Oluvanyuma lwa loodi meeya Lukwago okugobwa mu ofiisi gyeyamazemu essaawa entono , bannamateeka ba Lukwago basuubirwa okulabikako mu kooti ey'okuntikko nga bawakanya ekya kkooti ejulirwamu okugoba omuntu waabwe mu ofiisi .
Olunaku olw’egulo omulamuzi Steven Kavuma yalagidde Lukwago ave mu ofiisi okutuusa nga okujulira kwa ssabawolereza wa gavumenti Peter Nyombi nga awakanya Lukwago okudda mu kooti…
Yadde nga okunabuuka kwa siringi kuleesewo okulinya kw’ebbeeyi ye mmere mu ggwanga, ekitongole ekikola ku muwendo gwebintu mu ggwanga kitegezezza nga ebbeeyi ku bintu ebimu nga sukaali bw'esse.
Omu ku bakungu mu kitongole kino Nsubuga Vincent Chris Mukiza, kilo ya sukaali kati egula 2700 okuva ku 3500 zeyali egula omwezi gumu emabega.
Mukiza agamba kino kivudde ku…
Eky’okusazaamu endagaano y’ekitongole ky’eyamaanyalaze ekya UMEME kikyagyamu abantu abenjawulo omwasi.
Kino kiddiridde palamenti okuwa amagezi endagaano y’abano esazibwemu lwabutatukiriza bulungi mirimu gyaabwe.
Kati sentebe w’ekibiina ekigatta abakozesa ebintu mu ggwanga Mulwani Taminwa agamba endagaano eno yetaaga okuddamu okwekebejebwa.
Ono era ayagala okunonyereza kwabo bonna abetaba mu kuteeka omukono ku ndagaano eno.
Ababaka ba palamenti baasalawo ntio ddal UMEME emirimu…
Poliisi erabuddwa okwewalira ddala okutulugunya banamawulire wamu n’okuggala emikutu gy’amawulire.
Kati eyali ssenkagale w’ekibiina kya FDC Dr. Kiiza Besigye atadde poliisi ku ninga enyonyola ddala lwaki yagaddewo emikutu gya radio ebiri e Kabaale ne Kasese.
Ku wiikendi poliisi yazinzeeko emikutu gino nebajiggala nebajiggala lwakukyaaza bavuganya gavumenti abali mu kubanja enongosereza mu mateeka g’ebyokulonda.
Besigye agamba emikutu gya radio…
Yadde ng’embeera mu budde ekyuuseemu, yyo ebbeeyi y’ebintu esigadde ng’eri waggulu.
Emiwendo gikyaali ku bitundu 12 n’obutundu 7 ku buli kikumi okwawukanako n’ebitundu 11 mu mwezi gw’okubiri.
Omukungu mu kitongole kino Chris Mukiza agamba nti emiwendo gino gakusigala nga giri waggulu kubanga n’enkuba gy’eyise erese abaayo beeyaguza lujjo.
Ebimu ku birinnye kuliko Amatooke, ebivavaava, n'ebirala bingi
Omugenzi Paul Kafeero yayimba nti eyayiiya omwenge asobola.
Mu ggwanga lya japan omusajja anywedde omwenge nagangayira nagwa mu luguudo lw’egaali y’omukka agenze okudda engulu nga okugula talina.
Ono akubye emiranga egisombodde abantu naye nga yenenya yekka
Abalwanirizi b’eddembe ly’abakyala amakya ga leero bakedde kwekalakaasa mu mirembe olw’ebbula ly’amazzi ku ddwaliro ekkulu e Mulago.
Bano bakutte ebidomola by’amazzi ebikalu nga kati baagala gavumenti eyambe ku bbula lyamazzi lino eriyingidde wiiki ey'okusatu.
Omu ku bakulembeddemu okwekalakaasa kuno Miria Matembe agamba baagala kulaba nga Mulago addamu okufuna amazzi kubanga ddwaliro ly’abantu bonna kale nga terisaanye kubeera…
Ensonga za loodimeeya Erias Lukwago zikyalimu kigoye wezinge.
Omulamuzi wa kooti enkulu Yasin Nyanzi kati alagidde nti emisango gyonna egigenda mu maaso mu kkooti enkulu giyimirizibwe okutuuka nga kkooti ejulirwaamu ewulidde okujulira kwa ssabawolereza wa gavumenti.
Ekiragiro lino kikozesezza emisango ebiri nga mu gusooka, loodimeeya awakanya ebiri mu alipoota eyasaba nti bamugobe nga n’omulala gwa ssabawolereza ogusaba…
Embwa erina amagulu abiri ekubye obulatti nga bagitutte out muli omu nekimuggwaako.
Embwa eno erabiddwaalp ng’ecacanca nga bweyekuba mu musenyu gw’olubalama lw’enyanja
Embwa eyogerwaako atambulira mu kagaali oluvanyuma lw’okugitema amagulu g’emabega ng’ekyaali nto.
Alipoota efulumiziddwa ekibiina ky’amawanga amagatte eraga nti enkyuukakyuuka mu mbeera y’obudde eyolese okuvaako amataba agajja okwera buli kamu.
Kuno kw’ossa n’okukyuusa mu birimibwa ng’ebimu akadde kagenda kutuuka nga tebikyadda.
Mu ngeri yeemu n’amazzi amayonjo gajja kufuuka ga bbula
Bannasayansi abasisinkanye okukubaganya ebirowoozo ku alipoota eno mu ggwanga lya Japan bagamba nti alipoota eno yeeyakasinga okunyonyola ku nkyuukakyuuka mu…