E Soroti omusirikale wa poliisi akwatiddwa lwa kusobya ku musibe omukyala abadde agaliddwa mu kaduukulu ka poliisi lwa bwenzi .
Omusirikale ono ategerekeseko erya Olinga avunanibwa kukakana ku Susan Alungat 20, omutuuze ku kyalo Olwelai namukaka omukwano.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu by’obuvanjuba bw’ekitunu kya kyoga , Juma Hassan Nyene, avumiridde ekikolwa kino nawera nga omusirikale ono bwagenda…
Poliisi ekubye omukka ogubalagala mu basuubuzi bomu katale ke kireka oluvanyuma lw’ebiwayi bibiri okufuna obutakanya ku ani alina okufuna tenda y’okuddukanya akatale kano.
Ekiwayi kya Dan Mubiru kilumbye aba Muzzanganda wasswa olwo nezidda okunywa ekiwalirizza poliisi okubakubamu omukka ogubalagala okusobola okukakanya embeera.
Dan Mubiru nga y’abadde ne Tenda eno yamugyidwako abakulira Division ya Kira nebajiwa Muzzangada ekileesewo…
Palamenti y’amawanga ga bulaaya esembye eky’okuteeka natti enkakali ku Uganda ne Nigeria lwakuyisa mateeka agawera ebisiyaga mu mawanga gano.
Ababaka abasinga obunji basazeewo okusibira amawanga gano ekikookolo nga bagamba nti baatyobola eddembe ly’obuntu ekitakirizibwa mu mateeka g’ensi yonna.
Bano baagala bonna abetaba mu kuyisa etteeka lino bawerebwe obutaddamu kulinya kigere mu bulaaya.
Ye Kamissiona w’embalirira y’omukago ogugatta amawanga…
Buganda egenda kutandiika okukuza olunaku lw’abakyala buli mwaka.
Omwaka guno Buganda yakutandika okukuza olunaku lw’abakyala nga 16 omwezi guno n’omupiira gw’abakyala mu masaza agenjawulo.
Nga 18 abakyala bakubeera ne ttabamuluka agendereddwamu okukubanganya ebiroowozo kungeri eyokutumbula embeera z’abakyala.
Minister w’abakyala mu Bwakabaka Christine Mugerwa Kasule agambye nti Buganda eyagala ekozese enaku zino okulwanyisa obwavu, okutulungunya abakyala wamu n’okulwanyisa eddwadde…
Abakozesa amasimu mu ggwanga olwaleero baatuulidde abakkampuni z’amasimu beebagamba nti babbye
Mu Lukiiko lw’abakozesa amasimu olubadde mu kibuga, abantu becwacwanye nga bagamba bakooye empeereza embi
Bano basinze kwemulugunya ku masimu agataggwayo ate nebasalwaako ensimbi, obubaka obubawerezebwa ku masimu nga tebabusabye n’ensimbi za mmobile money enyingi
Olukiiko luno luzze ng’eggwanga lyetegekera okukuza olunaku lw’abakozesa ebikolebwa nga lubaawo buli nga…
Ng’ebiseera by’enkuba bitandika butandisi, poliisi enziinya mooto alabudde abali mu bifo ebirumbibwa amataba okubeera obulindaala
Ebifo ebikosebwa amataba naddala mu kampala kuliko Namasuba, bwaise, kawempe ne kalerwe ate bbo ababeera ku nsozi ng’abe Buduuda nabo batera okulumbibwa bibamba
Akulira abaziinya mooto, Joseph Mugisa agamba nti bategeezeddwa okubeera obulindaala okuyamba abali mu bwetaavu kyokka kitandikira ku bantu benyini…
Abayizi mu ggwanga lya NewZealand bali ku mulimu gwa kuyigga mmese
Bano bawereddwa akakisa okuwangula bbiya ku buli mmese gyebakwata nga nnamu oba nfu
Omu ku baggagga mu ggwanga lino y’atandise enkola eno nga yoomu eno era yakolako ne kawefube agoba kkapa mu ggwnaga lino.
Omusajja ono agamba nti emmese zisusse obungi ate nga bwezitaba na byakulya zirumab…
Omusajja abadde mu maka ge n’alengera abeerigomba ensonga ezitutte ku poliisi..
Bano nno babadde mu maka gaabwe nga bali mu kwesanyusa
Omusajja ono ow’emyaa 34 agambye nti abadde ali mu ddirisa lye etunula ebweru kwekugwa ku bagalana nga befunyiridde era naye kwekukubira poliisi ng’agamba nti babadde bamusaaliza
Wabula akulira poliisi gy’awabyeeko amugobye n’okwemulugunya kwe ng’agamba nti abagalana bano…
Abanoonyereza bazudde nti ebizigo ebisiigibwa mu mbugo z’abakyala bisobola okuyamba okuziyiza ekirwadde kya Mukenenya.
Ekizigo kino ssinga omukyala ekyesiiga mu ssaawa ssatu nga yakegatta n’omusajja bannasayansi bakakasizza nti tafuna bulwadde.
Okunonyereza kuno kukoleddwa ku nkima.
Wabula bbo abasawo abakugu bagamba nti bakugenda mu maaso nga beetegereza ebyazuuliddwa naye nga mu kadde kano befunyiriridde kutumbula nkozesa ya kapiira
Minisitule ekola ku byobulamu ekkiriza nti abasawo abakyala bangi batuntunzibwa abasajja lwakugaana kubaganza.
Abakyala bano batuuka n’okubajja ku nkalala z’abalina okusasulwa.
Ku ntandika ya ssabbiiti eno, minista omubeezi akola ku nsonga z’abakozi ba gavumenti Ssezi Mbaguta yakkiriza nti waliwo abakyala abajjibwa ku nkalala lwakugaana bakama baabwe.
Omuwandiisi w’enkalakkalira mu minisitule y’ebyobulamu Dr. Asuman Lukwago agamba nti wabula ssi…