Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Abafiirwa omwana balemedde ku nsonga

Kooti ettadewo olunaku lwa nga 7 ogwokuna okuwulirirako omusango ogukwata ku mwana eyabikibwa nti afudde kyokka nga mulamu Omwana ayogerwaako yali wa Anthony Mutyaba ne Justine Nassimbwa abawaaba eddwaliro lya case hospital nga bagaala kuliyirirwa olw’omwana waabwe eyafa Kigambibwa okuba Nassimbwa yalumwa olubuto nga wa myezi mukaaga era olwagenda mu ddwaliro abasawo nebamugamba nti omwana yali atuuse…

Read More

UMEME egende-palamenti

Ababaka mu Lukiiko olukulu olw’eggwanga bakkiriziganyizza nti endagaano eyakolebwa gavumenti ne UMEME esazibweemu Akakiiko akabadde kanonyereza ku ndagaano eno keekakola alipoota ewagira nti Umeme ebintu bigiremye ate nga ne kontulakita yenyini yagifuna mu mankweetu Mu kukubaganya ebirowoozo okubadde okw’ebbugumu, mubaka ku mubaka bonna bategeezezza nti ng’ogyeeko ebya kontulakita n’empeereza ya UMEME sinnungi ng’ebbeeyi y’amsanyalaze eri waggulu Twogeddeko n’abantu…

Read More

Temuzzaamu bayizi bibiina

Minisitule ekola ku by’enjigiriza mu ggwanga eragidde abakulembeze b’amasomero okukoma okukaka abayizi okudda mu bibiina Minisita w’ebyenjigiriza, Jessica Alupo agamba nti kino kyekisinze okukyayisa abaana ebitabo nga n’abasinga batuuka n’okudduka ewaka Alupo agamba nti abayizi beetaga nebaba nga bayita buyisi olwo lwebafuna amaanyi agasigala nga basoma. Yye omuwandiisi w’ekitongole eky’ebigezo, Mathew Bukenya agamba nti ekivaako abayizi okugwa ebigezo…

Read More

Kyadaaki aadi y’abaana e Mulago efunye amazzi

Kyadaaki waadi y’abaana eya Mwana mugimu mu ddwaliro ekkulu e Mulago efunye ku mazzi oluvanyuma lwembiro okubalukawo mu baana abajirimu. Omu ku basawo mu waadi eno Hanifa Namusoke ategezezza nti kati bali ku ssuubi embeera yanditerera olw’ekimmotoka kya mazzi okuletebwa . Kino wekijidde nga minister w’ebyobulamu yakalambula eddwaliro lino olunaku olwaleero era nasuubiza nga gavumenti bwekola ekisoboka…

Read More

Ebya S.6 bifulumye- abayizi bakoze bulungi- ebigezo 34 bikwatiddwa

Ebigezo bya siniya y’omukaaga bifulumiziddwa Abayizi ku luno baakoze bulungi okusinga luli.Abayizi ebitundu 97 ku kikumi baayise ebigezo Amasomo ga History ,Economics, Entreprenuership, ne CRE geegasinze okukolebwa obulungi. Abagezo by'abayizi 34 bikwatiddwa Abayizi 289,012 beebatuula ebigezo bino okwawawukanako n’abayizi emitwaalo 262,987 mu mwaka gwa 2012. Kitegeeza nti waaliwo okweyongera kwa bayizi enkumi bbiri mu abiri mu bataano abatuula ebigezo. Abayizi abawala…

Read More

Omubaka Brenda Nabukenya agobeddwa mu palamenti

Omubaka omukyala owe Luwero Brenda Nabukenya agobeddwa mu palamenti Kiddiridde kooti ejulirwaamu okukkiriziganya ne kkooti enkulu nti okulonda okwamutuusa mu palamenti tekwaali kwa mazima na bwenkanya. Abalamuzi abasatu abakooti ejulirwaamu nga bakulembeddwamu Stephen Kavuma beebasomye ensalawo ya kooti Bano bagmbye nti enjawulo y'obululu 30 Nabukenya bweyasinga ku wa NRM Rebeca Nalwanga ntono nnyo era bwebatyo nebalangirira nti okulonda  kuddibweemu  

Read More

Abazadde basobola okusala amasavu

Abasawo mu ggwanga lya Canada bagamba nti abakyala nga bamaze okuzaala batandika okukogga ng’abaana bawezezza emyezi esatu era nga kino kikoma ku mwaka gumu Abakyala abalemererwa okukoggera mu bbanga lino  oba abamu nebagejja baba bassa obulamu bwaabwe mu matigga Abakyala bano batera okufuna puleesa ate abalala mitima ne sukaali Abasawo era bagamba nti ssinga omukyala tasala bunene mu…

Read More

Baweze okulya obuwundo

Eggwanga lya Guinea liweze ey’okulya obuwundo mu kawefube w’okulwanyisa obulwadde bwa Ebola. Mu ggwanga lya Guinea obuwundo yakulya kya ttunzi kyokka nga kyakakasiddwa nti bwebavuddeko ekirwadde kya Ebola Abantu 62 beebakafa obulwadde buno obulabiddwaako ne mu ggwanga lya Liberia ne Sierra Leone. Obulwadde bwa Ebola obutaliiko ddagala oba okugemwa butera kuva ku bisolo

Read More

Lwaki musalako Mulago amazzi-babaka

Abali mu mulimi gw’okulwanirira ebyobulamu ebirungi eri bannayuganda bakwemulugunya mu palamenti nga bagaala eyingira mu mbeera mu ddwaliro ekkulu e Mulago Ssabbiiti ewedde, eddwaliro lino lyasalwaako amazzi olw’ebbanja kya buwumbi 6 Bannakyeewa bano nga bayita mu kibiina kyaabwe ekya Voices for health bagamba nti embeera mu ddwaliro e Mulago eyongera kweralikiriza era nga yabulabe eri abalwadde abaliyo Abamu…

Read More

Ebbago ku Mukenenya-obuwaayiro obumu busuuliddwa

Ababaka ba palamenti abatuula ku kakiiko akakola ku nsonga za mukenenya bakkiriziganyizza okusazaaamu akawayiiro mu bbago ly’etteeka ku mukenenya akakifuula eky’obuwaze abasawo okwatuula abantu abalina obulwadde bwa mukenenya Akawayiiro namba 23 mu bbago lino kabadde kawa dokita olukusa okwatuula omuntu gwebakebedde n’aasangibwa n’akawuka ka mukenenya kasita azuula nti omuntu oyo ayinza okutambuza obulwadde. Akawayiiro akalala aka 21…

Read More