Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Ttiyagaasi e Mbale

Omukka ogubalagala gugyiddwaayo okusattulula abali ku ludda oluvuganya ababadde bakubye olukungaana e Mbale Olukungaana luno lubadde lutegekeddwa nga bano bali wamu n'ebibiina by'obwa nakyeewa Ekibinja kino kibadde kisomesa bantu ku nteekateeka z'okulongoosa mu mateeka g'eby'okulonda okusobola okufuna okulonda okwa mazima mu mwaka 2016 Wabula poliisi esitukiddemu n'ebafumuula nomukka ogubalagala ng'ebalanga kutegeka lukungaaana lumenya mateeka Twogedeko n’omubaka eyategese olukiiko luno…

Read More

bannamateeka bubefuse

Ssabawolereza wa government azeemu okukikatiriza nga Lukwago by’atakyali lord mayor ow’ekibuga Kampala. Bwabadde awayo okwewozako kwe mu maaso g’omulamuzi Lydia Mugambe ssabawolereza wa government agambye nti ebbaluwa okuva mu kooti eyimiriza okugoba Lukwago yaletebwa kikerezi. Ngayitta mu Martin Mwambusha, ssabawolereza agambye nti n’ebbawula eno teyaliko Mukono gw’omuwandiisi wa kooti ate nga terina na seal. Mu kusooka abanamateeka ba…

Read More

Cholera Yandibalukawo mu Ddwaliro ly’e Mulago

    Embeera eri mu ddwaliro ekkulu e Mulago eyungula amaziga. Kino kidiridde ekitongole ky’amazzi okusalako amazzi mu ddwaliro lino, oluvanyuma lw’okulemelerwa okusasula amazzi gebakozesa. Kati  abakulira eddwaliro lye Mulago bali mu kutya nti eddwadde omuli cholera n’ekiddukano zandibalukawo mu ddwaliro lino. Omwogezi w’eddwaliro Enock Kusasira agambye nti ward, ebiyigo wamu nezikabuyonjo tebirina mazzi gakukozesa. Ekitongole kya National Water and Sewerage…

Read More

RDC Kyeyune alabuddwa

  Abakiise mu lukiiko lwa Wakiso Town Council, bulabudde RDC we Wakiso Eng Ian Kyeyune okukwata obulungi ebintu president bye yamusindikamu naddala amateeka agayimirizaawo enkola y’emirimu mu gavumenti. Okutuuka kubino babade balondoola ebyabadewo olunaku olw’egulo  abasubuzi b’omu kibuga Wakiso bwebasazeewo okwekalakaasa olwa district okubasaba omusolo gw’amayumba.  Kyoka RDC Ian Kyeyune bweyatuuse mu kibuga nalagira abasuubuzi okusumulula zi siilu…

Read More

Abafumbo Bookezza Muwala Wabwe mu Mbugo-Bamulanga Bwenzi

Poliisi mu district ye Mayuge ekutte abafumbo abookezza muwala wabwe mu mbugo nga bamulumiriza okusussa obwenzi. Peter olwyema 40 ne ukyalawe veronica Adupo 30 bonna nga batuuze ku kyalo Nakalanga . Sam opira nga y’adumira poliisi ye Mayuge agamba abazadde bano  bagyewo ekisiki nebakisonseka mu mbugo za muwala waabwe bamugeme obwenzi. Abazadde bano bagamba baludde nga balabula muwala…

Read More

Ensimbi z’obwegassi bazirya

Enteekateeka ya gavumenti ey’okuwola ebibiina by’obwegassi ensimbi efunye ekkonde. Obuwumbi bubiri bwebwakabwebwenebwa ebibiina by’obwegassi naye nga tebisasula Ebisinga ababikulembera bwebamala okuuna ensimbi nga badinga abantu okubegattako era bwebamala okubajjamu ensimbi nga babula E Luweero yonna, abasuubuzi abawerera ddala 50 beebabbibwa ekibiina ekimanyiddwa nga Foster Families Omukungu mu kitebe ekiddukanya ensawo esakiririra ebibiina bino, Rosette Nakanwagi  agamba nti obuzibu bwonna…

Read More

Ababaka ba palamenti neera tebatudde

Palamenti ezzeemu okwongezebwaayo. Ababaka babadde balina okutuula olwaleero kyokk anga tekisobose nga kati bakutuula ku lw’okubiri lwa ssabiiti ejja. Ababaka bano bamaze akaseera nga tebatuula olw’aba NRM bulijjo abataliiwo era nga babadde balina kuddamu leero Omwogezi wa palamenti Hellen Kaweesa agambye ab’akakiiko akakola ku bbago ly’etteeka ku byenfuna beebasabye obudde bamalirize nabo kwekukkiriza Ono wabula akakasizza nti awatali kubuusabuusa…

Read More

Sijja kusabiriza- Gilbert Bukenya

Eyaliko amyuka omukulembeze weggwanga Gilbert Balibaseka Bukenya agambye nti kikafuuwe okusabiriza gavumenti akasiimo ke. Olunaku lwajjo ababaka abatuula ku kakiiko akakola ku nsonga z’omukulembeze w’eggwanga kemulugunyizza ku ngeri Bukenya gy;’ayisibwaamu nga taweebwa kasiimo ke nga bwekirina okuba Ng’ayogerako eri bannamawulire ku palamenti, Bukenya agambye nti amanyi ebirina okumuweebwa kyokka tajja kufukamirira muntu yenna. Bukenya agamba nti musanyufu neky’alinawo…

Read More

Abaana abassa enyo nga bali mu mbuto tebatera kukula

Abanonyereza bazudde nti kisoboka okutegeera nti omukyala wakuzaala omwana nga tannaba kwetuuka Abasawo bagamba nti omwana yenna bw’aba assa nnyo ng’ali mu lubuto , taba bulungi era nga tasobola kunywerera munda Mu ngeri yeemu era abaana abassa ennyo nga bali mu mbuto batera okubeera n’obuzibu ku mawuggwe gaabwe. Abasawo bagamba nti ebizuuliddwa ab’essomero kya King's College London byakubayamba…

Read More

Akalwaliro omwafiiridde omukyala kakyaamu

Ebipya byongedde okuzuulwa ku kalwaliro akafiiriddemu omukyala agambibwa okuba nga yabadde ajjamu olubuto. Kigambibwa okuba ntia kalwaliro kano kabadde kakola mu bukyaamu Omu ku bakulembeze babasawo Dr magaret Mungherera agamba agaba nti akalwaliro kanao tekabadde na bumanyirivu mu kulongoosa. Ono agamba nti ssinga ab’oluganda lw’omukyala bawaaba , bakutandikira awo okunonyereza Ku lunaku lw’okubiri, Dr Henry Kagoda yakwatibwa oluvanyuma lw’omukyala…

Read More