Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

obulwadde bwa Sukaali bweralikiriza

Obulwadde bwa sukaali bwebwakasinga okuvaako abantu okufa ekikutuko mu bantu abakulu. Obulwadde buno nno era bwebwakasinga okutta abantu mu nsi yonna era nga mu ugnada ababulina bali obukadde 4. Kino kiva ku nsonga nti sukaali ayongera obulabe bw’omuntu okufuna obulwadde bw’omutima. Naye nga obadde okimanyi nti ku bantu ekkumi abafa sukaali, mwenda basobola okutaasibwa Omukungu mu minisitule y’ebyobulamu, Gerald…

Read More

Abavuganya bategese enkungaana mu kibuga

Ng'akakiiko ke by'okulonda kakyakugugubidde ku ky'okutegeka okulonda kwa Meeya omuggya, bannakisinde ekya For Go and Country( 4GC) bategese okukuba enkungaana mu kibuga kampala , balabule abantu ku kabi akakirimu. Bano bagamba nti bagenda kutabaala ekibuga nga babangula abantu  nga mu kaseera kano baakutandikira katwe  ku lw'okusatu ssabbiiti eno , webanaava boolekere Wankulukuku lunaku olwa Sunday Loodimeeya wa…

Read More

Mukomye obulimba- Ssabasumba

Nga ekereziya Katolika mu Uganda erindirira okukuza emyaka 50 bukya nga bajulizi ba Uganda batongozebwa mu lubu lwabatukirivu, Ssabasumba we Ssaza ekkulu erye Kampala, Dr Cyprian Kizito Lwanga, asabye bannayuganda okuvaayo bo0lese amazima mu lutalo olw'okwongera okulwanyisa obulyake obukenuzi n’obufere. Ssabasumba asabye bana Uganda okutwala ekyokulabirako okuva eri abajulizi mu kuyisa obulungi naddala mu biseera bino…

Read More

Abantu 1000 bakosedwa enkuba e mubende .

E mubende kikakasiddwa nti abantu abasoba mu 1000 okuva mu ma gombolola ana beebatalina wabegeka luba, wadde ak'okuzza eri omumwa, nga kino kidiridde namutikwa w’enkuba abade afudemba okubaleka esseke. Amagombolola agakoseddwa kuliko Bukuya , kalwana , Kassanda ne Bukuya . Ssentebe wa disitulikiti  ye Mubende Kibuuka Amooti ,agambye nti amaze okubaako alipoota gy'awerezza mu minisitule ekola ku…

Read More

Ba ssemaka bakwatiddwa lwa kabuyonjo .

  Mu  disitulikiti ye Luwuuka, abakola ku by’obulamu baliko ba ssemaka basatu  beebakutte ku kyaalo Budabangula okuli ne ssentebe w’ekyalo, nga bano basangiddwa nga tebalina kabuyonjo. Abakwatiddwa kuliko Ali kidongo, Fahad mukama  Devid Tenywa nga ono yye ssentebe w’ekyalo kino. Akola ku by’obulamu mu district eno Ali Lubogo, agambye nti kiswaza okulaba nga bassemaka okuli ne ssentebe omulamba…

Read More

Omukuumi asse omwana.

    E iganga omukuumi okuva mu kitongole ekya blue light ekikola ogwo’bukuumi, akubye amasasi omwana ow’emyaka 12 n’amuttirawo. Omukuumi ono ategerekese nga John Byavawala ,atemudde omwana ono oluvanyuma lw’okumujerega nti akutte emmundu ey’ekicupuli. Omugenzi ategerekese nga Isma Bugira, atemera mu myaka 12 gyokka, era nga abadde muyizi mu ssomero erya Nababirye primary school e Nakalama mu kibiina eky’omukaaga. Mathiew ottu…

Read More

Bana beebali mu kamyuufu ka NRM

Bannakibiina kya NRM abalala babiri bawandiisiddwa okuvuganya mu kamyuufu k’ekibiina Hajji Twaha Najja y’asoose okuwandiisibwa olunaku lwaleero era ng’ono asuubizza kibuga kisingako ekiriwo kati Ono addiddwaako Fred Kazibwe omusuubuzi mu Ndeeba nga yye agamba nti azze kumalawo bakulembeze abasuubiza empewo Yye kamisona akola ku by’okuwandiisa  mu kibiina kya NRM, Dorothy Kisaka agamba nti okutwaliza awamu tewabaddeewo muzibu bwonna…

Read More

Ebipya ku nyonyi eyabula

Ebipya byongedde okuzuuka ku nyonyi ya Malaysia eyabuze Sssabaminista w'eggwanga, Najib Razak agamba nti enyonyi eno yakyusa ekkubo mu bugenderevu nga n'enkola ekozesa okulondola enyonyi yattibwa mu bugenderevu Enyonyi eno oluvanyuma lw'okukyuusa ekkubo kigambibwa okuba nga yasigala ng'etabula okumala essaawa musanvu Entambula y'enyonyi eno yali ekwatagana n'omuntu agambibwa okuba nga yali ku nyonyi Enyonyi eno yabula ssabbiiti emue mabega…

Read More

E Misiri, abajaasi 6 battiddwa

Abajaasi ba Misiri mukaaga battiddwa abakwata mmundu ku kifo awakeberebwa abantu mu bukiikakkono bw’ekibuga ekikulu Cairo. Ab’ebyokwerinda bagamba nti bbomu bbiri nazo zibadde zitegeddwa mu kitundu kino kyokka nga baziteguludde Bino bizze ng’era waliwo  omujaasi omulala attiddwa mu baasi Obulumbaganyi mu ggwanga lino bweyongedde okuva omukulembeze eyali mu ntebe Mohammed Mursi amamuulwa ku ntebe.

Read More

Okwongezaayo okulonda kakodyo- Besigye

Eyali akulira ekibiina kya FDC Dr Kiiza Besigye avuddemu omwaasi ku by’okwongezaayo okulonda Ababaka ba palamenti nga bakulemberwa owe Nakifuma Kafeero Ssekitoleko bagaala ekisanja kya bannabyabufuzi kyongezebweeyo okutuuka ku myezi musanvu nga n’akakiiko akalondesa bweketeekateeka. Ono agamba nti akakiiko kakyakola ku by’okubala abantu n’okubakolera endaga Muntu kale nga tebasobola kukongera mugugu gwa kulonda Wabula yye Dr Besigye agamba…

Read More