Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Lukwago akwatiddwa

Loodimeeya w'ekibuga Erias Lukwago akwatiddwa Ono akwatiddwa nga yakafuluma mu maka ge okwolekera e Katwe gy'abadde agenda okwetaba mu lukungaana lweyayise okutegeeza bannakampala ku kabi akali mu kulonda loodimeeya omuggya. Lukwago yabadde yaweze dda nti k'abe lubaale oba katonda abadde wakwetaba ku lukiiko luno. Poliisi ng'ekulembeddwaamu akulira ebikwekweto Samuel Omala evuzinzeeko era bw'etyo n'emuwalawala okumuteeka mu kabangali ye…

Read More

Poliisi eyaza buli ayingira ewa Besigye- Yezoobye ne mukyala we

N’okutuusa kati poliisi ekyagumbye mu maka ga loodi meeya Erias Lukwago e Wakaliga nag'eyali ssenkagale wa FDC Dr,Kiiza Besigye e Kasangati. E Kasangati poliisi eyaza abo bonna abayingira n’okufuluma amaka ga Besigye. Wabula wabaddewo akavuvungano abasirikale ba poliisi bwebagezezaako okugaana Muka Besigye Winnie Byanyima okufuluma amaka gaabwe. Oluvanyuma akiriziddwa okufuluma oluvanyuma lw’okwaaza emmotoka gyabaddemu nga ali bweru. Kino Besigye…

Read More

Poliisi egumbye ku maka ga Besigye ne Lukwago

Poliisi ezinzeeko amaka g'eyali akulira ekibiina kya FDC  Dr Kiiza Besigye ne loodimeeya Erias Lukwago. Besigye ali Kasangati nga ate ye Lukwago ali Wakaliga. Kino kiddiridde ab’oludda oluvuganya gavumenti okuwera okukuba olukungaana e Katwe olunaku olwaleero nga beebuuza ku balonzi ku kulonda kwa loodi meeya wa Kampala bbo kyebawakanya. Wabula Lukwago aweze nti teri kutiisibwatiisibwa bakukuba olukungaana  e…

Read More

Fagil Mande agobwe- kaliisoliiso

Endoolito mu kitongole ky’ebyebigezo mu ggwanga ssi za kuggwa kati. Kati Kaliisoliiso wa gavumenti afulumizza alipoota nga esaba omukulembeze w’eggwanga asazeemu endagaano ya Ssentebe w’ekitongole kino Fagil Mandy. Mukyala Irene Mulyagonja alipoota agisindikiddeko ministry y’ebyenjigiriza ng’alumiriza Mandy okweyisa mu ngeri etasaana, obutakola bulungi mirimu gye, saako n’obutakolagana na bakulu banne, saako n’okweyingiza mu mirimu gyaabwe. Kaliisoliiso era awadde…

Read More

Pulezidenti afuse mu mpale

Olutambi olulaga omukulembeze w’eggwanga lya Colombia ng’afuse mu mpale lutunda nga keeki eyokya Abantu abasoba mu mitwalo 30 beebakalaba ku lutambi luno Pulezidenti Santas yabadde ayogerera ku mukolo gw’okutongoza kampeyini ze abantu bagenze okulaba ng'empale ze zitandise okutoba Omusajja ono ow’emyaka 62 atamanyiddwaako kirwadde kyonna agenze mu maaso n’okwogera kwe Musajja ono ekitaba kyongedde okugejja era nabantu nebongera okumwegeka…

Read More

kunonyereza ku Ndwadde ezitasiigibwa kutandise

Minisitule ekola ku by’obulamu yakutandika okukola okunonyereza ku muwendo gw’abantu abalina endwadde ku ndwadde ezitasiigibwa ate nga zino ziruma omuntu okumala ebbanga Ekigendererwa kya kumanya bameka ababulina n’engeri gyebayinza okuyambibwaamu. Endwadde ezoogerwaako kuliko ezemitima, kokoolo, sukaali nendala nga zitta abantu obukadde 35 buli mwaka Akulira ekiwayi ekirwanyisa endwadde zino,Dr Gerald Mutungi agamba nti

Read More

Omu alumiziddwa mu kabenje

Omuntu omu alumiziddwa mu kabenje akagudde ku luguudo oluva e Kampala okudda e Jjinja Akabenje kano keetabiddwaamu biloolle bisatu okuli ekya TATA ekibadde kikubyeeko cementngaa kiva e Tororo nga kino kikonaaganye nekirala ekya Kenya ekibadde kidda e Mombasa Owa Tata bamutemyeeyo butemi okuva mu kiloole era nga omukugulu okumu kutemeddwaako. Ono addusiddwa mu ddwaliro e Kawolo abamwongeddeyo okutuuka…

Read More

Mukole nnyo

Abakyala mu Buganda basabiddwa okukoma okwefebya naddala mu nsonga z’enkulakulana. Minister w’amawulire mu bwakabaka bwa Buganda Denis Walusimbi agambye nti Buganda etaddewo entekateka nyingi ezokwekulakulanya naye ngabakyala tebazetanira. Walusimbi agambye nti abakyala Katonda yabawa obuyinzi obweyolekera obulungi mu byobuwangwa bya Buganda. Ono okwogera bino abadde mu Ttabamiruka w’abakyala mu Buganda ayindira ku pope Paul memorial hotel mu Ndeeba.

Read More

Eby’okusasula abakyala bikyaamu

Okuwulira okujulira okwakolebwa ku ky’abasajja okusasula  abakyala tekugenze mu maaso Kiddiridde omu ku bawaaba, Kenneth Kakuru kati omulamuzi obutabaawo Aabalamuzi omusanvu aba kooti ey’okuntikko nga bakulembeddwaamu Bart Katureebe bategeezezza nga Kakuru bw’abadde tamanyi ku musango guno Ab’ekibiina kyobwa nnakyeewa ekirwanirira eddembe ly’abakyala ekya MIFUMI beebawakanya ekyasalibwaawo kooti nti kino kiri mu mateeka. Aba MIFUMI bagamba nti okusasulira abawala kyekivuddeko…

Read More