Ekiteeso ekyongezaayo okulonda okutuuka mu mwaka gwa 2021 kifuuse namulanda.
Ekiteeso kino kyaleetebwa omubaka we Nakifuma Sekitoleko Kafeero agamba nti tewaliwo ssente za kulonda ng’akakiiko akalondesa kakola ku bya ndaga Muntu na kubala bantu
Ono agamba nti akakiiko okukongerako omulimu gw’okutegeka okulonda kaba kakuzitowererwa are nga n’ensimbi ziba zigenda
Ono agamba nti kyandibadde kirungi, bannabyabufuzi nebongerwa obudde nga…
Amyuka wa Ssentebe wa district ye Mukono Musa Kigundu awonedde watono okugajambulwa abatuuze b'okukyalo Kyetume mu gombolola ye Nakisunga lwakizindaalo ki mukalakaasa.
Abakungu bano okugwa ku kyokya, babadde mu lukiiko lwe kyalo oluyitidwa okugonjoola enkayaana ezibaddewo ku kizindaalo kino wakati wa nanyinikyo , n' eyaliko kansala we kitundu kino Babra Nalubwama.
Olukiiko lutandise bulungi era abatuuze abasinga…
Abavuzi ba taxi e Mukono beekalakaasizza nga nabe tenda
Kiddiridde abaddukanya ekibuga tenda ya taxi okugiwa aba MUTODa abayise olukiiko olunaku lwaleero.
Abataxi tebakkirizza na lukiiko kutandika tnebatandika okuwogganira waggulu kko n’okukwata ebipande ebirumba aba MUTODA
Olukiiko olwayitiddwa lubadde lwakwanjulira ba dereeva bintu bya bwebinatambula mu nkoal empya
Olukiiko luno olubadde mu baala eyitibwa Godwin , lubadde luyitidwa aba …
Omuyizi wa siniya y’okuna abadde asala ekkubo ekoneddwa emmotoka emuttiddewo wali e Kawempe ku ttaano.
Peter Otheno akooneddwa taxi ebadde ewenyuka obuweewo.
Muganda we agamba nti omugenzi abadde agenze kugula bikozesebwa ku ssomero nga yetegekera okugenda mu siniya ey’okutaano.
Poliisi e Katwe ekutte bannansi ba Nigeria babiri nga balina enjaga
Kuno kuliko Peter Eze n’omulala ategerekeseeko erya Collin
Abalala basobodde okudduka.
Akulira poliisi ye Katwe, Ibrahim Saiga agamba nti enjaga bano babadde bagitembeeyeza mu bisawo mu bitundu by’ekibuga ebitali bimu.
Ng’enkuba egenda mu maaso n’okutonnya, abe Kamwokya bakaaba kabuyonjo
Wetwogerera nga bano bakyaama mu buveera bwebanyugunya mu myaala ngenkuba etonnye
Buno gyebigweera nga buzibikidde emyaala ate amataba negabaddira
Abatuuze aboogerwaako beebabeera mu Zooni ya Kamwokya B ng’akulira ekitundu kino Ali Mutyaba agamba nti kabuyonjo eziriwo zakusasula ate nga bangi tebalina nsimbi
Poliisi ezudde omulambo gw’omwana ow’omwaka ogumu n’ekitundu e Kasokoso.
Onono yattiddwa n’asuulibwa okumpi n’amaka ga bakadde be.
Atiddwa yye Hamjad Katongole mutabani wa Akram Semata nga bano batuuze be Kiwanga Kasokoso.
Ayogerera poliisi mu kampala nemiriraano Idi Ibin Ssenkumbi atugambye nti ebyakazuulibwa biraga nga bwewabaddewo abasajja babiri abakayaanira omwana ono.
Abasawo mu ggwanga lya America bafulumizza ebikwata ku bakyala abagalana kyokka ng’omu ku bbo alina akawuka ka mukenenya
Omu ku bakyala bano wa myaka 46 ng’obulwadde kigambibwa okuba nga yabufuna mu myezi omukaaga gyeyamala ne mukyala munne nga bali mu mukwano
Omukyala ono ekika ky’akawuka ka siriimu ky’alina kiraga nti yakajja ku mukyala munne gwebabadde berigomba.
Akawuka kano…
Okukola dduyiro okumala essaawa bbiri n’ekitundu buli wiiki kikendeeza emikisa gy’omuntu okufuna senyiga
Okunonyereza kuno kukoleddwa ku bantu enkumu nnya mu lunaana mu ggwanga lya Bungereza
Okukola dduyiro okumala akaseera akatono tekirina kyekigasa
Wabula ate era senyiga ono agyira nnyo u biseera by’omusana
Okunonyereza okuzudde bino kukyagenda mu maaso nga kati kwakamala emyaka etaano.
Omukyala ow’emyaka 40 agambibwa okuba nga yekobaana n’abasawo okubba eddagala e Mulago akwatidddwa
Ategerekese nga Phoebe Nyangoma,ate ng’omusawo gw’abadde abba naye ne Racheal Kisakye
Akulira poliisi ye Mulago Hashim Kasinga agamba nti omukyala ono bamusanze ne T-Shirt ng’azinzeemu eddagala ly’omusujja gw’ensiri
Wabula omukyala ono gwebakutte abyegaanye