Poliisi ekoze ekikwekweto e Wandegeya n’eyoola abagambibwa okuba abazigu 31
Abakwatiddwa kigambibwa nti babadde bakozesa ebiragalalagala mu bitundu bye Katanga, Kikoni ne Kagugube zone.
Abantu bano kigambibwa okuba nti babadde baduumirwa Ronald Kiggundu
Aduumira ebikwekweto e Kawempe Celestine Tukahirwe agamba nti abavubuka bano betegeka bulungi era nga banyaze abawera
Bano beewanye okusooka okunywa enjaga olwo nebabba bulungi nga tebaliiko…
Omuvubuka abadde ne muganzi we nga bakyamyeeko mu dduuka kibaweddeko bwebawulidde ng’engombe y’emmotoka yaabwe ekuba obutamala.
Bano badduse ebweru okulaba ekigenda mu maaso era okusanga ng’embwa yaabwe gyebalese y’ekuba engombe
Embwa eno ekyewunyisa nti ebadde mu mutto gw’emabega naye evuddeyo n’edda mu maaso.
Akakiiko k’ebyokulonda keganye eby’okufuna ebbaluwa yonna okuva ewa Loodi Meeya Wa Kampala Erias Lukwago ekalabula ku kujuza ekifo kye eky’obwaloodi meeya.
Lukwago olunaku olw’egulo yavuddemu omwasi ku kulonda kuno okutekebwatekebwa akakiiko kano okujuza ekifo kye n’akalabula okukakuba mu mbuga z’amateeka kebatasazamu kulonda kuno.
Ono era yategezezza nga bweyawandiikidde akakiiko kano nga akalabula akabi akayinza okuva kulonda kuno…
Omuwala Zainabu Mbabazi eyakakakibwa omukwano ekirindi abasajja enzaalwa ye pakistan asiibuddwa okuva mu mikono gya Actionaid ng'ali mu mbeera nnungi.
Ono alabise nga yalina wamuluma ategeezezza nga kati bw'awulira obulungi ng'era mwetegefu okutandika obulamu obulungi.
Yeebazizza aba cationa aid ne FIDA uganda olw'okumununula okuva e Magombe.
Omukungu mu action aid,Harriet Gimbo agambye nti abantu abakolebwaako ebivve olw'ekikula kyaabwe…
Ssenkaggale wa poliisi Gen kale Kaihura atogonzezza ekiwayi mu poliisi ekinaakola ku nsonga z’abakyala
Kino kizze ng’abakyala bakakuza olunaku lwaabwe.
Ekiwayi kino kyakola ku nsonga z’aba poliisi abakyala
Kaihura agamba nti balonze Chelimo Byata okukulembera ekibiina kino.
Omwogezi wa poliisi Judith Nabakooba agamba nti senkaggal;e Charles Kataratambi y’agenda okukulira ekitongole kya poliisi ekinonyereza ku buzzi bw’emisango.
Herman Owomugisha kati y’akulira…
Ab’ekibiina ky’amawanga amagatte balagudde nti wandibaawo akavuyo akaggya mu kitundu kye Darfur nga kino kisangibwa mu Sudan.
Abantu abali mu mitwalo ataano beebagambibwa okuba nga tebakyalina webegeka luba era nga n’abakuuma ddembe bigaaniddwa okutuuka mu kitundu kino
Okulwanagana okusinga kuli wakati w’ebibinja bya bawarabu abatalima kambugu yadde ng’abayeekera n’amaggye ga gvaumenti nabyo tebirekeddwa mabbali.
Ekitundu kye Darfur kibaddemu…
Abazadde bangi basusuuta abaana baabwe gyebigweera nga babonoonye.
Naye bangi abaana bano batuuka akaseera nebabaswaza mu bantu nga tebakyalina kyakukola
Bwegubadde ku mukyala mu Bungereza abadde ayombesa mutabani we okugenda butereevu n’asaba jjajja we eky’okunywa ng’ate abadde waali.
Omwana ono ow’emyaka 3 yecwacwanye era nyina mu kumuddamu naye amuwogganidde nti sirika.
Ababatitiibya ndowooza muliko kyemuyize.
Abazungu bagaala nnyo ebisolo naye oyo yye bakimumazeeko.
Omuvubuka ono abadde ayoyoota akafudu akato kimuweddeko bw’abadde akanywegeera nekaluma emimwa
Takomye wano tekagiremera era obwedda buli bwekagisika ng’akuba enduulu.
Omusajja ono oluvanyuma addukiriddwa abantu abamusiseeko akafudu kano naye ng’amaziga gamuyiseemu dda.
Ab’ekibiina kya DP nabo begasse ku ba FDC okuzira okulonda okuggya okwa loodimeeya.
Akulira ekibiina kino, Nobert Mao ategeezezza ng’okulonda kuno bwekulimu ekiiso ekibi era nga kugendereddwaamu kucankalanya mbeera ya byabufuzi.
Mao agamba nti bateekateeka okusisinkana ne bannamateeka ba loodimeeya Erias Lukwago okuteesa ku kiddirira
Ono agambye nti ebizibu ebiri mu KCCA bingi era nga byetaaga kukwatagana
Bbo abantu…
Abataasoma wansi w’ekibiina kyaabwe ekibagatta bagaala kufuna bakiise mu palamenti
Bano baliko omukuku gw’ebbaluwa gwebakuutidde sipiika Kadaga nga bagamba nti basuuliddwa emabbali okumala ebbanga
Abakulira John Bukenya agamba nti bannabyabufuzi babakozesa mu bululu kyokka nga tebakola ku bibaluma.
Bagala bafune omukiise mu buli kitundu kubanga ono y’anatuusa ensonga zaabwe mu palamenti