Minisitule ekola ku byobulamu mu ggwanga yenyamidde olw’omuwendo gw’abantu abalina obulwadde bwa mukenenya abalina akafuba
Okusinziira ku minisitule no, buli balwadde b’akafuba 10 , bataano oba musanvu baba balina ne siriimu
Omwogezi wa minisitule y’ebyobulamu Rukia Nakamatte agamba nti abalwadde abasinga batuuka mu malwaliro nga buyise kale nga kitono eky’okuzza
Nakamatte kyokka agamba nti tebatudde nga bakola kyonna…
Emirambo gy’abantu abasoba mu 70 kwabo abagudde mu Nyanja Albert gyegyakanyululya .
Bano banyuluddwa poliisi yoku mazzi nga eyambibwako abazinya mooto.
Ensasagge eno yagudewo lunaku olwomukaaga wiiki ewedde oluvanyuma lw’eryato okwabadde abantu abasoba mu 200 nga okusinga bakongo abanonyi b’obubudamu okwebika mu mazi wali e Ndaiga nga baabadde boolekera district ye Ntoroko.
Joseph Mugisa yakulira ekitongole kya poliisi…
Kooti mu ggwanga lya Misiri eriko abaali abawagizi b'eyali omukulembeze Mohammed Mursi b'esalidde ogw'okufa
Bano basingisiddwa misango gyakutta mupoliisi n'okwonoona ebintu bya bantu
Bano bonna bamemba b'ekibiina kya Muslim Brotherhood era nga bano beebamu ku basoba mu 1200 abavunaanibwa emisango egyenjawulo.
Abakulembeze abali mu ntebe beefunyiridde okusirisa abawagizi ba Morsi nga bangi battiddwa n'okukwatibwa.
Abamu ku bawanikiddwa ku kalabba…
Ssenkagale wa poliisi mu ggangwa Gen Kale Kayihura asekeredde abamunenya okuteeka enkola ya kinamaggye mu poliisi nategeeza nga bwekyokugenda maaso kasita wabaawo obwetaavu bwakyo.
Kayihura agamba nti eteeeka lya poliisi lirambika bulungi nti tewali mutawaana poliisi kukozesa nkola ya kimamaggyee kasita wabaawo obwetavu.
Bino yabyogeredde mu disitulikiti ye Katakwi bweyabadde omugenyi omukulu mu kufulumya abasirikale ba poliisi abatendekeddwa mu…
Eyali ssenkagale w’ekibiina kya FDC Dr.Kiiza Besigye ategezezza nga okwongezaayo entula za palamenti okutaggwa bwekulanga endoolito wakati w’olukiiko lwa gavumenti n’essiga eddamuzi.
Entuula za palamenti eziwerako zongezeddwayo enfunda eziwera lwantuula z’ababaka ab;ekibiina kya NRM ezenjawulo ezitegekeddwa mu maka g'omukulembeze w’eggwanga Entebe.
Besigye agamba agamba palamenti erina okwetengerera nga kyakuvaako enffuga bbi mu ggwanga.
Besigye era agamba kikyaamu okuyimiriza…
Okunonyereza kulaze nga Bannayuganda abasoba mu 6000 bwebakwatibwa ekirwadde ky’akafuba buli mwaka.
Kino kibikuddwa minisitule y’eby’obulamu nga eggwanga ly’etegekera okukuza olunaku lw’abalwadde b’akafuba.
Omwogezi wa ministry eno Rukia Nakamatte agamba singa tekikoleddwako mangu, bangi bakomekereza bakisiize abalala.
Ebikujjuko by’omwaka guno byakukuzibwa mu district ye Iganga okwongera okubulirira abantu akabi akali mu kirwadde kino kubanga kitta bannayuganda nga 4000…
Abakulira eddwaliro ekkulu erye Mulago n’abakungu b’ekitongole kya mazzi bakusisinkana olunaku olwaleero okuteesa ku kumalawo ebbula ly’amazzi mu ddwaliro lino oluvanyuma lw’okusalwako wiiki namba olw’ebbanja.
Omwogezi w’eddwaliro lino Enoch Kusasira agamba nti bakufuba okulaba nga batuuka ku nzikirizigana okutaasa ku mbeera.
Wiiki ewedde abakulira eddwaliro lino baalajana olwa waadi ezisinga obutabaana mazzi nga batya nti cholera yandibalukawo.
Jonas Kansiime eyabadde avuga motoka yekika kya Subaru Impreza 10 yawangudde empaka za Source of the Nile race ezakomekerezebwa e Jinja.
Ronald Sebuguzi yakute kyakubiri ate ye Irene Leira Blick omukyaala eyetabye mumpaka zino namaliri mukifo ekyokuna.
Abavuzi 15 ku 26 bebasobodde okumalako empaka zino olunaku lweggulo.
Leon Matovu y'awangudde empaka z'obugaali eza Memorial Race,nga zino zezaguddewo calendar y'omwaka guno olunaku lw'eggulo.
Matovu okuwangula yavugidde essaawa 3 neddakiika 24 okuva e’Lugogo nga bwebetoloola ebitundu ebirinanyeewo.
Abavuzi 17 ku 53 abetabye mumpaka zino kuludda olwabasajja bebasobodde okumalako empaka zino.
Ate mubakyala,Ayebale Marion owa Kampala Cycling club yeyaziwangudde.
Okusinziira kumuwanddisi wekibiina kyobugali mugwanga,Esther Muwonge ategezezza nga empaka zino…
Eryaato eribadde lukubyeeko aba Congo ababadde badda ewaabwe libbidde.
Abantu 20 beebakanyulwaayo nga bafu, nga ku bano abaana bataano ,28 babasanze bakyaali balamu. Omuyiggo gukyagenda mu maaso.
Omubaka omukyala owe Ntoroko, Jennifer Mujungu akakasizza bino n'ategeeza ng'abantu bano beebamu kw'abo abajja mu Uganda nga babundabunda nga kati babadde badda waabwe.
Mujungu agamba nti eryaato libadde litisse akabindo
Eryaato lino…