuga Ababaka bano bebuuzizza ekigendererwa kya KCCA oluvanyuma lw’amyuka akulira abakozi Judith TUkahirwa okutegeeza nti ekigendererwa kyaabwe ekyakujja mugotteko mu kibuga Ababaka okubadde Yonah Musinguzi, Kabakumba Matsiko ne Brenda Nabukenya bagamba nti obuzibu bwa jaamu bunene nyo nga nebwebanagoba boda sibwakuggwaawo

Read More

Eyatulugunya omwana we bamumujjeeko

Omukyala ow’emyaka 22 agambibwa okutulugunya omwana we gweyakeera enkya n’azaala asibiddwa omwaka gumu n’emyezi kkumi Kooti etuula ku city hall y’esalidde Sadriano Kemigisha ekibonerezo Omukyala ono ategeezezza kooti ekubirizibwa mulamuzi Juliet Hatanga nti yasalawo okutulugunya mutabani we kubanga kitaawe w’omwana abadde yamusuulawo Omukyala ono agambye nti kitaawe w’omwana ono omuzungu enzaalwa ye Denmark olwakizuula nti amufunisizza olubuto Omukyala ono…

Read More

abaana abamu bakeerewa okuvubuka

Bannasayansi bakizudde nti abaana abamu balwaawo okuvubuka ate balala nebakeera Kigambibwa okuba nti kiva ku musaayi ng’abamu balina endagabutonde ezirwaaawo okulagira omubiri okukola enkyukakyuka ku mubiri ng’omwana avubuse Abanonyereza okuva mu bungereza batunuulidde abaana okuva mu maka musanvu Abaana abawala abasinga batandika okukyuuka emibiri nga balina emyaka 13 kyokka ng’abamu bakifuna bukyaali Mu buli baana abalina emyaka gy’ekivubuka 100,…

Read More

Obubaka ku mukenenya bwakukyuuka

Akakiiko akakola ku bulwadde bwa mukenenya kagenda kukyuusaamu mu nkola y’okulwanyisa mukenenya Mu nkola eriwo, gavumenti etumbula eky’abantu okwewala ebikolwa by’okwegatta, okubeera abeesigwa n’okukozesa kondomu Ssentebe w’akakiiko ka Mukenenya Prof Vinand Natulya agamba nti bakizudde nti bino ebisatu bino tebimala nga balina okuyiiya engeri gyebayambako bwegutuuka ku mbeera n’enneyisa z’abantu Prof Natulya agamba nti bagala kutandika kukola bubaka…

Read More