Bannamateeka b’omusuubuzi Kato kajubi basabye kkooti eyimbule omuntu waabwe
Bano nga bakulembeddwaamu Anthony Wameri bategeezezza nti omulamuzi wa kooti enkulu e Masaka yalemererwa okukwataganya obujulizi obwaleetebwa omusawo w’ekinnansi Umar Kateregga ne mukyala we Mariam Nabukeera ku Kajubi
Kajubi awakanya ekibonerezo ekyamuweebwa n’eky’okusingisibwa omusango.
Yasibwa mayisa lwa kusaddaaka akalenzi ak’emyaka 12 nga kano kaali kamanyiddwa nga Joseph Kasirye.
Kajubi kigambibwa…
Entalo mu kibiina kya NRM tezisaanye kutwaalibwa nga kyakusaaga
Eyali akulira ekibiina kya FDC Dr Kiiza Besigye agamba nti ebigenda mu maaso kyakuyiga eri abali munda mu kibiina.
Kiddiridde muka ssabaminista Amama Mbabazi okuvumirira ekya poliisi okwezza ensonga zonna nga buli kimu ekikwasisa amaanyi
Jacqueilne Mbabazi era yagambye nti Kaihura afudde kyuuma ekikozesebwa okutulugunya abantu n’okubaggulako emisango gy’ekimpatiira
Besigye…
Poliisi e Gaba ekutte omupoliisi eyakubye amasasi mu bantu n’alumya babiri.
Moses balabye yabadde atawuuluza abatunzi b’omusenyu bibiri ababadde balwana era mu kukuba mu bbanga byamuwabyeeko n’akuba omuntu essasi.
Omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano, Idi Bin Ssenkumbi agamba nti eyakubiddwa amasasi ali mu Mulago ate yye kakuba masasi wakuvunaanibwa
Pulezidenti Museveni agamba nti teyejjusa kussa mikono ku tteeka eriwera ebisiyaga
Ng’ayogerera mu kusaba okubadde e kololo, president agambye nti okulya ebisiyaga kikolwa kya kwewussa
Pulezidenti era asabye bannaddiini okukulemberamu olutalo ku bisiyaga kko n’embeera z’abantu
Okusaba kuno kwategekeddwa bannaddiini n’ebibiina by’obwannakyeewa okusiima pulezidenti okussa omukono ku tteeka lino.
Poliisi esabiddwa okukoma okwekwaasa etteeka erifuga enkungaana kubanga terissibwanga mu nkola
Abavuganya nga bakulembeddwaamu owa DP Nobert Mao bagamba nti bakikakasizza nti minisita akola ku nsonga z’omunda mu ggwanga Gen Aronda Nyakairima tassa nga mu nkola tteeka lino.
Mao agamba nti tewaliiwo tteeka likugira nkungaana era nga poliisi ekolera wabweru wa tteeka
Ono abadde ayogera ku kya poliisi…
Obadde okimanyi nti omwenge ogwo gw’onywa buli kawungeezi gusobola okukuleetera kokoolo w’omukamwa
Dr. Edward Mukasa agamba nti bakizudde nti ekisinga okuleeta kokoolo ye kokoolo w’omu kamwa gwe mwenge era ng’abantu bandibadde bagwewala
Dr Mukasa agamba nti omwenge guno ate bwegugattibwaamu sigala gujabagira
Minisitule ekola ku byobulamu mu ggwanga eragidde abatwala ebyobulamu mu disitulikiti zonna okukola ebikwekweto ebikwata abasawo b’amannyo bonna eb’ebicupuli.
Minister omubeezi ow’ebyobulamu Dr Ellioda Tumwesigye agamba nti abantu abakuula amannyo abasinga tebalina bumanyirivu
Ellioda agamba
Ebya loodi meeya Erias Lukwago bikyali bibi,nga tanabugumya na ntebe ye ey’obwaloodi meeya gyazzemu okutulamu olunaku olwaleero, nate azzemu nagobwa mu ofiisi.
Kino kiddiridde kooti ejulirwamu okusazaamu byonna abyasaliddwawo omulamuzi wa kooti enkulu Lydia Mugambe eby’okuzza Lukwago mu ofiisi oluvanyuma lwa ssabawolereza wa gavumenti Peter Nyombi ate okujulira.
Omulamuzi Steven Kavuma alagidde Lukwago okwamuka ofiisi okutuusa nga…
Loodi meeya wa kampala Erias Lukwago aweze obutawolera ggwanga eri abo bonna abamutwalaganya okwagala okumusuuza entebe y’obwa loodi meeya.
Lukwago mu ssanyu eryekitalo era yeebazizza banakampala bonna abayimiridde naye mu kawefube w’okudda mu ofiisi ye.
ono era agamba mwetegefu okukolagana n'omuntu yenna atwala ekibuga mu maaso mu ngeri y'obwenkanya nga tewali alumiziddwa.
Lukwago yali yakoma okulinya mu ofiisi…
Kyadaaki loodi meeya wa Kampala Erias Lukwago ayingidde ofiisi ye wali ku city hall oluvanyuma lw’akabanga nga agobeddwa ba kansala.
Wabula yadde nga poliisi ekedde kuyiibwa okwetolola city hall emmotoka ssatu zikiriziddwa okuyingira city hall okuli eya loodi meeya, omumyukawe Sulaiman Kidandala ne ya banamateekabe.
Wowulirira bino nga bali mu kulongoosa ofiisi ye addemu okulamula ekibuga
Lukwago yali…