Gavumenti erangiridde enteekateeka z’okuzimbira abasawo amayumba.
Minista akola ku nsonga z’ettaka, Daudi Migereko agamba nti amayumba gano gagenda kubeera ku buli ddwaliro ekkulu okwanguyiza abasawo emirimu.
Migereko agamba nti abakozi abasinga badduka emirimu gyaabwe olw’ensasula embi n’embeera mwebakolera kale nga y’ensonga lwaki bagaala okutereeza
Ku kyaalo Kalongo e Kibalinga Mubende, entiisa ebuutikidde abaayo oluvanyuma lw’abazigu abatanategerekeka okulumba omukyala abadde u kulima nebamuwamba n’oluvanyuma nemamutemako omutwe.
Bakalittima bano omukyala ono bamusazeko omutwe ng'ali n'omwana we ku mugongo, tebakomye awo n'omwana nebamusalako omutwe kyokka nga tabamusumuluddeeyo mu mugongo.
Omukyala attiddwa ategerekese nga Grace Nmakula wa myaka 26 ate ng'omwana we mwaka gumu n'ekitundu.
Bba…
Loodi Meeya Lukwago akyalwana nga musajja okusigaza ekifo kye eky’obwaloodi meeya wa Kampala.
Kati mu kawefube w’okulemesa akakiiko k’ebyokulonda okutegeka okulonda anamuddira mu bigere, okwemulugunya kwe akututte mu kooti nga awakanya okulonda kuno kwagamba nti kumenya mateeka nga ensonga ze ku by’okugobwa ku bwa loodi meeya zikyawulirwa mu kooti enkulu.
Lukwago mu kwekubira enduulu eri kooti, agamba…
Ebipya bizuuliddwa ku nyonyi ya Malaysia eyabuze.
Obubaka obwasemba okuwerezebwa abaali ku nyonyi eno bulaga nga buli kimu kyaali bulungi
Omuyiggo gwenyonyi eno gukyagenda mu maaso ng’abayigga beebulunguludde agayanja g’omu South Asia.
Enyonyi eno eyali eyolekera eggwanga lya China yabula ng’eriko abantu 239.
Ku bantu bano 150 ba China.
Enyonyi eno kiteberezebwa nti yabulira ku nsala ya Malaysia ne Vietnam…
Munnabyamizannyo Michael l Schumacher azze akuba mu matu .
Ab’omu maka ge bategeezezza beebategeezezza bino
Abasawo mu ggwanga lya Bufaransa babadde bakola kyonna ekisoboka okulaba nti adda engulu ng’abadde assiza ku byuuma bukyanga afuna kabenje nga 29 omwezi gwa December.
Schumacher omuvuzi w’emmotoka z’empaka yagwa n’akosebwa ku bwongo bweyali azanyira ku muzira mu biseera bye eby’eddembe.
Abaana abasoba mu mitwalo 24 beebatali bageme.
Abaana bano kitegeeza nti bali mu bulabe bw’okufa endwadde omunaana zinnamutta
Minisitule ekola ku byobulamu egamba nti abaana boogerwaako bazze beetuma wakati w’omwaka 2006 ne 2012
Kati nno minisitule erabye biri biti n’essa emikono ku ndagaano n’ab’amalwaliro g’obwannanyini okulaba nti gayambako mu kukunga abantu okugemesa abaana baabwe
Akulra ebyobulamu Dr.Jane Ruth Aceng…
Embeera y’ebyobulamu mu kitundu kye Kalerwe etandise okweralikiriza abaayo
Abantu bano bagamba nti wabaddewo n’okweyongera mu ndwadde ng’omusujja gw’ensiri n’ekiddukano
Akulira ekimu ku bibiina ebitumbula ebyobuyonjo mu kitundu kino Regina Namara agamba nti abantu balwaala olw’embeera embi ate nga n’abamu bafa kubanga tebafuna ddagala.
Embeera eno esinze kukosa baana na bakyala
Ng’eggwanga lyetegeka okukuza olunaku lw’obuwangwa, emisono emikopperere kikyaali kizibu
Muno mwemuli n’enyambala nga bangi beeyunidde ya bazungu
Ng’ayogerako eri bannamawulire, minisita akola ku nsonga z’abakadde Sulaiman Madada asabye bannayuganda okwagala ennono zaabwe n’obuwangwa
Olunaku lw’ebyobuwangwa lukwatibwa buli nga 21 omwezi gw’okusatu era ng’emikolo gya luno gyakubeera Busoga
Gavumenti egenda kuleeta etteeka nga kikakata ku buli munnayuganda okwagala eggwanga lye
Minisita wa kampala Frank Tumwebaze y’ategeezezza bino bw’abadde alabiseeko mu kakiiko akakola ku nsonga z’omukulembeze w’eggwanga
Ategeezezza ababaka nti bannayuganda bonna balina okwagala eggwanga lyaabwe era etteeka lino lijja kussaawo ebibonerezo eri abo abalifukutirira
Ono agamba nti ekigendererwa kubeera nabantu abalwanirira eggwanga lyaabwe mu ngeri zonna…
Eby’omuyimbi Goeffrey Lutaaya ssi birungi n’akatono.
Waliwo omusuubuzi amukubye mu mbuga z’amateeka ng’amulanga kugaana kumusasula obukadde obusoba mu musanvu n’ekitundu
Lutaaya akyaali omugole amuwaabye ye Godfrey Kibalizi
Kibalizi agamba nti yawola Lutaaya ssente era nebakola endagaano naye akyagaanye okumusasula.
Aleese ne ne cheeque ezaamuweebwa Lutaaya okuva mu banka ya DFCU wabula ne zibuuka amacho
Lutaaya yali yasuubiza okusasula mu bitundu…