Akakiiko k’eby’okulonda kakyasobeddwa ku by’okutegeka okulonda loodimeeya omuggya
Kiddiridde kooti ejulirwaamu okugoba Lukwago yadde nga kooti endala ebadde yakalagira nti adde mu ofiisi
Omwogezi w’akakiiko Jotham Taremwa agamba nti bakusooka kwetegereza byasalibwaawo kkooti olwo balabe ekiddirir
Taremwa agambye nti tebannafuna kutegeezebwa mu butongole nti Lukwago ssi loodimeeya kale nga tebayinza kukolera ku lugambo
Katikiro wa Buganda ategeezea abaganda bonna nga ensimbi zetofaali ezakakunganyizibwa wezikuumidwa mui bwerufu obwekitalo, awatali wadde okukumpanyaako enusu.
Bino Katikiro abyogeredde ku Masiro e Kasubi mukaseera kano gyali nga alambula omulimo gwokuzaawo amasiro wegutuuse .
Katikiro agambye nti buli nusu ebalibwa nga bwezze , era n’ekozesebwa nga bwekyetagissa , kale nga kino kyekisuubirwa mu bakulebeze b’omuleme omutebi…
Gavumenti eteekateeka kuddamu kwetegereza kunonyereza okwakolebwa ku bantu abasoba mu 1000 abattibwa e kanungu
Ng’ennaku z’omwezi 17 omwezi gw’okusatu mu mwaka 2000, omusajja amanyiddwa nga Joseph Kibwetere yateekera abantu omuliro kyokka nga teri alipoota yali efulumye
Minista w’ensonga z’omunda mu ggwanga Gen Aronda Nyakairima ategeezezza nti waaliwo okunonyereza kyokka nga kirabika bitono ebyakuvaamu
Aronda agambye nti gavumenti ejja…
Pikipiki ezisoba mu 100 ziyoleddwa mu kkikwekweto ekikoleddwa mu kibuga olwaleero.
Kiddiridde ekiragiro okuva eri aduumira poliisi mu kampala n’emirinaano Andrew Felx Kawessi nti piki zonna ezitalina bisanyizo zikwatibwe
Aduumira poliisi ye wandegeya, Julius Tusingwire agamba nti ebikwekweto bibadde ku batikka akabindo era nga bino bikolebwa okuokukendeeza obubenje ku nguudo.
Abakozi ba gavumenti kyaddaki basasuddwa
Omuwandiisi w’enkalakkalira mu ministule y’abakozi ba gavumnti Adhah Muwanga y’alangiridde bw’ati n’ategeeza ng’abakozi abawerera ddala 2000 bwebasasuddwa
Ono agambye nti lwaleero werunazibira ng’ensimbi zino ziri ku akawunta z’abakozi
Muwanga wabula agamba nti waliwo abamu ku bakozi abalina ebizibu eby’enjawulo nga bayinza okukerewa mu kyokka nga nabo bajja kuyambibwa
Kino kizze ng’abasomesa n’abasawo bateekateeka kwekalakaasa…
Ababaka ba palamenti okuva ku ludda oluvuganya batabukidde gavumenti ku kubatulugunya ensangi zino
Ssabiiti ewedde poliisi yezooba n’abavuganya e Kasese, ne kabale era nga waliwo ne pulogulaamu ezagyibwa ku mpewo lwakukyaaza gen Mugisha Muntu
ABabaka okubadde Reagan Okumu, Matthias Mpuuga ne Patrick Amuriat beebuzizza lwaki poliisi ebadde eozesa eryaanyi ku bantu abaasaba n’olukusa
Wabula minista omubeezi akola ku…
Okulya ebivavaava n’ebibala buli lunaku kiyamba omuntu okuwangaala
Okunonyereza okuzudde bino kukoleddwa ku bakyala n’abaamu emitwaalo mukaaga n’ekitundu.
Mu ngeri yeemu ebivavava bino bikendeeza obulabe bw’omuntu okufuna kokoolo n’omutima
Abasawo bamalirizza nga basaba abantu okwekubiriza okulya ebibala n’ebivavava
Minisitule ekola ku byobulamu mu ggwanga amaliriza okutegeka ettaka kw’egenda okuzimba amalwaliro omwenda mu kawefube w’okukendeeza omujjuzo mu galiwo
Omwogezi wa minisitule y’ebyobulamu, Rukia Nakamatte agamba nti omulimu guno gwtandika omwaka oguwedde era nga gwakumalawo obukadde bwa doola 59
Nakamatte agamba nti buli kimu bakikwasizza ba contulakita era nga buli kimu kiri mulaala
Amalwaliro omwenda agagenda okuzimbibwa gali…
Loodimeeya Erias Lukwago essuubi alitadde mu kkooti eyokuntikko.
Ono amaze okussaayo okujulira mu kkooti eno ng’ayagala esazeemu ebyasaliddwaawo okumujja mu ofiisi.
Ayaagala n’ekiragiro ekimuwa ebbeetu okuddamu okukola emirimu gy’obwa meeya
Mu ngeri yeemu era Loodimeeya ayagala akiragiro ekikoma ku kakiiko akalondesa okutegeka okulonda loodimeeya omuggya ng’akyaliwo
Kkooti eno akadde konna yakussaawo olunaku kw’enawulira okujulira kwe
Bbyo ebyokwerinda bikaligiddwa ku kitebe…
Ababaka aabamu beekandazze nebafuluma akakiiko akakola ku byokwerinda mu palamenti
Kiddiridde akulira akakiiko kano Bena Namugwaanya okusuula ettayo eby’okuteesa ku by’okutulugunya abavuganya.
Ababaka baabaadde bagaala minisita akola ku nsonga z’omunda mu ggwanga alabiseeko mu kakiiko kano okunyonyola lwaki poliisi etulugunya abavuganya
Wabula omubaka Namugwanya agambye nti kino tekibadde ku lukalala lw’ebiteesebwaako kale nga babadde bakubyogerako
Ababaka abekandazze kuliko Muwanga…