Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Alipoota ya UMEME eriwa

Abalwanyisa obuli bw’enguzi mu ggwanga baagala sipiika wa palamenti afulumya alipoota y’akakiiko ka palamenti akaanonyereza ku mirimu gya kampuni y’amasanyalaze eya UMEME. Bano bagamba nti ekitongole kino kiseera amasanyalaze eri banayuganda nga ate n’empeereza yakyo tematiza. Ssentebe w’ekibiina kya anti- corruption coalition Uganda Cissy Kagaba agamba  UMEME eseera banayuganda amasanyalaze nga ate egatunda mu mawanga agaliranyewo ku…

Read More

Poliisi yegaanye okutuntuza aba Mbabazi

Poliisi yeganye ebigambibwa nti etuntuza abawagizi ba sabaminisita w’eggwanga, Amama Mbabazi  abaagala yesimbewo ku bukulembeze bw’eggwanga mu 2016. Mu kiwandiiko omwogezi wa poliisi mu ggwanga  Judith Nabakooba agamba poliisi tetuntuza Muntu yenna olw’endowooza zabwe ku by’obufuzi nga bwebizze byogerwa mu mawulire. Nabakooba agamba nti yadde nga okunonyereza ku buzzi bw’emisango obwekuusa ku bukuubagano mu kibiina kino kukyagenda…

Read More

Ababaka ba kampala batabuse ku bya loodimeeya

Ababaka ba palamenti abava mu Kampala baweze obutetaba mu kulonda kwa loodi meeya wa kamapala. Bano nga bakulembeddwamu owa Kawempe North Latif Sseabagala bagamba nti enteekateeka yonna emenya mateeka. Agamba akakiiko k’ebyokulonda kandifunye abakugu mu kutaputa amateeka nebakalungumya ku nsonga nga zino. Akakiiko k’ebyokulonda kateekawo olunaku lwa nga 17 omwezi ogujja okulonderako loodi meeya omujja oluvanyuma lwa bakansala…

Read More

Aba NRM batuula leero

Abakungu mu kakiiko akafuzi mu kibiina kya NRM basisinkana leeromu maka ga pulezidenti Entebbe AKakiiko kano ng'omulimu gwaako kulaba nti ekibiina kitambula bulungi bagenda kuteesa ku biseera by'ekibiina eby'omu maaso. Ssabawandiisi wa NRM, Amama Mbabazi agamba nti bagenda kuteesa ku bukulembeze bw'ekibiina mu palamenti Wabula ate ensonag ennekusifu zitutegeezezza nga bano bwebagenda okwogera ku njawukana mu kibiina nga…

Read More

Ebikwekweto ku paaka byakugenda mu maaso

Ekitongole kya Kampala Capital City Authority yakweyongera mumaaso n’ekikwekweto ku paaka ezekimpatira eziri mukibuga wakati. Omwogezi wa KCCA Peter Kawuju agamba nti kino kigendereddwamu okukendeeza omujjuzo mukibuga KCCA yakaggala paka eziwerako nga mwemuli Cooper Complex Park, paka y’a siteegi ye Ggaba ne Kasanga, kko ne ya Namuwongo ebadde Konrad Plaza awo kuluguudo lwe Entebbe.

Read More

Okusonda eza masiro kuddmau leero

Kawefube w’okusonda ettafaali ly’amasiro ge Kasubi addamu okutojjera olunaku olwaleero. Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga olwaleero wakukuba olusisira mu bimuli bwa Bulange okwaaniriza abantu abagaala okuwaayo ettafaali. Omwogezi wa Buganda Denis Walusimbi agambye nti abantu ba Ssabasajja okuva mu masaza omuli Kyadondo, Busiro Kyagwe n’amalala beebasubirwa okwetaba mu kusonda kuno. Walusimbi era agambye nti entekateka za Katikiro…

Read More

USL ne FUFA- abakulu bongedde okukwatagana

Kiraabu  za Fufa super league olunaku lw’eggulo zaatudde mu kafubo nomukulembeze wa Fufa Moses Magogo nebakkiriziganya ku ky’okugenda mu maaso n’enteseganya ez’okuzza obumu mu mupiira gwa Uganda. Magogo wiiki ewedde yasisinkana gavumenti  wamu n’abakungu ba Uganda Super liigi okutema empenda ez’okulaba nga liigi ya Uganda ekomyaawo bamusiga nsimbi aba Super sport wamu ne Bell. Eggulo kiraabu zakirizza…

Read More

Ogwa Kajubi gwa mwezi guno

Kooti yakutandika okuwulira okujulira okwakolebwa Godfrey Kato Kajubi nga 31 omwezi guno Kajubi yasingisibwa emisango gy;okusaddaka omwana ow’emyaka 12 Joseph Kasirye Ono yasibwa mayisa omulamuzi Mikael Kibita eyaguli mu mitambo. Kajubi nomusawo w’ekinnansi Umar Kateregga kko ne mukyala we Mariam Nabukeera basaddaako omwana ono  mu mwaka gwa 2008 Omulambo gwa Kasirye gwasangibwa mu gusuuliddwa mu kitoogo nga teguliiko mutwe…

Read More

Aba NRM balonze Sematimba

Ab’ekibiina kya NRM balonze peter Ssematimba  okukwata bendera yaabwe ku kuddamu okulonda loodimeeya SSentebe wa NRM mu kampala, Salim Uhuru agamba nti divizoni ettaano ezikola kampala zasazeeko nti ssematmba y’aba abakiikirira Uhuru agamba nti sematimba yagezesebwaako era nga bakizudde nti ate y’asonga ku banne .

Read More

Ababbi ba mobile money

Poliisi mu kampala ekutte abantu abasoba mu 20 nga bano babbi ba mobile money Bano babadde bakozesaa bubaka bwebaweereza abo bebanyaga Ng’awayaamu ne bannamawulire, omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano, Ibin Ssenkumbi agambye nti abakulu bano babadde bakola n’ekifo e Masajja mu Kibira gyebakungaanira nebatandika okufumba emitwe

Read More