Poliisi egenda kutandikawo ekifa awanalundibwa embwa enkonzi z’olusu omwezi ogujja
Mu kadde kano,embwa enkozi zigyibwa mu mawanga ga bulaaya ng’eno y’ensonga lwaki ssi buli poliisi nti ezirina
Aduumira ekiwayi kya poliisi eky’embwa , Dr martin Mugumya agamba nti ekifo kino ekibalirirwaamu akawumbi kalamba kyakuzimbibwa Naggalama
N’olwaleero luzibye nga kkooti tessizzaawo lunaku kw’enawulirira okujulira kwa loodimeeya Erias Lukwago
Lukwago ne bannamateeka be basiibye bagumbye ku kkooti y’okuntikko nga bagaala okujulirwa kwaabwe kuwulirwe
Ono yajulira oluvanyuma lwa kkooti ejulirwaamu okusazaamu ekiragiro ekizza Lukwago mu ofiisi gyeyali yakamalamu essaawa ttaano zokka
Ng’ali wamu n’omumyuka we Sulaiman Kidandala kko ne kansala Allan Sewanyana, Lukwago agambye nti tajja…
Gavumenti ewanise ku nsonga ze Kanungu
Minisita akola ku byobukuumi Muruuli MUkasa agambye nti bafunye okunonyereza ku nsonga z’omusajja Joseph Kibwetere eyatta abantu naye nga kirabika bigaanye
Ng’alabiseeko mu kakiiko ka palamenti akakola ku by’okwerinda, Muruuli agambye nti ensonga zino zatuuka n’okuyingizibwaamu abakessi okuva emitala w’amayanja okuyigga kibwetereera kyokka nga tewali kirabikako
Olunaku lwajjo minister akola ku nsonga…
Ab’ekibiina kya UPC baazeewo okusimba emabega wa Brenda Nabukenya mu kulonda omubaka omukyala owe Luweero.
Kiddiridde kooti ejulirwaamu okugoba Nabukenya n’erangirira nti wabeewo okuddamu okulonda
Amyuka akulira ekibiina kya UPC Joseph Bbosa agamba nti munna DP Brenda Nabukenya munyeevu kale nga bagaala kwongera kumunyweeza sso ssi kumunafuya
Nabukenya yali yawangula owa NRM Rebecca Nalwanga
Abantu bangi balina byebayoya nebikusobera
Mu ggwanga lya Buyindi waliyo omusjja atawoomeddwa kulya bulooka bitooke byebigwa
Omusajja ono agamba nti kino yatandika okukikola wa wa myaka 10 era nga bw’omuwa enkoko n’ettafaali akulekera enkoko yo.
Ono buli lunaku alya ettafaali limu
Eky’abakyala obutayagala kukula kirabika kiva buto.
Mu ggwanga lya Bungereza, Nalongo asese enseko kata afe oluvanyuma lwa muwala we omu ku balongo okukaaba ng’awulidde nti awezezza emyaka ena.
Omulenzi yye alabise nga tafaayo naye akawala kano kagambye maama waako nti okukuza amazaalibwa kitegeeza kukaddiwa ate nga kko tekakyagala
Kano okukasanyusa bamaze kukagulira bwa kumatu nekasekamu
Kati ndowoozo mutegedde gyekiva
Kkampuni ezisoba mu 30 eza betingi zikola mu bumenyi bw’amateeka
Muno mwemuli eya International sports betting, Bingo, Bet sports, Global sporting n’endala.
Ssentebe w’akakiiko akakola ku kkampuni zino Manzi Tumuboine agamba nti kkampuni 18 zokka zeezirina olukusa okukola
Tumuboine agamba nti abakolagana ne kkampuni zino tebakaaba nga babbiddwa kubanga kkampuni ezoogerwaako tezisobola na kuwaabwa
Ono agamba nti ezisinga ziri…
Kyadaaki aduumira poliisi Gen Kale Kihura avuddemu omwaasi ku bigambo ebyogerwa muka ssabaminisita Jacqueline Mbabazi.
Mbabazi nga y’akulira akabondo k’abakyala ba NRM agamba nti gen Kaihura akozesezza nnyo ofiisi ye okutulugunya abavuganya ng’abassaako agasanga n’okukozesa eryaanyi ku beekalakaasa
Wabula ng’alabiseeko mu kakiiko ka palamenti akakola ku by’okwerinda, Kaihura agambye nti yye aba akola mulimu gwe era nga…
Kyaddaaki minister akola ku nsonga z’omunda mu gwanga GenAronda Nyakayirima akirizza okusisinkanamu ab’oludda oluvuganya gavumenti bawayeemu ku kya police okubatulugunyanga.
Ssenkagale w’ekibiina kya UPC Olara Otunnu agamba basuubira ensisinkano eno okumalawo okusika omugwa wakati wa poliisi n’aboludda oluvuganya gavumenti nadala nga bakubye enkungaana.
Ab’oludda oluvuganya gavumenti bazze bemulugunya ku basirikale ba poliisi okubakugira okukuba enkungaana zaabwe.
Mungeri yeemu…
Ekibiina ky’ensi yonna ekikola ku byobulamu mu nsi yonna kigamba nti obulwadde bwa Ebola obukijjanya abe Guinea buli mu bifo bitono
Omwogezi w’ekibiia kino Gregory Hart agamba nti obulwadde buno tebunnatuuka kweralikiriza
Wabula ate bbo abali mu ggwanga lya Guinea bagamba nti obulwadde buno bubawadde obuzibu okulwanyisa kubanga budukira ku misinde gya yiriyiri Abantu 83 beebakafa obulwadde…