Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Fooko emulakidde

Abantu abawakanira ebintu ebitali bimu tebaggwa Ono wa nzaalwa ya Romania ng’asibye ensimbi nti asobola okumira fooko ekozesebwa okulya emmere. Radu ow’emyaka 25, addusiddwa mu ddwaliro nga biwala ttaka oluvanyuma lwa fooko okumwekiika n’atandika okwenyoola. Abasawo abalese banyeenya mitwe oluvanyuma lw’okumwekebejja nebalaba fooko ng’eremedde mu bulago.  

Read More

Tiimu y’okubaka egenda Botswana

  Team yabato eyomuzannyo gwokubaka yakugenda e Botswana mumpaka ezokusunsulamu abanetaba muza Commoen wealth games omwaka guno. Kino kidiridde akafubo akabaddemu minister webyemizanyo Hon Charles Bakabulindi wamu nabakungu ba Uganda Olympics committee olunaku lweggulo. Team eno yali yawandukululwa kulukalala lwemizanyo egitwalibwa e Botswana mumwezi gwokutaano olwebbula lyensimbi ,wabula ensisinkano yabakungu bano,bakaanyiza okwatala aba Netball okwetaba mumpaka zino.

Read More

aba somali mu nkambi

Eggwanga lya Kenya lyongedde okutabukira abatujju Abasomaali bonna abali mu bibuga balagiddwa okugenda mu nkambi ezissiddwaawo mu kawefube w’okwewala ennumba z’ekika kyonna Minista wa Kenya akola ku nsonga z’omunda mu gwanga Ole Lenku agambye nti obulumbaganyi ku Kenya bususse ate ng’ababukola bava Somalia Bbo abamu ku balwanirira eddembe ly’ababundabunda bavumiridde ekikolwa kino

Read More

Ekizimbe kimugwiridde

Ekizimbe  ekibadde kimenyebwa e Nakasero okumpi n’omuzikiti kigwiiridde omusajja n’amenyeka mu kifuba Abu Lubega y’addusiddwa mu dwaliro ekkulu e mulago nga afa obulumi. Agamba nti abadde ne banne nga bamenya kwekulaba nga amabulooka gayiika era mu kugezaako okwetegula , amataffaali negamukuba mu kifuba

Read More

Eyakikoze omwana wa munne akwatiddwa

Poliisi ekutte omukyala asosonsese omwana wa muggya we omukono mu bukyala ng’amutebereza okwagala abasajja Rose Dembe akwatiddwa lweggulo lwaleero bw’abadde agezaako okudduka okuva mu maka ge e Kyamwokya Akulira poliisi ekola ku nsonga z’abaana John Mugerwa agambye nti omukyala ono bamuggalidde era nga n’oluvanyuma wakukola statementi Omukyala ayogerwaako yakkidde omwana wa kibiina kya Musanvu n’amusosonseka omukono mu bukyala…

Read More

Gavumenti etubidden’emirambo

Gavumenti ekyatubidde n’emirambo gy’aba Congo ababbidde bwebabadde badda ewaabwe Minisita akola ku bigwabitalaze, Eng Hillary Onek y’ategeezezza bino bw’abadde asoma ekiwandiiko kya gavumenti mu palamenti. Minisita agambye nti yadde basobodde okunyulula emirambo gya bantu 107, emirambo egimu gikyalemedde ku nsalo ya Uganda ne Congo nga gavumenti yaayo yagaanye okugitwaala Onek agamba nti gavumenti ekyanoonya engeri bano gyebagenda okuziikibwaaki Aba…

Read More

Abagambibwa okulya abantu bakwatiddwa

E Rakai abantu 4 abagambibwa okuba abali b'abantu abalamu abakakanye ku mukazi n’omwana we nebabalya bonna bakwatiddwa. Bano bazindukiriza Gabriel Bandigi , mukyala we o’wolubuto ,n’omwana waabwe omuto kyokka nga yye omusajja basobodde okudduka n'ebisago by'ejjambiya Adumira poliisi ye Rakai Nelson Sooma agamba poliisi ekyanonyereza ku nsonga eno nga tebayinza kukakasa kati nti ddala bano basezi .

Read More

Omukyala akikoze omwana wa Muggya we

  Poliisi y'oku luguudo lwa  Kiira eri ku muyiggo gw’omukazi eyakubye omwana wa mujja we omukono mu bitundu by'ekyama alabe oba abadde yeebaka n’abalenzi katono amusikeyo nabaana.. Omuyizi ono ow'ekibiina ky'omusanvu y'addusiddwa mu ddwaliro nga  ng'atonya musaayi. Okusinziira ku atwala poliisi ya Kiira Road John Mugerwa omusango guno gwaddiziddwa wali e  Kamwokya mu church zone. Yye ekulira essomero omwana…

Read More

Abeesenza mu ntobazi bagenda

Ab'ekitongole kya Kampala capital city authority batabukidde bannaggaga abeyongera okwesenza ku ttaka ly’entobazi.  Bano baweze okusengula abo bonna abesenza mu ntobazi e Kinnawataka, Banda Kisaasi n’ebitundu ebiriraanyeewo . Omwogezi wa KCCA Peter Kawuju agamba nti bano era tebabasuubira kukakasa pulaani zaabwe kubanga ekiragiro kyayita dda ng'ekiddako ku bagoba

Read More