Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Eyakubwa amasasi awaabye

Omukazi agambiba okukubwa amasasi poliisi mu 2002 akubye gavumenti mu mbuga z’amateeka nga ayagala aliyirirwe obyukadde 50. Rebecca Kajaaka Adyeri agamba nti nga  14th June 2002, bwyali mu wooteri ke wali ku  Luwum Street, abasirikale ba poliisi abaali bagoba ababbi bamukuba amasasi mu butanwa. Omukyaala ono mu mpaaba ye eri kooti enkulu yategeezezza nga bweyali mu koma…

Read More

Abe wa Kisekka

Abamu ku basuubuzi bomu katale kewakisekka bawakanyizza ekirowoozo ky’okumenya akatale kaabwe omulundi gumu nga kagenda okukulakulanyizibwa. Nga bakulembeddwamu Hasad Bukenya bagamba nti singa abasuubuzi basangulwa omulundi gumu bandifuna ebizibu nga abasuubuzi b'omukatale ke wandegeya byebafuna nga era batya nti munamaggye Col John Mugyeyi yandikozesa akakisa kano okweddiza ettaka lino olw'enkayana zebazze babeera naye. Bbo abakulembeze b’akatale kano…

Read More

Lwaki Bukenya tafuna kasiimo-palamenti

Ababaka abatuula ku kakiiko ka palamenti akakola ku nsonga z’obwapresidenti batadde minisitule y’ensonga z’obwapulezidenti enyonyole lwaaki n’okutuusa kati eyali omumyuuka w’omukulembeze w’eggwanga Gilbert Baalibaseka Bukenya tanafuna kasiimo ke nga eyali omukiozi wa gavumenti. Omwaka oguwudde Bukenya yekubira enduulu nga bukyamga asuulibwa ku bw’omumyuuka womukulembeze w’eggwanga bwataafuna yadde akasiimo konna nga amateeka bwegalaigira. Omubaka wa Aruu County, Odonga…

Read More

Temunywa juyisi mupakire

Abanywa juyisi omupakire mu bipappula n'obucupa bassa obulamu bwaabwe mu matigga. Abakugu mu byobulamu bagamba nti yadde juyisi wa mugaso eri obulamu, juyisi owa bulijjo yasinga buli kimu. Dr. William Lumu nga ye ssentebe w’ekibiina ekirwanyisa sukaali agamba nti juyisi omupakire abaamu sukaali mungi era ng'abantu tebasaanye kumwesembereza. Awadde abantu amagezi kunywa juyisi omukamule okuva mu bibala era…

Read More

Olukiiko lugudde butaka- Loodimeeya ayimbuddwa

Olukungaana olubadde lutegekeddwa abavuganya gavumenti wansi w’ekisinde kya 4GC lugudde butaka Kiddiridde poliisi okubesooka n’eyiwa basajja baayo ku kifo awabadde walina okubeera olukiiko luno e Katwe ne mu maka g’abakulembeze b’abavuganya Omubaka we Rubaga mu bukiikakkono Moses Kasibante agambye nti babadde tebasobola kugenda mu maaso na lukungaana oluvanyuma lw’okukwatibwa kwa loodimeeya. Yyo poliisi amaze okuyimbula loodimeeya akwatiddwa emisana…

Read More

Ab’amafuta basanyukidde obukuumi bwa poliisi

Kkampuni z’amafuta mu ggwanga zaanirizza ekya poliisi okubawa obukuumi. Olunaku lwajjo poliisi yategeezezza nga bw’egenda okwongera obukuumi eri abatambuza amafuta mu tanka oluvanyuma lw’abatujju okuddamu okuwera okulumba Uganda. Akulira kkampuni ya VIVO Energy Uganda Hans Paulsen agamba nti nabo batandikiddewo okwongera ku bukuumi okuziyiza ennumba zonna. Hansen era agamba nti n’omuwendo gwa tanka zamafuta agayingira eggwanga gukendedde naddala…

Read More

Ogw’omusawo guzzeemu

Okuwulira omusango gw’omusawo agambibwa okufumita omwana empiso n’ekigendererwa ky’’okumusiiga mukenenya kuzzeemu olunaku lwaleero. Dr. Richard Sekitoleko nga musawo mu ddwaliro e Mulago agamba nti Namubiru yandiba nga yakikola agenderedde. Ono agamba nti ssinga Namubiru yali tagenderedde ,yandibadde anaaza omwana ono mangumangu n’alagira ne bakadde be okumussa ku ddagala ly’ebigwabitalaze. Rose Mary Namubiru ng amusaow mutendeke kigambibwa nti yafumita…

Read More

Aba Taxi bakaaba misolo

Abagoba ba taxi mu paaka ya Namayiba basabye KCCA ebaayambe ku basajja baayo ababatulugunya Abagoba bano bagamba nti nnnayini paaka eno Bosco Muwonge abajjako enkumi bbiri buli lunaku okusimba mu paaka eno ate ngaa basasula n’omusolo gwa KCCA. Bano era bagamba nti kuno kw’ossa n’ekya basajja ba TAPSCO okubakwata mu ngeri etali nnungamu KCCA yasalawo taxi ezimu zidde…

Read More

Zuma mubbi- balwanyisa enguzi

Omukulembeze w’eggwanga lya South Africa alumbiddwa lwakuzimba maka agakirako olubiri  nga bangi bagamba nti akozesezza nsimbi za muwi wa musolo Omu ku bakyala abamanyiddwa ennyo olwokulwanyisa enguzi mu ggwanga lino Thuli Madonsel agambye nti amaka ga Zuma agobwannanyini okuli ekidiba ekiwugirwaamu ne faamu byamazeewo obukadde bwa doola 23 ez’omuwi w’omusolo. Ono agamba nti Zuma ky’akola kikyaamu okunyunyunta…

Read More

Embwa etaasizza mukama waayo

Buli kintu kirina omugaso mu nsi eno. Omukyala abadde anuuna swiiti n’amutuga embwa ye y’emutaasizza Rachel Hayes ow’emyaka 40 ng’amaze okumira swiiti atandise okwegoga era embwa ye mu kumutaasa emufumise enjala mu mugongo n’asesema swiiti ono. Omukyala ono agambye nti ayongedde okwagaala embwa ye kubanga emutaasizza  

Read More