Ssabaminista w’eggwanga lya Malaysia alangiridde nti enyonyi eyabula ennaku kumi na nnya emabega yagwa mu liyanja lya Buyindi.
Najib Razak agamba nti bazze bagoberera byebakutte nga bakozesa tekinologiya ow’ekikugu
Obubaka buno bumaze okusindikibwa eri ab’enganda z’abantu 239 ababadde balinze ebinaava mu muyiggo
Ab’omukutu gwa BBC balaye ku bubaka obusindikiddwa ab’enganda nga bulaga nti tewali kubuusabuusa enyonyi yasaaawo n’egwa…
Gavumenti esabiddwa okusooka okukola ku nfuna ya bannamawulire nga tennaba kulowooza kubasokoolamu nsimbi
Gavumenti eyagala bannamawulire basasule emitwalo abiri okufuna ebbaluwa ezibakkiriza okukola ate buli mwaka basasule nga emitwalo 10
Kino akulira ekibiina ekirwanirira eddembe lya bannamauwlire Robert Ssempala ky’ayise gavumenti okukungula by’etalimye
Onmo agamba nti bannamawulire abasinga bafuna emitwalo15 buli mwezi kale nga tosobola kubabinika musolo munene…
Abalina okussa mu nkola etteeka ku bukubagano mu maka bibasobedde
Kino kivudde ku nsonga nti gavumenti teyassaawo nsimbi zakussa mu nkola tteeka lino yadde lyayita
Ebibiina ebirwanirira eddembe lya bakyala wanow ebisinzidde bebisaba gavumenti okussaawo ensimbi ezinayamba okussa mu nkola etteeka bweriba nga lyakuvaamu akalamu
Omu ku bakungu mu kibiina kya CEDOVIP nga kino kirwanyisa bukubagano mu maka…
Abasuubuzi mu katale ke Wandegeya basabye aba KCCA okubongerea ku kadde nga tebawa musolo kubanga ba kasitoma bababuze
Abasuubuzi bano balina okutandika okusasula ez’obupangisa nga 24 omwezi ogujja kyokka nga bangi bagamba nti bigaanye
Abasuubuzi bano basasula wakati w’emitwalo 4 ne 25 buli mwezi
Poliisi e Mukono ekutte omusumba w’abalokole agambibwa okunyaga endiga ze.
Omusumba Yasini Tarwemwa Mbuya nga nga bamuyita mutume kuva mu kkanisa ya Deliverance Power Centre International Church akwatiddwa olwaleero nga kigambibwa nti alina abantu beyasubiza emirimu kyokka n’atagibawa
Omu ku bamulumiriza ategerekeseeko lya Rose ng’agamba nti yawaayo emitwalo 2 nga bamusuubizza okufuna emitwalo 30 buli omu
Ono nno…
Omuwendo gw’abantu abakanyululwa mu Nyanja ya Albert gutuuse ku107.
Aduumira poliisi y’oku mazzi, James Pola agamba nti abantu bonna abanyuluddwa olwaleero babadde bafu era ng’essuubi ly’okujjayo abalamu liweddewo
Ono agamba nti bagenda kukoma leero omuyiggo gwaabwe gugenda kukoma akadde konna.
Eyabadde avuga eryaato lino yakwatiddwa era ng’okunonyereza kugenda mu maaso.
Abasinga akabenje bakatadde ku kabindo
Ababadde ku lyaato lino babadde…
Munnabyabusuubuzi Charles Muhangi akwatiddwa
Ono akwatiddwa bw’abadde agezaako okwezza paaka ya baasi eya qualicel bus terminal
Paaka eno gyebuvuddeko yaddizibwa omugagga Drake Lubega ku biragiro bya ssabawolereza wa gavumenti
Wabula muhangi olwaleero aleese ekiragiro okuva mu kooti nga kiraga nti yennanyini paaka kyokk anga poliisi temukkirizza kugenda mu maaso n’emuyoola
Kikakasiddwa nti abakyala abakujjukujju bazaala abaana abakujjukkujju
Okunonyereza kuno kukoleddwa ku ba maama 500
Abakyala abatunuuliddwa bekenyezeddwa n’abaana baabwe okumala emyaka ena
Abanonyereza bamaze nga basaba nti omuntu yenna ayagala okulongoosa embeera z’abaana yanditandikidde ku ba maama
Nga Buganda ekyagenda mu maaso n’okusonda ensimbi ez’okulwanyisa ekikulukuto mu bakyala, olwaleero aba kkampuni ya Airtel awaddeyo obukadde 100 okuyambako.
Minisita wa Buganda akola ku nsonga z’abavubuk an’emizannyo, Herny Sekabembe Kiberu agambye nti ensimbi zino zigenda kuyambako okutuuka mu bakyala abalumizibwa nga n’abasinga baboolebwa
Ono agamba nti keekadde buli omu aveeyo ku bannakazadde b’eggwanga abayita mu bulumi…
Eddwaliro lye Mulago liwakanyizza ebigambibwa nti tewaliiwo mukka gwa Oxygen
Kiddiridde ebyafulumizibwa nga biraga nti abalwadde mukaaga abaali ku Oxygen beebafa oluvanyuma lw’omukkaga guno okuggwaawo
Omwogezi w’edwaliro lino Enoch Kusaasira agamba eddwaliro lino lyelikola omukka guno kale nga tegusobola kuggwawo
Eddwaliro lino nno olwaleero lifunye ebitanda, emifaliso n’amasuuka era nga bano basuubira okutandika okuwa abalwadde amasuuka mu kawefube…