Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Omwana akimazeeko bakadde be

Abaana abato bwebabazzaako bakitwala mu ngeri ya njawulo. Abamu basanyuka ate abalala bayisibwa bubi era nebakyayiira ddala bato baabwe Kati nno mu ggwanga lya America, omwana omulenzi gwebazizzaako omuwala omulundi ogw’okubiri akubye emiranga egimazeeko bakadde be ebyewungula Bakadde b’omwana ono bakoze keeki mu ngeri y’okujaguza wabula bwebamubuulidde nti muto we muwala akaabye amaziga nga bw’awogganira waggulu nti akooye…

Read More

Moyes ayanukudde abawagizi- Ssibyangu

Omutendesi wa tiimu ya Manchester United, david Moyes kyadaaki avuddmeu omwaasi ku nkola ya tiimu ye. Ono agambye nti Ferguson nebweyandibadde y’aliwo yandisanze okubuzibu okufuna akalungi okuva mu tiimu eno. Manchester united nga yeeyatwaala ekikopo kya pulimiya omwana oguwedde eri mu kifo kya musanvu Abamu ku bawagizi ba united bategese okwekwekalakaasa okusaba nti Moyes agobwe kyokka nga yye…

Read More

Amakomero kattiro mu misiri

Kizuuliddwa nti amakomera mu ggwanga lya misiri gafuuka bifo ebitulugunyizibwaamu Abasibe bakubwa emiggo, abakyala bakakibwa omukwano, abasibe beebamu bano babakubisa amasanyalaze nga bano tebalina gwebataliza babikola n’abaana Abantu abali mu mitwaalo 2 beebakayita mu bulumi buno mu bbanga elitaweza na mwaka Abasibe bano okwogera bino babadde basisinye bannamawuliew ba BBC beebategeezeddwa bino byonna Gavumenti yagaanye dda ebigambo bino.

Read More

Kasibante ayanukudde Museveni-Sijja kusirika

Omubaka wa Rubaga North Moses Kasibante ayanukudde omukulembeze w’eggwanga eyatisatisiza okumukwata. Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta  Museveni yalabudde omubaka wa Rubaga North Moses Kasibante, okwewala okweyingira mu nsonga z’okuzimba omwala gwa Lubigi. Moses Kasibante agambye  nti wakungenda mu maaso n’okulwanirira abatuuze abasangibwa mu Kawala zone, abakoseddwa enyo okuzimbaomwala gwa Lubigi. Kasibante agamba nti waliwo n’abatuuze abalina ebibanja mu Lubigi…

Read More

Gavument yakujulira ku bya Lukwago

Minisita wa Kampala Frank Tumwebaze avuddemu omwasi ku nsalawo ya kooti eyimiriza okulonda kwa loodimeeya. Omulamuzi Lydia Mugambe olunaku lw’eggulo yayimirizza akakiiko k’ebyokulonda okutegeka akalulu kano kubanga ekibuga kikyalina loodimeeya. Kooti era yalagidde minister wa Kampala Frank Tumwebaze, ne polisi obutaddamu kugaana Lukwago okugenda mu offiisi ye. Kati minisita Frank Tumwebaze agambye nti bo bawakanya ensalawo ya kooti…

Read More

Poliisi ezinzeeko leediyo- Nobert Mao akwatiddwa

Poliisi ezinzeeko leediyo ya Kasese Guide radio okukkakkana ng'esazeeko pulogulaamu ebaddeko. Radio eno bagiranga kukyaaza Gen Mugisa muntu enkya yeleeo ng'ono abadde abangula bantu ku bwetaavu bw'enongesereza mu mateeka g'eby'okulonda Mu ngeri yeemu era poliisi ekutte akulira ekibiina kya DP Nobert Mao bw'abadde yakatuuka ku lutindo olumanyiddwa nga Katungulu e Kasese. Bino byonna bizze ng'abavuganya bateekateeka okukuba olukungaana…

Read More

Emotoka ya Chameleone ewambiddwa

  Ab’ekitongole ekiwooza bawambye emmotoka y’omuyimbi Jose Chameleone ey'ekika kya Escalade. Bano okumukwaasa bamugoberedde okutuuka e Lugogo ku cricket Ovala gy’ategese ekivvulu kye Okusinziira kw’akulira ababanja emisolo, Abdul Salaam Waiswa ,Omuyimbi omo bamubaja emisolo gya bukadde musanvu n’edala obukadde 30 Waiswa ategeezezza nti baludde nga bajjukiza Chameleone okubasasula naye nga teyenyeenya nabo kwekukozesa eryaanyi.

Read More

Maj.Gen Mugisha Muntu akwatiddwa

  Akulira ekibiina kya FDC Maj Gen Mugisha Muntu akwatiddwa Ono aggaliddwa ku poliisi e ntungamo n’abalala b’akwatiddwa nabo. Poliisi ekozesezza omukka ogubagala n'okukuba amasasi mu bbanga okugugumbulula abawagizi be ababadde bakungaanidde e Kabaale Bano babadde bategeka kukuba lukungaana e Kabale poliisi n’erulinnyamu eggere. Eyali akulira FDC Dr Kiiza Besigye agambye nti yye basobodde okumwetoloola okumulemesa okufuluma emmotoka era okukkakkana…

Read More

Teri kulonda, Lukwaago ye Loodimeeya- Kkooti

Kkooti eyimirizza okulonda loodimeeya omuggya Omulamuzi Lydia Mugambe asazeewo nti olukiiko olwayitibwa okugoba Lukwago lwayitibwa mu bumenyi bw’amateeka Omulamuzi era agambye nti kooti yayisa ekiragiro ekiyimiriza olukiiko luno era nga ne minister eyayita olukiiko luno yali ategeezeddwa mu budde Omulamuzi agambye nti ebikolwa bya ssabawolereza wa gavumenti bimenya mateeka era nga kiswaaza nti yye alina okuwabula gavumenti ku…

Read More

Emmese ebagobye mu kiyungu

Emmese eyakula n’ewola alesezzaawo abantu ekiyungu kyaabwe mu ggwanga lya Sweden Emmese eno ebadde okumanya nene ebadde efubutula ne kkapa y’ewaka n’edduka Omwami agambye nti mukyala we y’amukubidde essimu ng’ali ku mulimu n’amubuulira ku mmese eno era mu kusooka asoose kubiyita bya lusaago kyokka okugituukako kimuweddeko Omusajja ono agambye nti ekisinze okumutiisa y’emmese eno okumutunuulira nga temujjaako maaso…

Read More